bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 26
1 Samuel 26
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 27 →
1
Awo abantu be Zifu ne bajja eri Sawulo e Gibeya ne bamugamba nti, “Dawudi teyeekwese ku lusozi Kakira oluli ku njegoyego ze ddungu lye Buyudaaya?”
2
Awo Sawulo n'asituka n'aserengeta n'agenda mu ddungu ery'e Zifu, ng'alina abasajja abalonde mu Isiraeri enkumi ssatu (3,000), okunoonya Dawudi mu ddungu ery'e Zifu.
3
Sawulo n'asiisira ku mabbali g'ekkubo ku lusozi Kakira, oluli ku njegoyego z'eddungu ly'e Buyudaaya. Ye Dawudi yali mu ddungu naamanya nga Sawulo atuuse mu ddungu okumunoonya.
4
Dawudi kyeyava atuma abakessi n'ategeera nga Sawulo atuukidde ddala.
5
Awo Dawudi n'asituka n'ajja mu kifo Sawulo we yali asiisidde. N'alaba Sawulo we yeebase, wamu ne Abuneeri mutabani wa Neeri, era omukulu w'eggye lya Sawulo. Sawulo yali agalamidde munda mu lusiisira, nga basajja be basiisidde okumwetooloola.
6
Awo Dawudi n'abuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu nti, “Ani anaaserengeta nange okugenda eri Sawulo mu lusiisira?” Abisaayi n'addamu nti, “Nze n'agenda naawe.”
7
Ekiro Dawudi ne Abisaayi ne bayingira mu lusiisira lwa Sawulo, ne basanga Sawulo ng'agalamidde, yeebase munda mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa emitwetwe we; Abuneeri n'ab'eggye baali beebase okwetooloola Sawulo.
8
Awo Abisaayi n'agamba Dawudi nti, “Katonda agabulidde ddala omulabe wo mu mukono gwo leero; kale nno, nkwegayiridde, kamufumite effumu omulundi gumu, limuyitemu likwatte ne ttaka, simuzzeko lyakubiri.”
9
Dawudi n'addamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza; kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta n'atabako musango?”
10
Dawudi n'ayogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ye alimutta; oba olunaku lwe lulituuka okufa; oba aliserengeta mu lutalo n'azikiririra eyo.
11
Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta; naye nno twala, nkwegayiridde, effumu eriri ku mutwe gwe n'ensumbi y'amazzi tugende.”
12
Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi ng'abiggya okumpi n'omutwe gwa Sawulo; ne bagenda, so tewali muntu eyakiraba newakubadde eyakimanya, so era tewali eyazuukuka; kubanga bonna baali beebase; Mukama yali abeebasiza otulo otungi.
13
Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri, n'ayimirira ku ntikko y'olusozi; nga abeesuddeko ebbanga ddene:
14
Dawudi n'alangiriza abantu ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng'agamba nti, “Owange Abuneeri toddamu?” Awo Abuneeri n'addamu n'abuuza nti, “Ani oyo akoowoola kabaka?”
15
Dawudi n'agamba Abuneeri nti, “Toli muzira? Era ani akwenkana mu Isiraeri? Kale kiki ekikulobedde okukuuma mukama wo kabaka? Kubanga waliwo omuntu ayingidde gye muli okuzikiriza kabaka mukama wo.
16
Ekigambo kino ky'okoze si kirungi. Nga Mukama bw'ali omulamu, musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Era nno mulabe effumu lya kabaka gye liri n'ensumbi y'amazzi ebadde ku kigugu kye eky'emitwetwe.”
17
Sawulo n'ategeera nga eryo ly'eddoboozi lya Dawudi, awo n'abuuza nti, “Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi?” Dawudi n'addamu nti, “Lye ddoboozi lyange, mukama wange, ayi kabaka.”
18
Dawudi n'ayogera nti, “ Mukama wange ayigganyiza ki omuddu we? Nkoze ki? Oba nzizizza musango ki?
19
Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka awulire ebigambo by'omuddu we. Mukama bwaba nga ye yakulagira okunjiganya, akkirize muwe ekiweebwayo; naye bwe baba nga bantu buntu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama; kubanga abantu bangobye leero okuva mu nsi ya Mukama ey'obusika bwaffe nga bagamba nti, ‘ Genda oweereze bakatonda abalala.’
20
Kale nno omusaayi gwange guleme okuyiika mu nsi eteri ya Mukama; kubanga kabaka wa Isiraeri asituse okunoonya nze enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi.”
21
Awo Sawulo n'ayogera nti, “Nnyonoonye; komawo, mwana wange Dawudi, kubanga siryeyongera ku kukola kabi nate, kubanga obulamu bwange bubadde bwa muwendo mungi mu maaso go leero: laba, nnasiruwala ne nkyama nnyo nnyini.”
22
Dawudi n'addamu n'agamba nti, “Effumu lyo lirino, ayi kabaka! tuma omu ku balenzi bo aliddukire.
23
Era Mukama alisasula buli muntu obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe, kubanga Mukama akugabudde mu mukono gwange leero, ne ssikkiriza kugolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
24
Era, laba, ng'obulamu bwo bwe bubadde obw'omuwendo omungi mu maaso gange leero, n'obulamu bwange bubeere bwa muwendo mu maaso ga Mukama, andokole mu kulaba ennaku kwonna.”
25
Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Oweebwe omukisa, mwana wange Dawudi; olikola eby'amaanyi era tolirema kuwangula.” Awo Dawudi n'agenda, Sawulo n'addayo ewuwe.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31