bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 14
1 Samuel 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
1
Awo olunaku lwali lumu Yonasaani mutabani wa Sawulo n'agamba omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye, nti, “Jjangu tusomoke tugende eri ekigo eky'Abafirisuuti ekiri emitala w'eri.” Naye n'atabuulirako kitaawe.
2
Sawulo yali ku njegoyego za Gibea wansi w'omukomamawanga oguli e Miguloni; abasajja abaali naye baali nga lukaaga (600),
3
ne Akiya mutabani wa Akituubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro ng'ayambadde ekkanzu y'obwakabona. Abantu ne batamanya nga Yonasaani agenze.
4
Wakati awayingirirwa, Yonasaani we yali alina okuyita okutuuka ku kigo ky'Abafirisuuti waaliwo amayinja amasongovu eruuyi ne ruuyi; erimu ng'aliyitiibwa Bozezi, n'eddala nga liyitibwa Sene.
5
Ejjinja erimu lyali ku luuyi olw'obukiikakkono okwolekera Mikumasi, n'eddala ku luuyi olw'obukiikaddyo okwolekera Geba.
6
Awo Yonasaani n'agamba omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye nti, “Jjangu tugende eri ekigo eky'abatali bakomole bano; oba olyawo Mukama anaatukolera omulimu; kubanga Mukama tewali kimuziyiza okulokola n'abangi oba n'abatono.”
7
Eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye n'amugamba nti, “Kola byonna ebiri mu mutima gwo. Genda mu maaso nze ndi wamu naawe, ng'omutima gwo bwe guli n'ogwange.”
8
Awo Yonasaani n'agamba nti, “Kale tugende twerage eri Abafirisuuti.
9
Awo bwe banaatugamba nti, ‘Mubeere eyo okutuusa lwe tunajja gye muli;’ kale tunaayimirira buyimirizi mu kifo kyaffe ne tutagenda gyebali.
10
Naye bwe banaayogera nti, ‘Mujje gyetuli;’ awo tunagenda; kubanga ako ke kanaabeera akabonero nga Mukama abagabudde mu mukono gwaffe.”
11
Awo bombi ne beeraga eri Abafirisuuti; Abafirisuuti ne bagamba nti, “ Laba, Abaebbulaniya bafuluma mu bunnya mwe baali beekwese.”
12
Abasajja ab'omu kigo ne bakoowoola Yonasaani n'omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye ne babagamba nti, “Mujje gyetuli tubalage enkola.” Awo Yonasaani n'agamba omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye nti, “Ngoberera tugende kubanga Mukama abagabudde mu mukono gwa Isiraeri.”
13
Awo Yonasaani n'alinnya linnya ng'ayavula n'omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye ng'amugoberera. Yonasaani n'alumba Abafirisuuti n'abakuba, nga n'oyo eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye bwa batta.
14
Era mu lutta olwo olwolubereberye Yonasaani n'omusituzi w'eby'okulwanyisa bye batta abasajja ng'abiri (20), mu kibangirizi kya kitundu kya yiika.
15
Abafirisuuti abali mu kigo n'abaali mu nnimiro n'abalala bonna ne bakankana olw'okutya. Abaali mu kigo era n'abo abagenda okunyaga ne batekemuka nnyo. Ensi n'ekankana newabaawo entiisa nnene.
16
N'abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea ekya Benyamini ne batunula; ne balaba ekibiina ky'Abafirisuuti nga kibuna emiwabo olw'entiisa.
17
Awo Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti, “Mubale abantu tulabe abataliiwo.” Awo bwe babala ne bazuula nga Yonasaani n'eyasitulanga eby'okulwanyisa bye nga tebaliiwo.
18
Sawulo n'agamba Akiya nti, “Leeta wano ssanduuko ya Katonda.” Kubanga essanduuko ya Katonda yali eyo mu biro ebyo essanduuko ya Katonda yali wamu n'abaana ba Isiraeri.
19
Awo olwatuuka, Sawulo bwe yali nga akyayogera ne kabona, oluyoogaano olwali mu lusiisira olw'Abafirisuuti ne lubaawo ne lweyongera; Sawulo n'agamba kabona nti, “Zzaayo omukono gwo.”
20
Awo Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana ne balumba Abafirisuuti okulwana nabo; naye ne basanga nga Abafirisuuti battiŋŋana bokka olw'okutabukatabuka okwali mu bo.
21
Awo Abaebbulaniya abaali mu Bafirisuuti edda, era abagenda nabo mu lusiisira okuva mu nsi eyeetooloodewo, nabo ne bakyuka ne begatta ku Baisiraeri abaali ne Sawulo ne Yonasaani.
22
Awo Abaisiraeri bonna abaali beekwese mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, bwe baawulira Abafirisuuti nga badduse, nabo ne bajja ne beetaba mu lutalo ne babawondera.
23
Awo Mukama n'alokola bw'atyo Isiraeri ku lunaku olwo; olutalo ne luggukira e Besaveni.
24
Abaisiraeri ne babonaabona nnyo ku lunaku olwo; kubanga Sawulo yali alayiza abantu bonna ng'agamba nti, “Omuntu yenna anaabaako kaalya nga tebunawungeera era nga sinaba kuwalana ggwanga ku balabe bange akolimirwe.” Awo ne wataba muntu yenna alya ku mmere.
25
Abantu bonna ne batuuka mu kibira, ne basanga omubisi gw'enjuki nga guttonye wansi wonna.
26
Awo abantu bwe batuuka mu kibira, laba, omubisi gw'enjuki nga gutonnya; naye ne wataba muntu yenna eyagukombako; kubanga baatya ekirayiro.
27
Naye Yonasaani teyawulira kitaawe bwe yalayiza abantu ekirayiro; kyeyava agolola omusa gw'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'agunnyika mu bisenge by'enjuki, nalyako nnafuna amaanyi.
28
Awo omu ku bantu n'amugamba nti, “Kitaawo yakuutira abantu n'abalayiza nga agamba nti, ‘Omuntu anaabaako kalya leero akolimirwe.’ ” Abantu kyebavudde bagwamu amaanyi.
29
Yonasaani n'agamba nti, “Kitange abonyaabonyeza abantu kale laba nze bwenzizeemu amaanyi bwendezeeko akatono ku mubisi gw'enjuki guno.
30
Tekyandisinzeko obulungi, singa olwaleero abantu baalidde ne bakkuta ku munyago gw'abalabe baabwe gwe baasanze era tebandisse Abafirisuuti bangi okusingawo?”
31
Ku lunaku olwo batta Abafirisuuti okuva e Mikumasi okutuuka e Ayalooni, Naye mu kiseera ekyo Abaisiraeri baali bayongobedde olw'enjala.
32
Awo abantu ne bagwa ku munyago, ne banyaga endiga n'ente n'ennyana ne bazittira awo; ne bazirya awamu n'omusaayi gwazo.
33
Awo ne bamubuulira Sawulo nti, “Laba abantu banyiziiza Mukama ne balya ennyama erimu omusaayi.” Sawulo n'agamba nti, “Musobezza, kale munjiringisize wano ejjinja eddene.”
34
Sawulo n'agamba nti, “Mugende mu bantu, mubagambe nti, ‘Buli muntu andetere ente ye oba endiga ye muzittire wano mulye, muleme okunyiiza Mukama nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Ekiro ekyo abantu bonna ne baleeta buli omu ente ye ne bazittira eyo.
35
Sawulo n'azimbira Mukama ekyoto; ekyo kye kyali ekyoto eky'olubereberye kye yazimbira Mukama.
36
Awo Sawulo n'ayogera nti, “Tuserengete tulumbe Abafirisuuti ekiro, tubanyage okutuusa emmambya lw'eneesala, tubattire ddala bonna.” Ne baddamu nti, “Kola kyonna kyonna ky'osiima.” Naye kabona n'agamba nti, “Tumale okwebuuza ku Katonda.”
37
Sawulo n'abuuza Katonda amagezi nti, “Nserengete okugoberera Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwa Isiraeri?” Naye Katonda n'atamuddamu ku lunaku olwo.
38
Sawulo n'ayogera nti, “Musembere wano, mmwe mwenna abakulu b'abantu; mwetegereze mulabe kibi ki ekikoleddwa olwaleero.
39
Kubanga Mukama alokola Isiraeri nga bw'ali omulamu, newakubadde nga kiri ku mutabani wange Yonasaani, taaleme kufa.” Naye ne wataba muntu n'omu mu bantu bonna eyamuddamu.
40
Awo n'agamba Isiraeri yenna nti, “Mmwe mubeere ku luuyi lumu, nange ne Yonasaani mutabani wange tunaaba ku luuyi olulala.” Abantu ne bagamba Sawulo nti, “Kola nga bw'osiima.”
41
Sawulo n'agamba Mukama Katonda wa Isiraeri nti, “Salawo ekituufu.” Awo akalulu ne kakwata Yonasaani ne Sawulo, abantu ne bawona.
42
Sawulo n'ayogera nti, “Kati mukubire nze ne mutabani wange Yonasaani akalulu.” Akalulu ne kagwa ku Yonasaani.
43
Awo Sawulo n'agamba Yonasaani nti, “Mbuulira by'okoze.” Yonasaani n'amugamba nti, “Okulega naleze ku tubisi tw'enjuki n'omusa gw'omuggo ogubadde mu mukono gwange; kale, laba kiŋŋwanidde okufa.”
44
Sawulo n'ayogera nti, “Katonda ambonereze n'obukambwe singa Yonasaani tottibwa.”
45
Abantu ne bagamba Sawulo nti, “Yonasaani anaafa akoze obulokozi buno obukulu mu Isiraeri? Kikafuuwe: nga Mukama bw'ali omulamu, tewaliba ku nviiri ze na lumu olunaagwa wansi: kubanga akoledde wamu ne Katonda leero.” Awo abantu ne banunula bwe batyo Yonasaani, n'atafa.
46
Awo Sawulo n'alekerawo okuwondera Abafirisuuti. Abafirisuuti ne baddayo ewaabwe.
47
Awo Sawulo bwe yamala okufuuka kabaka wa Isiraeri, n'alwana n'abalabe be bonna enjuyi zonna, Mowaabu n'abaana ba Amoni ne Edomu ne bakabaka ba Zoba n'Abafirisuuti; buli gye yakyukiranga yonna n'abawangula n'abayisa bubi.
48
N'alwana n'obuzira n'akuba Abamaleki, n'alokola Isiraeri mu mikono gy'abo abaabanyaganga.
49
Ne batabani ba Sawulo baali Yonasaani ne Isuvi ne Malukisuwa; n'amannya ga bawalawe ababiri ge gano; omubereberye erinnya lye Merabu, n'omuto erinnya lye Mikali;
50
ne mukazi wa Sawulo erinnya lye yali Akinoamu omwana wa Akimaazi; n'omukulu w'eggye lye erinnya lye yali Abuneeri mutabani wa Neeri muganda wa kitaawe wa Sawulo.
51
Ne Kiisi ye kitaawe wa Sawulo; ne Neeri kitaawe wa Abuneeri yali mutabani wa Abiyeeri.
52
Sawulo mu bulamu bwe bwonna yalwanyisa nnyo Abafirisuuti. Bwe yasanganga omusajja ow'amaanyi oba omuzira, ng'amuyingiza mu ggye lye.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31