bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 23
1 Samuel 23
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
1
Awo ne babuulira Dawudi nti, “Abafirisuuti balwanyisa abe Keyira era banyaga amawuuliro.”
2
Dawudi kyeyava abuuza Mukama nti, “ Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti abo?” Mukama n'agamba Dawudi nti, “Genda olumbe Abafirisuuti owonye ekibuga Keyira.”
3
Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Oba nga na wano mu Yuda tuli mu kutya, kale kinaaba kitya bwe tunaagenda n'e Keyira okulwanyisa eggye ly'Abafirisuuti?”
4
Awo Dawudi n'alyoka abuuza Mukama omulundi ogwokubiri. Mukama n'amuddamu nti, “Situka ogende e Keyira; kubanga ndigabula Abafirisuuti mu mukono gwo.”
5
Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Keyira, ne balwana n'Abafirisuuti, ne babatta olutta olunene, ne banyaga ente zaabwe. Awo Dawudi n'awonya abantu be Keyira.
6
Awo olwatuuka, Abiyasaali mutabani wa Akimereki bwe yadduka okwegatta ku Dawudi e Keyira, yagenda ne kkanzu ey'obwakabona.
7
Ne babuulira Sawulo nga Dawudi atuuse e Keyira. Sawulo n'ayogera nti, “Katonda amugabudde mu mukono gwange; kubanga aggaliddwa munda mu kibuga ekirina enzigi n'ebisiba.”
8
Awo Sawulo n'ayita abantu bonna okutabaala, bagenda e Keyira, okuzingiza Dawudi n'abasajja be.
9
Awo Dawudi bw'eyategeera nti Sawulo ayagala kumutta; n'agamba Abiyasaali kabona nti, “Leeta wano ekkanzu ey'obwakabona.”
10
Awo Dawudi n'ayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri, omuddu wo awuliridde ddala nga Sawulo ayagala okujja e Keyira, okuzikiriza ekibuga ku lwange.
11
Abasajja ab'e Keyira balimpaayo mu mukono gwe? Sawulo aliserengeta, ng'omuddu wo bw'awulidde? Ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri, nkwegayiridde, buulira omuddu wo.” Mukama n'ayogera nti, “Aliserengeta.”
12
Awo Dawudi n'alyoka n'abuuza nti, “Abasajja ab'e Keyira balimpaayo nze n'abasajja bange mu mukono gwa Sawulo?” Mukama n'addamu nti, “Balikuwaayo.”
13
Awo Dawudi n'abasajja be, abaali nga lukaaga (600) ne badduka ne basaasaana. Ne babuulira Sawulo nti Dawudi adduse okuva e Keyira: Sawulo eby'okulumba ekibuga naabivako.
14
Awo Dawudi ne yeekweka aw'ekusifu mu nsi ey'ensozi mu ddungu ery'e Zifu. Sawulo n'amunoonyanga buli lunaku, naye Katonda n'atamugabula mu mukono gwe.
15
Dawudi naamanya nga Sawulo amunoonya okumutta, mu kiseera ekyo Dawudi yali yeekwese mu ddungu lye Zifu mu lukoola.
16
Yonasaani mutabani wa Sawulo n'asituka n'agenda Dawudi gye yali, mu lukoola, n'amugumya nti, Katonda taaleme kumukuuma.
17
N'amugamba nti, “Totya, Sawulo kitange tajja kusobola kukukolako kabi. Gwe oliba kabaka wa Isiraeri, nze nenkuddirira mu bukulu; ekyo ne Sawulo kitange akimanyi.”
18
Awo abo bombi ne balagaanira endagaano mu maaso ga Mukama; Dawudi n'abeera mu lukoola, Yonasaani n'addayo mu nnyumba ye.
19
Awo ab'e Zifu ne bambuka eri Sawulo e Gibeya, ne bagamba nti, “Dawudi yeekwese ewaffe mu mpuku, mu kibira ku lusozi Kakira oluli ku ludda olw'ebukiikaddyo olw'eddungu ly'e Yuda?
20
Kale nno kaakano ayi kabaka nga bwoyagala ennyo okumukwata, jjangu ffe tujja kumuwaayo gy'oli.”
21
Sawulo n'ayogera nti, “Muweebwe Mukama omukisa; kubanga munsaasidde.
22
Mugende, mbeegayiridde, mweyongere okwetegereza, mumanye mulabe ekifo kye w'abeera n'eyamulabayo, kubanga bambuulira nti alina obugerengetanya bungi nnyo.
23
Kale mugende, muzige ebifo byonna mw'ateegera mwe yeekweka, mukomewo gye ndi so temulema kudda, olwo ndigenda nammwe; bwaliba nga ali mu kitundu ekyo ndimunoonya mu nkumi ne nkumi zonna eza Yuda ne mulaba.”
24
Awo ne bakulembera Sawulo okugenda e Zifu, naye Dawudi n'abasajja be baali mu ddungu ery'e Mawoni, mu Alaba ku luuyi olw'eddungu olw'obukiikaddyo.
25
Sawulo n'abasajja be ne bagenda okumunoonya. Ne babuulira Dawudi; kyeyava aserengeta awali olwazi, n'abeera mu ddungu ery'e Mawoni. Awo Sawulo bwe yakiwulira, n'agoberera Dawudi mu ddungu ery'e Mawoni.
26
Sawulo n'agenda ku ludda olumu olw'olusozi, nga Dawudi ne basajja be bali ku ludda olulala. Awo Dawudi n'ayanguwa okuvaayo olw'okwewala Sawulo, kubanga Sawulo ne basajja be baali bazingizizza Dawudi ne basajja be enjuyi zonna okubakwata.
27
Naye ne wajja omubaka eri Sawulo, n'agamba nti, “Yanguwa ojje, kubanga Abafirisuuti balumbye ensi yo.”
28
Awo Sawulo n'alekayo okugoberera Dawudi n'addayo, n'atabaala Abafirisuuti; ekifo ekyo kyebaava bakiyita Serakammalekosi.
29
Awo Dawudi n'avaayo n'agenda ne yeekweka mu bigo ebya Engedi.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31