bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 16
1 Samuel 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
1
Awo Mukama n'agamba Samwiri nti, “Olituusa wa okunakuwalira Sawulo nze nga mmaze okumugaana okuba kabaka wa Isiraeri? Jjuza ejjembe lyo amafuta ogende, ŋŋenda kukutuma eri Yese Omubesirekemu, kubanga nneefunidde kabaka mu batabani be.”
2
Samwiri n'ayogera nti, “Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'alikiwulira, alinzita.” Mukama n'amugamba nti, “ Twala ente enduusi ogende nayo oyogere nti, ‘Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.’
3
Oyite Yese ajje ku ssaddaaka, nange ndikulaga bw'olikola; era olinfukira amafuta ku oyo gwe ndikwatulira erinnya.”
4
Awo Samwiri n'akola ekyo Mukama kye yamugamba n'agenda e Besirekemu. Abakadde b'ekibuga ne bajja okumusisinkana nga bakankana ne bamubuuza nti, “Ozze mirembe?”
5
Samwiri n'addamu nti, “Mirembe; nzize kuwaayo ssaddaaka eri Mukama, mwetukuze tugende ffenna ku ssaddaaka.” N'atukuza Yese ne batabani be n'abayita okujja ku ssaddaaka.
6
Awo olwatuuka nga batuuse n'atunuulira Eriyaabu n'ayogera nti, “Mazima ono Mukama gw'alonze okufukako amafuta.”
7
Naye Mukama n'agamba Samwiri nti, “Totunuulira ndabika ye newakubadde obuwanvu bwe; kubanga mugaanyi, kubanga Mukama talaba ng'abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw'okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.”
8
Awo Yese n'alyoka ayita Abinadaabu n'amuyisa mu maaso ga Samwiri. Samwiri n'ayogera nti, “Era n'oyo Mukama tamulonze.”
9
Awo Yese n'ayisaawo Samma. Samwiri n'ayogera nti, “Era n'oyo Mukama tamulonze.”
10
Awo Yese n'ayisa batabani be musanvu (7) mu maaso ga Samwiri. Samwiri n'agamba Yese nti, “Mukama talonze mu abo.”
11
Samwiri n'abuuza Yese nti, “Batabani bo bonna we bali wano?” Yese n'addamu nti, “Wakyasigaddeyo asembayo obuto, alunda ndiga.” Samwiri n'agamba Yese nti, “Tumya bamukime, tetujja kutuula okutuusa nga azze wano.”
12
N'atumya n'amuyingiza. Yali mumyufu n'amaaso ge nga malungi era eyeegombebwa okutunuulirwa. Mukama n'agamba nti, “Golokoka omufukeko amafuta; kubanga ye wuuyo.”
13
Awo Samwiri n'alyoka addira ejjembe ery'amafuta, n'amufukako amafuta wakati mu baganda be omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n'amaanyi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. Awo Samwiri n'asituka n'addayo e Laama.
14
Awo omwoyo gwa Mukama gwali guvudde ku Sawulo, n'omuzimu omubi ogwava eri Mukama ne gumunakuwaza.
15
Awo abaddu ba Sawulo ne bamugamba nti, “Laba nno, omuzimu omubi oguva eri Katonda gukunakuwaza.
16
Mukama waffe alagire kaakano abaddu bo, abali mu maaso go, okunoonya omusajja omukubi w'ennanga ow'amagezi; awo olunaatuukanga omuzimu omubi oguva eri Katonda bwe gunaabanga ku ggwe, kale anaakubanga ennanga n'engalo ze naawe onoobeeranga bulungi.”
17
Sawulo n'agamba abaddu be nti, “Munfunire nno omusajja ayinza okukuba obulungi ennanga mumundeetere.”
18
Awo omu ku balenzi n'addamu n'ayogera nti, “Waliwo mutabani wa Yese Omubesirekemu, omukubi w'ennanga ow'amagezi, omusajja omulwanyi ow'amaanyi era omuzira, omutegeevu mu kwogera, omuntu omulungi era ne Mukama ali wamu naye.”
19
Sawulo kyeyava atumira Yese ababaka n'amugamba nti, “Mpeereza Dawudi mutabani wo alunda endiga.”
20
Yese n'addira endogoyi n'agitikka emigaati n'ensawo ey'eddiba ejjudde omwenge n'omwana gw'embuzi, n'abikwasa Dawudi mutabani we, abitwalire Sawulo.
21
Awo Dawudi n'ajja eri Saulo n'atandika okumuweereza. Sawulo n'amwagala nnyo era nnamulonda n'okusitulanga eby'okulwanyisa bye.
22
Sawulo n'atumira Yese n'amugamba nti, “Kiriza Dawudi abeerenga nange ampeereze; kubanga mwagadde nnyo.”
23
Awo olwatuukanga omuzimu omubi ogwava eri Katonda bwe gwajjanga ku Sawulo, Dawudi naakubanga ennanga; Olwo Sawulo omuzimu omubi ne gumuvaako nakkakkana n'abeera bulungi.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31