bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 15
1 Samuel 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 16 →
1
Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Mukama yantuma okukufukako amafuta okuba kabaka w'abantu be Isiraeri; kale nno kaakano wulira ebigambo bya Mukama.
2
Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti, ‘Nja kubonereza Abamaleki olw'ebyo bye bakola Isiraeri, bwe baamuziyiza mu kkubo ne babagana okuyitawo bwe bali bava e Misiri.
3
Kaakano genda okube Amaleki, ozikiririze ddala byonna bye balina, so tobasaasira; naye batte abasajja n'abakazi, abaana abato n'abayonka, ente n'endiga, eŋŋamira n'endogoyi.’ ”
4
Awo Sawulo n'ayita abantu n'ababalira e Terayimu, baali abasajja emitwalo abiri (200,000) abatambula n'ebigere, n'abava mu Yuda omutwalo gumu (10,000).
5
Sawulo n'atuuka ku kibuga kya Amaleki n'ateegera mu kiwonvu.
6
Sawulo n'agamba Abakeeni nti, “Mugende muveewo muserengete okuva mu Bamaleki nneme okubazikiriza awamu nabo; kubanga mwakola eby'ekisa abaana ba Isiraeri bonna, bwe baava mu Misiri.” Awo Abakeeni ne bava mu Bamaleki.
7
Sawulo n'akuba Abamaleki, okuva e Kavira ng'ogenda e Ssuuli, ekyolekera Misiri.
8
N'awamba Agagi kabaka w'Abamaleki, n'azikiririza ddala abantu bonna n'obwogi bw'ekitala.
9
Naye Sawulo n'abantu ne basonyiwa Agagi n'endiga ezaasinga obulungi n'ente n'ennyana ezassava n'abaana b'endiga n'ebirungi byonna, ne bagaana okubizikiririza ddala; naye ebibi byonna era ebitali bya muwendo ebyo ne babizikiririza ddala.
10
Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijja eri Samwiri ng'ayogera nti,
11
“Nejjusizza kubanga nakuza Sawulo okuba kabaka; kubanga azzeeyo ennyuma n'atangoberera so tagondedde biragiro byange.” Awo Samwiri n'asunguwala; n'akaabira Mukama okukeesa obudde.
12
Awo Samwiri n'akeera enkya n'agenda okusisinkana ne Sawulo; Samwiri ne bamubuulira nti, “Sawulo bweyatuuka e Kalumeeri neyezimbira ekijjukizo, n'akyuka n'agenda e Girugaali.”
13
Awo Samwiri n'ajja eri Sawulo, Sawulo n'amugamba nti, “Mukama akuwe omukisa; ntuukiriza ekiragiro kya Mukama.”
14
Awo Samwiri n'ayogera nti, “Okubejjagala kuno okw'endiga n'okuŋooŋa kw'ente kwe mpulira mu matu gange makulu ki?”
15
Sawulo n'ayogera nti, “Baaziggye ku Bamaleki ne bazireeta; kubanga abantu baalekawo endiga n'ente ezaasinga obulungi, ziwebweyo nga ssaddaaka eri Mukama Katonda wo; naye ebirala tubizikiririzza ddala.”
16
Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Sooka oleke nkubuulire Mukama bye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n'addamu nti, “Yogera.”
17
Samwiri n'agamba nti, “Newakubadde wali wenyooma tewafuuka mukulembeze w'ebika bya Isiraeri? Mukama n'akufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri;
18
Mukama n'akutuma omulimu, nga agamba nti, ‘Genda ozikiririze ddala Abamaleki abo abalina ebibi, obalwanyise okutuusa bonna lwe balimalibwawo.’
19
Kale kiki nno ekyakulobera okugondera eddoboozi lya Mukama, naye n'ogwa ku munyago, n'okola ekibi ekyanyiza Mukama?”
20
Sawulo n'addamu Samwiri nti, “Nagondera eddoboozi lya Mukama, ne ŋŋenda ne nkola omulimu Mukama gwe yantuma, ne ndeeta Agagi kabaka wa Amaleki, ne nzikiririza ddala Abamaleki.
21
Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n'ente, ebyasinga obulungi mw'ebyo ebyali bigenda okuzikirizibwa, biweebweyo okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wo e Girugaali.”
22
Samwiri n'ayogera nti, “Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw'asanyukira okugondera eddoboozi lye? Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi, n'okuwulira kusinga amasavu g'endiga ennume.
23
Kubanga okujeema kuliŋŋaanga ekibi eky'obulaguzi, n'obukakanyavu buliŋŋaanga okusinza ebifaananyi ne baterafi. Kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, naye akugaanyi okuba kabaka.”
24
Awo Sawulo n'agamba Samwiri nti, “Nnayonoona, kubanga nnasobya ekiragiro kya Mukama n'ebigambo byo; kubanga nnatya abantu ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe.
25
Kale nno kaakano, nkwegayiridde, sonyiwa ekibi kyange, tuddeyo ffembi nsinze Mukama nate.”
26
Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Sijja kuddayo naawe; kubanga wagaana okukola nga Mukama bwe yakulagira, ne Mukama akugaanyi okuba kabaka wa Isiraeri.”
27
Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, Sawulo n'akwata ekirenge ky'ekyambalo kye ne kiyulika.
28
Awo Samwiri n'amugamba nti, “Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isiraeri leero, n'abuwa omuntu omulala akusinga obulungi.
29
Era Maanyi ga Isiraeri talimba so teyejjusa, kubanga si muntu okwejjusa.”
30
Sawulo n'alyoka ayogera nti, “Nnayonoona, naye nzisaamu ekitiibwa kaakano, nkwegayiridde, mu maaso g'abakadde b'abantu bange ne mu maaso ga Isiraeri, tuddeyo ffembi nsinze Mukama Katonda wo nate.”
31
Awo Samwiri n'addayo nate ne Sawulo; Sawulo n'asinza Mukama.
32
Awo Samwiri n'agamba nti, “Mundeetere wano Agagi kabaka w'Abamaleki.” Agagi n'ajja eri Samwiri ng'asanyuka. Agagi n'ayogera nti, “Mazima obubalagaze obw'okufa buyise.”
33
Samwiri n'agamba Agagi nti, “Ng'ekitala kyo bwe kyaleka abakazi abazadde nga tebalina baana, bw'atyo ne nnyoko bw'anaaba mu bakazi banne nga talina mwana.” Awo Samwiri n'atemeratemera Agagi mu maaso ga Mukama e Girugaali.
34
Awo Samwiri n'alyoka agenda e Laama; Sawulo n'ayambuka mu nnyumba ye e Gibea ekya Sawulo.
35
Samwiri okutuusa lwe yafa n'ataddayo kulaba Sawulo; kubanga Samwiri yanaakuwalira Sawulo. Ne Mukama ne yejjusa kubanga yafuula Sawulo kabaka wa Isiraeri.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31