bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 18
1 Samuel 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 19 →
1
Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, emmeeme ya Yonasaani n'egattibwa n'emmeeme ya Dawudi, Yonasaani n'amwagala nnyo nga bwe yeeyagala yekka.
2
Sawulo n'amutwala ku lunaku olwo n'atamuganya kuddayo nate eka mu nnyumba ya kitaawe.
3
Awo Yonasaani ne Dawudi ne balagaana endagaano kubanga Yonasaani yamwagala nga bweyeyagala yekka.
4
Yonasaani ne yeeyambulamu omunagiro gwe, gwe yali ayambadde n'aguwa Dawudi, n'ekyambalo kye, era n'ekitala kye n'omutego gwe n'olukoba lwe.
5
Dawudi n'agendanga buli Sawulo gye yamutumanga n'ayisa n'amagezi; Sawulo n'amufuula omukulu w'abasajja abalwanyi, abantu bonna ne bakisiima, era n'abaddu ba Sawulo.
6
Awo abasserikale bwe baali nga badda eka, nga Dawudi akomawo ng'amaze okutta Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isiraeri okusisinkana kabaka Sawulo. Baali bayimba ennyimba ez'essanyu, nga bazina era nga bakuba ebitaasa n'ebivuga.
7
Abakazi ne bayimba nga bagamba nti, “Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe.”
8
Sawulo n'asunguwala nnyo ebigambo ebyo ne bimunyiiza; n'ayogera nti, “Dawudi bamuwadde obukumi, nze bampadde nkumi zokka; kati ekisigadde ki si kumufuula kabaka?”
9
Awo Sawulo n'atunuulira Dawudi n'eriiso ebbi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo.
10
Awo ku lunnaku olwaddirira omuzimu omubi ogwava eri Katonda ne gujja ku Sawulo n'amaanyi, n'ayogera ebya Katonda wakati mu nnyumba, Dawudi n'akuba ennanga nga bwe yakolanga bulijjo. Sawulo yalina effumu lye mu ngalo ze.
11
Awo Sawulo n'akasuka effumu ng'ayogera nti, “Kanfumite Dawudi nkwase n'ekisenge.” Dawudi ne yeewoma amafumu ge emirundi ebiri.
12
Awo Sawulo n'atya Dawudi kubanga Mukama yali naye, era ng'avudde ku Sawulo.
13
Sawulo kyeyava amuggya w'ali n'amufuula omukulu w'olukumi (1,000), Dawudi n'abakulemberanga mu ntalo.
14
Dawudi n'ayisa n'amagezi mu makubo ge gonna; era Mukama yali naye.
15
Awo Sawulo bwe yalaba ng'ayisa n'amagezi mangi nnyo, neyeyongera okumutya.
16
Naye Isiraeri yenna ne Yuda ne bagala nnyo Dawudi; kubanga yali mukulembeze mulungi.
17
Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Muwala wange ono omukulu Merabu, nja kumukuwa omuwase, wabula obeerenga muzira olwanenga entalo za Mukama.” Kubanga Sawulo yayogera nti, “Omukono gwange guleme okumubaako, naye omukono gw'Abafirisuuti gumubeeko.”
18
Awo Dawudi n'agamba Sawulo nti, “Nze ani, n'obulamu bwange ki, oba ennyumba ya kitange mu Isiraeri, nze okuwasa muwala wa kabaka?”
19
Naye ekiseera eky'okuwa Dawudi Merabu muwala wa Sawulo okumuwasa byekyatuuka naatamumuwa, wabula n'amuwa Adulieri Omumekolasi okumuwasa.
20
Awo Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala Dawudi; ne babuulira Sawulo, ekigambo ekyo n'akisiima.
21
Sawulo n'ayogera nti, “Naamumuwa amuwase abeere ekyambika gy'ali, n'omukono gw'Abafirisuuti gulwane naye.” Awo Sawulo n'agamba Dawudi omulundi ogwokubiri nti, “Ojja kuwasa muwala wange.”
22
Awo Sawulo n'alagira abaddu be nti, “Muteese ne Dawudi mu kyama mumugambe nti, ‘Kabaka akusanyukira n'abaddu be bonna bakwagala; kale nno kaakano wasa muwala wa kabaka.’ ”
23
Awo abaddu ba Sawulo ne bagamba Dawudi ebigambo ebyo. Dawudi n'ababuuza nti, “Mukiyita kigambo kitono okuwasa muwala wa kabaka nze omusajja omwavu era anyoomebwa mu buntu?”
24
Abaddu ba Sawulo ne bamubuulira nga boogera nti, “Bw'atyo, Dawudi bw'ayogedde.”
25
Sawulo n'abagamba nti, “Mugambe Dawudi nti, ‘Kabaka tayagala bya buko byonna, wabula ebikuta ebikomoddwa ku Abafirisuuti kikumi (100), olw'okuwalana eggwanga ku balabe ba kabaka.’ ” Sawulo yalowooza nga Abafirisuuti bajja kutta Dawudi.
26
Awo abaddu be bwe baabuulira Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n'asiima nnyo okuwasa muwala wa kabaka. Awo ennaku nga tezinnaba kuyitawo;
27
Dawudi n'asituka wamu n'abasajja be, n'agenda n'atta ku Bafirisuuti abasajja bibiri (200). Dawudi n'aleeta ebikuta byabwe byonna alyoke awase muwala wa kabaka. Awo Sawulo n'awa Dawudi muwalawe Mikali amuwase.
28
Sawulo n'alaba n'ategeera nga Mukama ali wamu ne Dawudi; ne Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala nnyo Dawudi.
29
Awo Sawulo ne yeeyongera nate okutya Dawudi, Sawulo n'aba mulabe wa Dawudi ennaku zonna.
30
Awo abaami b'Abafirisuuti ne balyoka batabaala; awo olwatuuka buli lwe baatabaalanga, Dawudi n'ayisanga n'amagezi n'asinga abaddu ba Sawulo bonna; erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31