bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 19
1 Samuel 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
1
Awo Sawulo n'agamba Yonasaani mutabani we n'abaddu be bonna batte Dawudi. Naye Yonasaani mutabani wa Sawulo yayagalanga nnyo Dawudi.
2
Yonasaani n'abuulira Dawudi nti, “Sawulo kitange ayagala okukutta; kale weekuume, enkya ku makya weekweke mu kifo eky'ekusifu obeere eyo;
3
nange n'afuluma ne nnyimirira kumpi ne kitange mu nnimiro mwewekwese, ne njogera naye ku bigambo ebyo; era bwennabaako kyemanya kyonna nja kubuulira.”
4
Awo Yonasaani n'ayogera ne Sawulo kitaawe ng'atenda Dawudi obulungi n'amugamba nti, “Tokola muddu wo Dawudi kabi konna, kubanga naye takusobyangako ggwe, era ebikolwa bye bibadde birungi nnyo gy'oli;
5
kubanga yawaayo obulamu bwe, n'atta Omufirisuuti, Mukama n'akolera Isiraeri yenna obulokozi obukulu; wabulaba n'osanyuka, kale lwaki oyagala okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, nga otta Dawudi awatali nsonga?”
6
Sawulo n'akkiriza ebigambo bya Yonasaani bye yamugamba; Sawulo n'alayira nti, “Mukama nga bwali omulamu, Dawudi tattibwe.”
7
Yonasaani n'ayita Dawudi, n'amutegeeza ebigambo ebyo byonna. Yonasaani n'atwala Dawudi eri Sawulo, n'abeeranga mu maaso ge ng'olubereberye.
8
Newabaawo olutalo olulala, Dawudi n'alwanyisa Abafirisuuti, n'abattamu abantu bangi n'abasigalawo ne badduka.
9
Awo omuzimu omubi ogwa Mukama gwali ku Sawulo, bwe yali ng'atudde mu nnyumba ye ng'akutte effumu lye; ne Dawudi ng'akuba ennanga.
10
Awo Sawulo n'agezaako okufumita Dawudi, Dawudi n'alyewoma effumu ne likwata n'ekisenge; Dawudi n'adduka n'awona ekiro ekyo.
11
Awo Sawulo n'atuma ababaka mu nnyumba ya Dawudi bamuteege bamutte enkya; Mikali mukazi wa Dawudi n'amulabula nti, “Bw'otoowonye bulamu bwo kiro kino, ojja kuttibwa enkya.”
12
Awo Mikali n'assiza Dawudi mu ddirisa; n'adduka n'awona.
13
Mikali n'addira terafi n'amuteeka mu kitanda, n'addira omutto ogw'ebyoya by'embuzi n'agussa emitwetwe, n'abikkako olugoye.
14
Awo Sawulo bwe yatuma ababaka okukwata Dawudi, Mikali n'abagamba nti “Mulwadde.”
15
Sawulo n'atuma ababaka nate baddeyo okulaba Dawudi ng'abalagidde nti, “Mumusitulire ku kitanda kye mumundeetere mmutte.”
16
Awo ababaka bwe baayingira, laba, nga terafi ali mu kitanda n'omutto ogw'ebyoya by'embuzi nga guli emitwetwe.
17
Sawulo n'abuuza Mikali nti “Onnimbidde ki bw'otyo notolosa omulabe wange n'awona?” Mikali n'addamu nti, “Yaŋŋambye nti, ‘Ndeka ŋŋende lwaki nkutta?’ ”
18
Awo Dawudi n'adduka n'awona, n'agenda eri Samwiri e Laama, n'amubuulira byonna Sawulo bye yamukola. Awo Dawudi ne Samwiri ne bagenda ne batuula e Nayosi.
19
Ne babuulira Sawulo nti, “Laba, Dawudi ali e Nayosi mu Laama.”
20
Sawulo n'atuma ababaka okukwata Dawudi, ababaka bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga boogera ebya Katonda, nga ne Samwiri ye mukulembeze waabwe, awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku babaka ba Sawulo, nabo ne boogera ebya Katonda.
21
Awo bwe baabuulira Sawulo, n'atuma ababaka abalala, era nabo ne boogera ebya Katonda. Sawulo n'atuma ababaka nate omulundi ogwokusatu, era nabo ne boogera ebya Katonda.
22
Awo naye n'agenda e Laama, awali oluzzi olunene Seku n'abuuza nti, “Samwiri ne Dawudi bali ludda wa?” Ne waba eyamutegeeza nti, “Laba bali e Nayosi mu Laama.”
23
N'agendayo e Nayosi mu Laama; Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku ye, n'agenda nga ayogera ebya Katonda okutuuka e Nayosi mu Laama.
24
Neyeyambulamu engoye naye n'ayogera ebya Katonda mu maaso ga Samwiri. N'agalamira nga ali bwereere n'azibya obudde era n'abukeesa, olwo abantu kye baava boogera nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31