bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 2
1 Samuel 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 3 →
1
Awo Kaana n'asaba Mukama ng'ayogera nti, “Omutima gwange gujaguliza Mukama, N'amaanyi gange gali mu Mukama: Nsekerera abalabe bange; Kubanga nsanyukira obulokozi bwo.”
2
Tewali mutuukirivu nga Mukama; Tewali mulala amufaanana; So tewali lwazi oluliŋŋaanga Katonda waffe.
3
Mulekere awo okwenyumiriza; Mukome okwogeza amalala: Kubanga Mukama ye Katonda, ow'okumanya Era alamula byonna abantu bye bakola.
4
Emitego egy'abazira gimenyese. Naye abanafu bafunye amaanyi.
5
Abakkutanga kaakati bapakasizza okufuna emmere; N'abo abaalumwanga enjala bakkusse: Weewaawo, omugumba azadde musanvu; N'oyo alina abaana abangi ayongobera.
6
Mukama atta ate n'alamya: Aserengesa emagombe ate n'abajjayo.
7
Mukama ayavuwaza ate n'agaggawaza: Atoowaza ate n'agulumiza.
8
Ayimusa abaavu okubaggya mu nfuufu, Asitula abeetaaga okubaggya mu ntuumo ye bisasiro; Okubatuuza awamu n'abalangira, Basikire entebe ey'ekitiibwa: Kubanga empagi z'ensi za Mukama, Era yateeka ebintu byonna okwo.
9
Aluŋŋamya okutambula kw'abatukuvu be, Naye ababi babulira mu kizikiza; Kubanga omuntu tawangula lwa maanyi ge.
10
Abawakana ne Mukama balimenyekamenyeka; Alibabwatukira ng'ayima mu ggulu: Mukama alisala omusango gw'enkomerero z'ensi; Era aliwa kabaka we amaanyi, N'agulumiza oyo gwe yafukako amafuta.
11
Awo Erukaana n'addayo ewuwe e Lama. Omwana n'asigala ng'aweereza Mukama nga alabirirwa Eri.
12
Awo batabani ba Eri baali baana ba Beriali; tebaamanya Mukama.
13
Empisa bakabona gye baayisanga eri abantu yali bw'eti; omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, awo omuddu wa kabona n'ajja, nga bakyafumba ennyama, ng'alina ekkato ery'amannyo asatu (3) mu ngalo ze;
14
n'akisoya mu nsaka oba mu bbinika oba mu ntamu oba musufuliya; byonna ekkato bye lyaleetanga nga kabona abitwala. Bwe batyo bwe baayisanga buli mu Isiraeri eyaagendanga e Siiro okuwaayo ssaddaaka.
15
Bwe babanga tebannaba kwokya masavu, ng'omuddu wa kabona ajja ng'agamba omusajja oyo awaayo ssaddaaka nti, “Mpa ennyama ey'okwokera kabona kubanga tayagala omuwe ennyama enfumbe wabula embisi.”
16
Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Kabasooke bookye amasavu, olyoke otwale ennyama gy'oyagala.” Awo ng'omuweereza amuddamu nti, “Nedda olina okugimpa kaakano, bw'ogaana nja kugitwala lwa mpaka.”
17
Ekibi ky'abalenzi abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga abantu baatamwa okuwaayo ekiweebwayo eri Mukama.
18
Naye Samwiri n'aweererezanga mu maaso ga Mukama, nga mwana muto, ng'ayambadde ekkanzu eya bafuta.
19
Era buli mwaka nnyina yamutungiranga akakanzu n'akamuleeteranga bwe yabanga agenda ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka.
20
Eri n'asabira Erukaana ne mukazi we omukisa ng'ayogera nti, “Mukama akuwe ezzadde mu mukazi ono olw'ekyo kye yawa Mukama.” Awo ne baddayo eka ewaabwe.
21
Awo Mukama nawa Kaana omukisa n'azaala abaana ab'obulenzi basatu n'ab'obuwala babiri. Naye omwana Samwiri n'akulira mu maaso ga Mukama.
22
Awo Eri yali akaddiye nnyo; n'awuliranga byonna batabani be bye baakolanga Abaisiraeri bonna era nga ne bwe beebakanga n'abakazi abaaweererezanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
23
N'abagamba nti, “Lwaki mukola bwe mutyo? Kubanga abantu bonna bambuulira ebikolwa byammwe ebibi.
24
Nedda, baana bange; kubanga bye mpulira si birungi n'akatono: mwonoonyeseza abantu ba Mukama.
25
Omuntu bw'asobya ku munne, Katonda alimusalira omusango, naye omuntu bw'asobya ku Mukama, ani alimwegayiririra?” Naye ne batawulira ddoboozi lya kitaabwe, kubanga Mukama asazzewo okubatta.
26
Omwana Samwiri ne yeeyongera okukula, n'aba muganzi eri Katonda n'eri abantu.
27
Awo omusajja wa Katonda najja eri Eri, n'amugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Neeraga eri ennyumba ya kitaawo bwe baali nga baddu ba Falaawo e Misiri?
28
Era n'amuggya mu bika byonna ebya Isiraeri ne mmulonda okuba kabona wange, okuweerezanga ku kyoto kyange, okwoterezanga obubaane, n'okwambalanga ekkanzu mu maaso gange era n'empa ennyumba ya kitaawo omugabo ku byonna ebiweebwayo ebyokebwa aba Isiraeri bye baleeta.
29
Lwaki temussamu kitiibwa ssaddaaka n'ebiweebwayo gye ndi bye nnalagira mu nnyumba yange, naye n'ossaamu ekitiibwa batabani bo okusinga nze, naye ne mugejjera ku biweebwayo byange ebisinga obulungi kw'ebyo byonna Isiraeri abantu bange bye bawaayo?’
30
Mukama, Katonda wa Isiraeri, kyava agamba nti, ‘Weewaawo n'ayogera nti ekika kye n'ekika kya kitaawo banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna,’ naye kaakano Mukama agamba nti,‘Ekyo nkiggyewo, abo abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, n'abo abannyooma tebaabengamu ka buntu.’
31
Laba ennaku zijja, lwe ndizikiriza abantu mu nnyumba ya kitaawo ne wataba akaddiwa mu nnyumba yo.
32
Olitunuulira n'obuggya ebirungi by'endikolera Isiraeri naye tewaliba akaddiwa mu nnyumba yo ennaku zonna.
33
Naye omusajja wo gwe ssiizikirizanga n'asigala nga akyaweereza ku kyoto kyange anaabeeranga wa kukaabya maziga n'akukunakuwaza omwoyo gwo; n'ezzadde lyonna ery'ennyumba yo banaafanga kye bajje bavubuke.
34
Era kano ke kaliba akabonero kw'olitegeerera nga byonna bye ŋŋambye birituukirira, batabani bo bombi, Kofuni ne Finekaasi; bombi balifa ku lunaku lumu.
35
Nange ndyerondera kabona omwesigwa anaakolanga ebyo bye njagala era ebinsanyusa; ndimuzimbira ennyumba ey'enkalakkalira ennaku zonna era anaaweerezanga ennaku zonna mu maaso g'oyo gwe ndifukako amafuta.
36
Awo olulituuka, buli alisigala mu nnyumba yo aligenda n'amufukaamirira n'amusaba ekitundu eky'effeeza n'omugaati nga ayogera nti, ‘Nkwegayiridde mpa obumu ku buweereza bwa bakabona nfune eky'okulya.’ ”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31