bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 11
1 Samuel 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 12 →
1
Awo Nakkasi Omwamoni n'alumba ekibuga Yabesugireyaadi naakizingiza; abantu bonna ab'e Yabesi ne bagamba Nakkasi nti, “Kola naffe endagaano tukuweerezenga.”
2
Nakkasi Omwamoni n'abagamba nti, “Nja kulagaana nammwe endagaano, singa mukkiriza okubajjamu amaaso gammwe gonna aga ddyo; ndyoke nfuule Isiraeri ekivume.”
3
Abakadde ab'e Yabesi ne bamusaba nti, “Tuwe ebbanga lya nnaku musanvu (7) tutume ababaka wonna mu Isiraeri, awo bwe walibulawo omuntu yenna ow'okutulokola, tulijja ne twewaayo gy'oli.”
4
Awo ababaka ne bagenda e Gibea ekya Sawulo ne bategeeza abantu ebigambo ebyo byonna; awo abantu bonna ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga.
5
Awo Sawulo n'ajja nga ava mu nnimiro nga agoba ente; n'abuuza nti, “Abantu babadde ki, lwaki bakaaba amaziga?” Ne bamubuulira ebigambo by'abasajja abavudde e Yabesi.
6
Awo Sawulo bweyawulira ebigambo ebyo; omwoyo gwa Katonda ne gujja ku ye n'amaanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo.
7
Awo Sawulo n'addira ente bbiri (2) n'azitematemamu ebitundu n'abiwa ababaka, ne babitwala wonna mu Isiraeri nga bagamba nti, “ Buli atalifuluma okugoberera Sawulo ne Samwiri, bwe zityo ente ze bwe zirikolebwa.” Ekitiibwa kya Mukama ne kigwa ku bantu, ne bafuluma ng'omuntu omu.
8
N'ababalira e Bezeki; abava mu Isiraeri baali obusiriivu busatu (300,000), n'abaava mu Yuda baali emitwalo esatu (30,000).
9
Ne bagamba ababaka nti, “Mugambe abantu ab'e Yabesugireyaadi nti, ‘Enkya, omusana nga gwase, munaafuna obulokozi.’ ” Ababaka ne bagenda ne babuulira abantu be Yabesi ebigambo ebyo ne basanyuka nnyo.
10
Abantu be Yabesi ne batumira Nakkasi ne bamugamba nti, “Enkya tujja kujja gye muli mutukole byonna bye mwagala.”
11
Awo olwatuuka enkeera Sawulo n'agabanyaamu abasajja be ebibinja bisatu; ne bagenda wakati mu lusiisira obudde nga bunaatera okukya, ne bakuba era n'ebatta Abamoni okutuusa omusana lwe gwakaza; abasigalawo ne basaasaana ne watasigala babiri abaali awamu.
12
Abantu ne babuuza Samwiri nti, “Baani ababuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Baleete tubatte.”
13
Sawulo n'ayogera nti, “Tewaabeewo muntu n'omu anattibwa leero; kubanga Mukama ye yalokodde Isiraeri.”
14
Awo Samwiri n'agamba abantu nti, “Mujje tugende e Girugaali, tunywereze eyo nate obwakabaka.”
15
Abantu bonna ne bagenda e Girugaali; Sawulo ne bamufuulira eyo kabaka mu maaso ga Mukama; ne basalira eyo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama; Sawulo n'abasajja bonna aba Isiraeri ne basanyukira nnyo eyo.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31