bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 24
1 Samuel 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
1
Awo olwatuuka Sawulo bwe yakomawo ng'amaze okuwondera Abafirisuuti, ne bamubuulira nti, “Laba, Dawudi ali mu ddungu erya Engedi.”
2
Awo Sawulo n'alonda abasajja enkumi ssatu (3,000) abaalondebwa mu Isiraeri yenna, n'agenda okunoonya Dawudi n'abasajja be ku njazi ez'embulabuzi.
3
Awo Sawulo n'atuuka ku mpuku eri okumpi n'ebisibo by'endiga, ku kkubo, n'ayingira omwo okweyamba. Dawudi ne basajja be, baali batudde mu bifo eby'omunda ddala mu mpuku eyo.
4
Abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Luno lwe lunaku Mukama lwe yakugambako nti, ‘aligabula omulabe wo mu mukono gwo, era olimukola nga bw'oyagala.’ ” Awo Dawudi n'agolokoka n'asala ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo mu kyama.
5
Naye oluvannyuma Dawudi n'alumwa omwoyo, kubanga yasala ku kirenge kya Sawulo.
6
Dawudi n'agamba abasajja be nti, “Kikafuuwe nze okukola akabi konna ku mukama wange, Mukama gwe yafukako amafuta, okumugololera omukono gwange kubanga oyo Mukama gwe yafukako amafuta.”
7
Awo Dawudi n'aziyiza abasajja be n'ebigambo ebyo, n'atabaganya kukola kabi konna ku Sawulo. Awo Sawulo n'agolokoka n'ava mu mpuku n'agenda.
8
Oluvannyuma ne Dawudi n'asituka n'ava mu mpuku n'akoowoola Sawulo ng'agamba nti, “ Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo bwe yakebuka, Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza.
9
Dawudi n'agamba Sawulo nti, “Kiki ekiwulizisa ebigambo by'abantu nga boogera nti, ‘Laba, Dawudi ayagala okukukolako akabi?’
10
Laba Mukama bw'abadde akugabudde mu mukono gwange leero nga oli mu mpuku: era wabaddewo abaŋŋambye okukutta: naye nze ne nkusaasira; ne ŋŋamba nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange; kubanga oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’
11
Era, kitange, laba ekirenge ky'ensanze ku kyambalo kyo kikiino mu ngalo zange; kale oba nga nsaze ku kyambalo ne sikutta, tegeera nga tewali kabi kenjagala ku kukola, so ssi kusobyanga newakubadde nga ggwe onjigganya okunzita.
12
Mukama asale omusango wakati wo nange. Mukama ye aba awooleera eggwanga olw'ebyo by'onkola, naye nze sigenda kukukolako kabi konna.
13
Ng'olugero olw'ab'edda bwe lugamba nti, ‘Mu babi mwe muva obubi,’ naye nze sigenda kukukolako kabi konna.
14
Kabaka wa Isiraeri alumba ani? Awondera ani? Ogoberera embwa enfu, enkukunyi!
15
Kale Mukama abe omulamuzi waffe, asale omusango wakati wange naawe, atunule mu nsonga yange andokole mu mukono gwo.”
16
Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okugamba Sawulo ebigambo ebyo, Sawulo n'ayogera nti, “Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi?” Sawulo n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba amaziga.
17
N'agamba Dawudi nti, “Ggwe onsinga obutuukirivu; kubanga onsasudde obulungi, naye nze nkusasudde obubi.
18
Era oyatudde leero bw'onkoze obulungi, kubanga Mukama angabudde mu mukono gwo n'otonzita.
19
Kubanga omuntu bw'asanga omulabe we, amuleka n'agenda nga mulamu? Kale Mukama akuwe empeera ennungi olw'ekyo ky'onkoze leero.
20
Mmanyi nga tolirema kuba kabaka, era ng'obwakabaka bwa Isiraeri bulinywezebwa mu mukono gwo.
21
Kale nno kaakano ndayirira Mukama nga tolizikiriza zzadde lyange nga nvuddewo, era nga tolisanyawo linnya lyange ne rye nnyumba ya kitange.”
22
Dawudi n'alayirira Sawulo. Sawulo n'addayo ewuwe ne Dawudi ne basajja be ne baddayo mu mpuku.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31