bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 17
1 Samuel 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 18 →
1
Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe okulwana, ne bakuŋŋaanira e Soko ekya Yuda, ne basiisira wakati w'e Soko ne Azeka mu Efusudammimu.
2
Sawulo n'abasajja ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu kiwonvu Era, ne basimba ennyiriri okulwana n'Abafirisuuti.
3
Abafirisuuti ne bayimirira ku lusozi eruuyi ne Isiraeri n'ayimirira ku lusozi eruuyi, ekiwonvu nga kiri wakati waabwe.
4
Ne mu lusiisira olw'Abafirisuuti ne muva omuzira, erinnya lye Goliyaasi, ow'e Gaasi, obuwanvu bwe emikono mukaaga (6) ko oluta.
5
Era yali atikkidde sseppewo ey'ekikomo ku mutwe gwe, n'ayambala ekizibawo eky'ekikomo; n'obuzito bw'ekizibawo bwali sekeri enkumi ttaano (5,000) ez'ekikomo.
6
Era yali ayambadde ku magulu eby'ebikomo, era yalina n'effumu ery'ekikomo ku kibegabega kye.
7
N'olunyago lw'effumu lye lwaliŋŋaanga omuti ogulukirwako engoye; n'effumu lye lyennyini obuzito bwalyo sekeri lukaaga (600) ez'ekyuma; n'oyo eyatwalanga engabo ye n'amukulemberanga.
8
Awo n'ayimirira n'alangira eggye lya Isiraeri n'abagamba nti, “Mwafulumira ki okusimba ennyiriri zammwe? Nze siri Mufirisuuti nammwe baddu ba Sawulo? Mwerondemu omusajja aserengete ajje gye ndi.
9
Bw'analwana nange n'anzita, kale tunaaba baddu bammwe; naye nze bwe nnamutta, mmwe munaaba abaddu baffe ne mutuweereza.”
10
Omufirisuuti n'ayogera nti, “Nsoomozezza eggye lya Isiraeri leero; mumpe omusajja tulwane ffembi.”
11
Awo Sawulo ne Isiraeri yenna bwe baawulira ebigambo ebyo eby'Omufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo.
12
Dawudi yali mutabani wa Mwefulaasi ow'e Besirekemuyuda erinnya lye Yese. Yese yalina batabani be munaana (8), era mu mirembe gya Sawulo yali akaddiye nnyo ng'akootakoota.
13
Batabani ba Yese abakulu abasatu (3) baali bagenze ne Sawulo mu lutalo; amannya gaabwe ge gano, Omubereberye Eriyaabu, Ow'okubiri Abinadaabu, n'ow'okusatu Samma.
14
Dawudi ye yali asembayo obuto. Bakulu be abo abasatu (3) bali baagoberedde Sawulo.
15
Naye Dawudi yaweerezanga Sawulo nga bwadda n'ekka okulunda endiga za kitaawe e Besirekemu.
16
Omufirisuuti yasomozanga Isiraeri enkya n'akawungeezi okumalira ddala ennaku ana (40).
17
Awo Yese n'agamba Dawudi mutabani we nti, “Twalira nno baganda bo abali mu lusiisira, efa y'eŋŋaano eno ensiike n'emigaati gino ekkumi (10), oyanguwe obitwale mu lusiisira;
18
twalira omuduumizi we kibinja kyabwe eky'olukumi (1,000) ebitole bino kkumi (10) eby'amata amakalu, olabe baganda bo bwe bali, era obaggyeko ne kintu kyonna ekinankakasa nga obalabye.
19
Sawulo ne baganda bo, n'Abaisiraeri bonna, baali mu lutalo mu kiwonvu ky'e Era, balwanyisa Abafirisuuti.”
20
Enkeera, Dawudi n'agolokoka mu makya, endiga n'azirekera omusumba, n'atwala ebintu nga Yese bwe yamulagira; n'atuuka mu kifo eky'amagaali, eggye lyali lifuluma okulwana era nga bayimba ennyimba z'entalo.
21
Awo Isiraeri n'Abafirisuuti ne basimba ennyiriri, eggye nga lyolekera eggye.
22
Dawudi n'aleka omugugu gwe mu mukono gw'omukuumi w'emigugu, n'adduka mbiro eri eggye n'ajja n'alamusa baganda be.
23
Awo bwe yali anyumya nabo, Goliyaasi omuzira Omufirisuuti ow'e Gaasi, naava mu nnyiriri z'Abafirisuuti n'ayogera ebigambo ebisomoza eggye lya Isiraeri, Dawudi n'abiwulira.
24
Awo abasajja bonna aba Isiraeri bwe baalaba omusajja ne batya nnyo ne badduka.
25
Abasajja Abaisiraeri ne bagamba nti, “Mulabye omusajja oyo eyesowoddeyo? Mazima asomozezza nnyo Isiraeri; naye omuntu yenna anaamutta, kabaka ajja kumuwa obugagga bungi, amuwe ne muwala we amuwase ne nnyumba ya kitaawe agifuule ya ddembe mu Isiraeri.”
26
Awo Dawudi n'abuuza abasajja abaali bamuyimiridde okumpi nti, “Omuntu anatta Omufirisuuti ono, n'aggya ekivume ku Isiraeri anaakolebwa atya? Kubanga Omufirisuuti ono atali mukomole ye ani okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?”
27
Abantu ne bamuddamu bwe bati nga boogera nti, “Bw'atyo bw'anaakolwa omuntu anaamutta.”
28
Awo Eriyaabu muganda we omukulu n'awulira ebigambo Dawudi byeyayogera n'abasajja; Eriyaabu n'asunguwalira Dawudi n'amubuuza nti, “Lwaki ozze wano? Endiga zo entono ozirekedde ani ku ttale? Mmanyi amalala go, n'obubi obuli mu mutima gwo, ozze kulaba lutalo.”
29
Dawudi n'agamba nti, “Nkoze ki kaakano? Nkoze bubi okubuuza?”
30
N'amulekawo n'akyukira omulala n'amubuuza ebigambo bye bimu nga bwe yabuuza olubereberye; abantu ne bamuddamu ebigambo bye bimu nga olubereberye.
31
Abaawulira ebigambo Dawudi bye yayogera, ne babibuulira Sawulo, Sawulo n'amutumya.
32
Dawudi n'agamba Sawulo nti, “Omuntu yenna aleme okuggwaamu omwoyo ku lwo Mufirisuuti oyo; omuddu wo ajja kugenda alwane naye.”
33
Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Toyinza kwaŋŋaanga kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga ggwe oli mulenzi bulenzi, naye ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe.”
34
Dawudi n'agamba Sawulo nti, “Omuddu wo yalunda endiga za kitaawe; awo bwe wajjanga empologoma oba ddubu n'eggya omwana gw'endiga mu kisibo,
35
nga nfuluma nga ngigoberera nga ngikuba nga ngigusuuza; awo bwe yangolokokerangako ne ngikwata mu malaka ne ngitta.
36
Omuddu wo yakuba empologoma era n'eddubu; n'Omufirisuuti oyo atali mukomole aliba ng'emu ku zo kubanga asomozezza eggye lya Katonda omulamu.”
37
Era Dawudi n'agamba nti, “Mukama eyamponya mu njala z'empologoma ne mu njala z'eddubu, alimponya ne mu mukono gw'Omufirisuuti oyo.” Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe!”
38
Awo Sawulo n'ayambaza Dawudi ebyambalo bye, n'amutikkira enkuufiira ey'ekikomo ku mutwe gwe, n'amwambaza ekizibawo eky'ekikomo.
39
Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku byambalo ebyo, n'agezaako okutambula, naye n'atasobola, kubanga yali tabimanyidde. N'agamba Saulo nti, “Sisobola kugendanga nnyambadde bino, kubanga sibimanyidde.” Dawudi n'abyeyambulamu.
40
N'akwata omuggo gwe, ne yeerondera amayinja amaweweevu ataano (5) mu kagga, n'agateeka mu nsawo ye ey'omusumba gye yalina, n'akwata envuumuulo ye; n'asemberera Omufirisuuti.
41
Awo Omufirisuuti n'ajja n'asemberera Dawudi; nga omusajja eyakwatanga engabo ye amukulembedde.
42
Awo Omufirisuuti bwe yalaba Dawudi, n'amunyooma; kubanga yali mulenzirenzi, mumyufu amaaso ge nga malungi.
43
Omufirisuuti n'agamba Dawudi nti, “Nze ndi mbwa n'okujja n'ojja gye ndi n'emiggo?” Awo Omufirisuuti n'akolimira Dawudi eri bakatonda be.
44
Omufirisuuti n'agamba Dawudi nti, “Jjangu gye ndi ngabire omubiri gwo ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko.”
45
Awo Dawudi n'agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n'ekitala n'olunyago n'effumu; naye nze njija gy'oli mu linnya lya Mukama ow'eggye, Katonda w'eggye lya Isiraeri, ly'osoomozezza.
46
Leero Mukama anaakugabula mu mukono gwange; era naakukuba ne nkutemako omutwe gwo; era n'agabira ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko emirambo egy'eggye ery'Abafirisuuti; ensi zonna zitegeere nga mu Isiraeri mulimu Katonda.
47
Era ekibiina kino kyonna kitegeere nga Mukama talokola na kitala na ffumu; kubanga olutalo lwa Mukama, naye anaabagabula mu mukono gwaffe.”
48
Awo olwatuuka Omufirisuuti bwe y'asembera okulwana ne Dawudi, ne Dawudi n'adduka mbiro okutuuka mu ddwaniro okusisinkana Omufirisuuti.
49
Awo Dawudi n'ayingiza engalo ze mu nsawo ye n'aggyamu ejjinja n'alivuumuula n'akuba Omufirisuuti ekyenyi; ejjinja ne liyingira mu kyenyi kye, n'agwa nga yevuunisse.
50
Awo Dawudi n'awangula bw'atyo Omufirisuuti n'envuumuulo n'ejjinja n'amutta; nga talina kitala mu mukono gwe.
51
Awo Dawudi n'adduka mbiro n'ayimirira ku Mufirisuuti, n'asowola ekitala ky'Omufirisuuti mu kiraato kyakyo, n'amutta n'amutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng'afudde ne badduka.
52
Awo abasajja ba Isiraeri n'aba Yuda ne bagolokoka ne balekana ne bawondera Abafirisuuti okutuusa e Gaayi ne ku miryango gya Ekuloni, n'Abafirisuuti abaafumitibwa ebiwundu ne bagwa ku kkubo eridda e Saalayimu, okutuusa e Gaasi ne Ekuloni.
53
Abaana ba Isiraeri ne baleka okuwondera Abafirisuuti ne bakomawo ne banyaga olusiisira lwabwe.
54
Awo Dawudi n'addira omutwe gw'Omufirisuuti n'agutwala e Yerusaalemi; naye n'ateeka eby'okulwanyisa bye mu weema ye.
55
Era Sawulo bwe yalaba Dawudi ng'afuluma okulwana n'Omufirisuuti, n'abuuza Abuneeri omukulu w'eggye nti, “Omulenzi oyo mwana w'ani?” Abuneeri n'addamu nti, “Nga ggwe bw'oli omulamu, ayi kabaka, simanyi.”
56
Kabaka n'ayogera nti, “Buuliriza omanye kitaawe w'omuvubuka oyo bw'ali.”
57
Awo Dawudi bwe yakomawo ng'asse Omufirisuuti, Abuneeri n'amutwala eri Sawulo, ng'akutte omutwe gw'Omufirisuuti mu mukono gwe.
58
Sawulo n'amubuuza nti, “Ggwe oli mwana w'ani, mulenzi ggwe?” Dawudi n'addamu nti, “Nze ndi mwana wa muddu wo Yese Omubesirekemu.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31