bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 31
1 Samuel 31
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
1
Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri; abasajja ba Isiraeri ne badduka Abafirisuuti; Abaisiraeri bangi ne battibwa ku lusozi Girubowa.
2
Abafirisuuti ne bawondera Sawulo ne batabani be ne babatukako; Abafirisuuti ne batta Yonasaani ne Abinadaabu ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo.
3
Olutalo nerunyigiriza nnyo Sawulo, abalasi ne bamutuukako; ne bamulasa akasaale, n'abeera mu bulumi bungi nnyo.
4
Awo Sawulo n'agamba oyo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onzite; abatali bakomole baleme okunzita ne banswaza.” Naye eyasitulanga eby'okulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako.
5
Awo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afiira wamu naye.
6
Sawulo n'afa bw'atyo, ne batabani be bonsatule, n'oyo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye, n'abasajja be bonna, ne baafiira ku lunaku lumu.
7
Awo abasajja ba Isiraeri abaali emitala w'ekiwonvu n'abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba abasajja ba Isiraeri nga badduse, ne Sawulo ne batabani be nga bafudde, awo ne baleka ebibuga ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8
Awo olwatuuka enkya Abafirisuuti bwe bajja okunyaga abafu, ne basanga Sawulo ne batabani be bonsatule nga bagudde ku lusozi Girubowa.
9
Ne bamusalako omutwe, ne bamuggyako eby'okulwanyisa bye, ne batuma mu nsi ey'Abafirisuuti enjuyi zonna, okubuulira ebigambo ebyo mu masabo omwali ebifaananyi byabwe ne mu bantu.
10
Ne bateeka eby'okulwanyisa bye mu nnyumba ya Baasutaloosi; ne basiba omulambo gwe ku bbugwe ow'e Besusani.
11
Awo ab'e Yabesugireyaadi bwe baawulira Abafirisuuti kye baakoze Sawulo,
12
abazira bonna ne bagolokoka ne batambula ne bakeesa obudde ne baggya omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be ku bbugwe w'e Besusani, ne bagitwala e Yabesi ne bagyokera eyo.
13
Ne baddira amagumba gaabwe, ne bagaziika wansi w'omumyuliru e Yabesi ne basiibira ennaku musanvu (7).
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31