bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 7
1 Samuel 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 8 →
1
Awo Abakiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagireeta mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi, ne batukuza Eriyazaali mutabani we okukuumanga essanduuko ya Mukama.
2
Okuva ku lunaku essanduuko ya Mukama, lwe y'abeera mu Kiriyasuyalimu, wayitawo ekiseera kiwanvu, gyali emyaka abiri (20), n'ennyumba ya Isiraeri yonna ne bakaabirira Mukama nga bamunoonya.
3
Awo Samwiri n'agamba ennyumba ya Isiraeri yonna nti, “Oba nga mukomawo eri Mukama n'omutima gwammwe gwonna, kale muggyeewo bakatonda abalala ne Baasutaloosi bave mu mmwe, muteekereteekere Mukama emitima gyammwe, mumuweereze yekka, naye alibalokola mu mukono gw'Abafirisuuti.”
4
Awo abaana ba Isiraeri ne balyoka baggyawo Babaali ne Baasutaloosi, ne baweereza Mukama yekka.
5
Awo Samwiri n'ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isiraeri yenna bajje e Mizupa, nange ndibasabira eri Mukama.”
6
Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi era ne bagayiwa mu maaso ga Mukama, era ne basiiba ku lunaku olwo, ne boogerera eyo nti, “Twasobya ku Mukama.” Samwiri n'alamulira abaana ba Isiraeri Mizupa.
7
Awo Abafirisuuti bwe baawulira ng'abaana ba Isiraeri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abaami b'Abafirisuuti ne bajja okulumba Isiraeri. N'abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti.
8
Abaana ba Isiraeri ne bagamba Samwiri nti, “Tolekerawo kukaabirira Mukama Katonda waffe ku lwaffe atulokole mu mukono gw'Abafirisuuti.”
9
Awo Samwiri n'addira omwana gw'endiga oguyonka, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba eri Mukama; Samwiri n'akaabira Mukama ku lwa Isiraeri, era Mukama n'amuddamu.
10
Awo Samwiri bwe yali ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafirisuuti ne basembera okulwana ne Isiraeri; naye Mukama n'abwatuka okubwatuka okunene ku Bafirisuuti ku lunaku olwo n'abatiisa nnyo ne batabukatabuka ne badduka mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
11
Abasajja ba Isiraeri ne bava mu Mizupa ne bawonderera Abafirisuuti ne bagenda nga babatta okutuuka e Besukali.
12
Awo Samwiri n'addira ejjinja, n'alisimba wakati w'e Mizupa ne Seni, n'alituuma erinnya lyalyo Ebenezeri, ng'ayogera nti, “Okutuusa kaakano Mukama atubedde.”
13
Abafirisuuti ne bawangulwa bwe batyo, ne bataddayo lwa kubiri kulumba Isiraeri. Era omukono gwa Mukama gwalwana n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Samwiri.
14
Ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali bawambye ku Baisiraeri, ne bibaddira, okuva ku Ekuloni okutuuka e Gaasi. Bwe batyo Abaisiraeri ne beddiza ebitundu byabwe byonna, okuva ku Bafirisuuti. Era ne wabaawo emirembe wakati w'Abaisiraeri n'Abamoli.
15
Samwiri n'alamulira Isiraeri ennaku zonna ez'obulamu bwe.
16
Buli mwaka neyeetooloolanga ng'agenda e Beseri, Girugaali ne Mizupa; n'alamulira Isiraeri mu bifo ebyo byonna.
17
N'addangayo e Laama kubanga ye yali ennyumba ye; n'alamulira eyo Isiraeri, n'azimba eyo ekyoto eri Mukama.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31