bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 10
1 Samuel 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 11 →
1
Awo Samwiri n'addira eccupa y'amafuta n'agafuka ku mutwe gwe n'amunywegera n'ayogera nti, “Mukama si ye akufuseeko amafuta okuba omukulu w'abantu be Abaisiraeri? Era on'ofuga abantu ba Mukama, n'obawonya mu mukono gw'abalabe baabwe. Kano ke kanaabeera akabonero gyoli, akakakasa nti Mukama akufuuseeko amafuta okubeera omulangira w'obusika bwe.
2
Olwaleero bw'onoova wendi onoolaba abasajja babiri abali okumpi na malaalo ga Laakeeri e Zereza mu nsi ya Benyamini; awo bajja kukugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zirabise: era, laba, kitaawo aleseeyo okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ggwe nga agamba nti, N'akola ntya olw'omwana wange?’ ”
3
“Awo onoovaayo ne weeyongerayo mu maaso, okutuusa lw'onootuuka ku muvule oguli e Taboli, gy'onoosanga abasajja basatu, nga bagenda e Beseri okusinza Katonda. Omu ku bo ajja kuba ng'atwala embuzi ento ssatu, n'omulala ng'atwala emigaati esatu, n'omulala ng'atwala ensawo ey'eddiba, ey'omwenge ogw'emizabbibu.
4
Awo banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri, gwe gikirize.
5
Awo onooyambuka ku lusozi lwa Katonda awali ekigo ky'Abafirisuuti; bw'onoobanga otuuseyo eyo mu kibuga, onoosiŋŋaana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu nga balina entongooli n'ebitaasa n'endere n'ennanga nga bibakulembedde; era banaabanga boogera ebigambo bya Katonda.
6
Awo omwoyo gwa Mukama gunajja ku ggwe n'amaanyi, naawe n'oyogera ebigambo bya Katonda wamu nabo, era onoofuuka okuba omuntu omulala.
7
Obubonero obwo bw'onoolaba nga butuukiridde, kola kyonna Katonda kyanaakugamba, kubanga ali wamu naawe.
8
Era onoonkulembera okugenda e Girugaali; nange laba, ndijja gy'oli, okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okusala ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe; ojja kulindiraayo ennaku musanvu ndyoke njije gy'oli nkutegeeze by'oba okola.”
9
Awo olwatuuka Sawulo bweyakyuka okuva awali Samwiri, Katonda n'amuwa omutima omulala, obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo.
10
Awo Sawulo bweyatuuka ku lusozi Gibea, ekibiina kya bannabbi ne kimusisinkana; omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye n'amaanyi, n'ayogera ebigambo bya Katonda wamu nabo.
11
Awo olwatuuka bonna abaamumanyanga edda bwe baamulaba, ng'ayogera ebigambo bya Katonda wamu ne bannabbi, abantu ne bagambagana bokka na bokka nti, “Kiki kino ekituuse ku Sawulo mutabani wa Kiisi? Kaakati naye y'omu ku bannabbi?”
12
Awo omuntu ow'omu kifo ekyo n'abaddamu n'agamba nti, “Bano kitaabwe ye ani?” Awo we waava enjogera egamba nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?”
13
Awo bwe yamala okwogera ebigambo bya Katonda, n'agenda mu kifo ekigulumivu.
14
Awo kojja wa Sawulo n'amubuuza ye n'omuddu we nti, “Mwagenda wa?” Sawulo n'amuddamu nti, “Twagenda kunoonya Ndogoyi, bwe zatubula ne tugenda eri Samwiri.”
15
Kojja wa Sawulo n'amugamba nti, “nkwegayiridde mbuulira Samwiri bye yabagamba.”
16
Sawulo n'agamba kojjaawe nti, “Yatukakasiriza ddala ng'endogoyi bwezaali zirabise.” Naye ebigambo eby'obwakabaka, Samwiri bye yayogera, teyabimubuulirako.
17
Samwiri n'ayita abantu n'abakuŋŋaanyiza mu maaso ga Mukama e Mizupa;
18
n'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘nnaggya Isiraeri mu Misiri ne mbalokola mu mukono gw'Abamisiri ne mu mukono gw'obwakabaka bwonna obwabajooganga.’
19
Naye leero mugaanyi Katonda wammwe, abalokola yennyini mu nnaku zammwe zonna n'obuyinike bwammwe; era mumugambye nti, ‘Nedda naye ssaawo kabaka atufuge.’ Kale nno kaakano mweyanjule mu maaso ga Mukama ng'ebika byammwe ne nnyumba zammwe bwe ziri, era ng'enkumi zammwe bwe ziri.”
20
Awo Samwiri n'asembeza ebika byonna ebya Isiraeri, ekika kya Benyamini ne kirondebwamu.
21
N'asembeza ekika kya Benyamini ng'ennyumba zaabwe bwe zaali, ennyumba ey'Abamateri nerondebwa; Sawulo mutabani wa Kiisi naalondebwa; naye ne bamunoonya ne batamulaba.
22
Ne beeyongera okubuuza Mukama nti, “Waliwo omusajja atannatuuka wano?” Mukama n'addamu nti, “Wuuli, yeekwese mu bintu.”
23
Ne badduka mbiro ne bamukukunulayo. Awo bwe yayimirira mu bantu, nga abasinga bonna obuwanvu okuva ku bibegabega bye okudda waggulu.
24
Awo Samwiri n'agamba abantu bonna nti, “Mulabye oyo Mukama gw'alonze, nga tewali amwenkana mu bantu bonna?” Abantu bonna ne balekanira waggulu nti, “Kabaka abeere omulamu.”
25
Awo Samwiri n'alyoka abuulira abantu nga obwakabaka bwe bulifaanana, n'abiwandiika, mu kitabo n'akitereka mu maaso ga Mukama. Samwiri n'asiibula buli omu n'addayo ewaabwe.
26
Ne Sawulo naye n'addayo ewuwe e Gibea; n'agenda n'eggye ly'abasajja abazira, Katonda be yali akute ku mitima gyabwe.
27
Naye waliwo abasajja abataliimu nsa ne bagamba nti, “Omusajja oyo alitulokola atya?” Ne bamunyooma ne batamuleetera kirabo. Naye ye n'asirika.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31