bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 22
1 Samuel 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
1
Dawudi n'avaayo, n'addukira mu mpuku ya Adulamu; awo baganda be n'ennyumba ya kitaawe yonna bwe bawulira nga ali eyo ne bagenda gy'ali.
2
Awo buli muntu eyali alaba ennaku na buli muntu eyalina ebbanja na buli eyalina obuyinike, ne bagenda gy'ali; n'afuuka omukulembeze waabwe, bonna abammwe gattako ne bawera abasajja nga bina (400).
3
Awo Dawudi n'avaayo n'agenda e Mizupe ekya Mowaabu; n'agamba kabaka wa Mowaabu nti, “Kiriza kitange ne mmange babeere naawe, okutuusa lwe ndimanya Katonda by'alinkolera.”
4
Awo n'abaleeta eri kabaka wa Mowaabu; ne babeera naye ekiseera kyonna Dawudi kyeyamala ng'ali mu mpuku.
5
Awo nnabbi Gaadi n'agamba Dawudi nti, “Tobeera mu mpuku; vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi n'agenda n'abeera mu kibira e Keresi.
6
Awo Sawulo n'awulira nga Dawudi n'abasajja abaali naye baazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w'omumyuliru mu Gibeya eky'omu Laama, ng'akutte effumu lye mu ngalo, n'abaddu be bonna nga bayimiridde okumwetooloola.
7
Sawulo n'agamba abaddu be abaali bayimiridde okumwetooloola nti, “Muwulire nno, mmwe Ababenyamini; mutabani wa Yese aliwa buli omu ku mmwe ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu, n'abafuula abakulu mu maggye abakulira ebibinja by'enkumi oba;
8
kyemuvudde mwekobaana ne mundyamu olukwe, ne wataba n'omu antegezaako nga mutabani wange bw'eyalagaana endagaano ne mutabani wa Yese; tewali n'omu ku mmwe ansaasidde wadde antegeeza nti mutabani wange yapikiriza omuweereza wange okuteega nga bwakoze leero!”
9
Awo Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awali abaddu ba Sawulo, n'alyoka addamu n'ayogera nti, “Nnalaba mutabani wa Yese nga azze e Nobu, eri Akimereki mutabani wa Akituubu.
10
Akimereki n'amubuuliza eri Mukama n'amuwa eby'okulya n'amuwa ekitala ekyali ekya Goliyaasi Omufirisuuti.”
11
Awo kabaka n'alyoka atuumya Akimereki kitaawe ne bakabona, mutabani wa Akitubu, n'ennyumba yonna eya kitaawe, bakabona abaali e Nobu; ne bajja bonna eri kabaka.
12
Sawulo n'ayogera nti, “Wulira nno, ggwe mutabani wa Akitubu.” N'addamu nti, “Nze nzuuno, mukama wange.”
13
Sawulo n'amugamba nti, “Mwanneekobaanira ki ggwe ne mutabani wa Yese, kubanga wamuwa emigaati n'ekitala, n'omubuuliza neri Katonda, ankyukire okunteega nga bwakoze leero?”
14
Awo Akimereki n'addamu kabaka n'ayogera nti, “Era ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi obwesigwa? Ye mukoddomi wo, era ye muduumizi ow'ekibinja ky'abakuumi bo era ow'ekitiibwa mu lubiri lwo.
15
Nsoose leero okumubuuliza eri Katonda? Kiddire eri! kabaka aleme okussaako omuddu we ekigambo kyonna, newakubadde ennyumba ya kitange yonna; kubanga omuddu wo taliiko ky'amanyi ku bino byonna, newakubadde ebitono newakubadde ebingi.”
16
Kabaka n'ayogera nti, “Tooleme kufa, Akimereki, ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna.”
17
Awo kabaka n'agamba abambowa abaali bayimiridde okumwetooloola nti, “Mukyuke mutte bakabona ba Mukama; kubanga n'omukono gwabwe guli ne Dawudi, era kubanga baamanya nga yadduka, ne batakimbikkulira.” Naye abaddu ba kabaka ne bagaana okussaawo omukono gwabwe okugwa ku bakabona ba Mukama.
18
Awo kabaka n'agamba Dowegi nti, “Kyuka otte bakabona.” Awo Dowegi Omwedomu n'akyuka n'atta ku lunaku olwo bakabona kinaana mu bataano (85), abaayambalanga ekkanzu eza bafuta.
19
Sawulo n'alagira okutta abasajja n'abakazi, abaana abato n'abayonka, ente, endogoyi n'endiga eby'omu kibuga kya bakabona ekya Nobu.
20
Awo omwana omu owa Akimereki, mutabani wa Akitubu, erinnya lye Abiyasaali, n'awona n'adduka ne yeegatta ku Dawudi.
21
Abiyasaali n'abuulira Dawudi nga Sawulo bw'asse bakabona ba Mukama.
22
Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali nti, “Naamanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliyo, nga talirema kumubuulira Sawulo;” nze nnassa abantu bonna ab'omu nnyumba ya kitaawo.
23
Ggwe beera nange, totya; kubanga oyo anoonya obulamu bwange anoonya obulamu bwo; naye ggwe beera nange ojja kuba mirembe.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31