bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 9
1 Samuel 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 10 →
1
Awo waaliwo omusajja wa Benyamini, erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, Abiyeeri mutabani wa Zeroli, Zeroli mutabani wa Bekolaasi, ne Bekolaasi mutabani wa Afia Omubenyamini, omusajja ow'amaanyi omuzira.
2
Kiisi yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, omulenzi omulungi, era mu baana ba Isiraeri bonna temwali muntu eyali amusinga obulungi mu ndabika; okuva ku bibegabega bye okudda waggulu, yali asinga abantu bonna obuwanvu.
3
Awo endogoyi za Kiisi kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n'agamba Sawulo mutabani we nti, “Twala omu ku baddu mugende munoonye endogoyi.”
4
Awo n'ayita mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'ayita ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba. Awo ne bayita mu nsi ya Saalimu, nga teziri eyo, n'ayita mu nsi ey'Ababenyamini, naye ne bataziraba.
5
Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n'agamba omuddu we eyali naye nti, “Tuddeyo; kubanga kitange ajja kulekerawo okulowooza ku ndogoyi yeeraliikirire ffe.”
6
Omuddu we n'amugamba nti, “Laba nno, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era omusajja oyo bamussaamu ekitiibwa; byonna by'ayogera bituukirira. Tugende eyo kaakano; mpozzi ye anaayinza okutubuulira eby'olugendo lwaffe lwe tutambula.”
7
Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti, “Naye, laba, bwe tunaagenda, kiki kye tunaatwalira omusajja? Emmere etuweddeko era tetulina kirabo kyakutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?”
8
Omuddu n'amuddamu Sawulo nti, “Nninawo ekitundu ekyokuna ekya sekeri eya ffeeza, ekyo kye nnaawa omusajja wa Katonda atulagirire ekkubo lyaffe.”
9
Edda mu Isiraeri, omuntu bwe yagendanga okubuuza Katonda, n'ayogeranga bw'ati nti, “Jjangu tugende eri omulabi;” kubanga oyo ayitibwa nnabbi kaakano baamuyitanga mulabi edda.
10
Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti, “Oyogedde bulungi; jjangu tugende.” Awo ne bayingira mu kibuga omwali omusajja wa Katonda.
11
Awo bwe baali balinnya awayambukirwa mu kibuga, ne basanga abawala abato nga bafuluma okusena amazzi, ne babagamba nti, “Omulabi wali wano?”
12
Abawala ne babaddamu nti, “Waali era laba abakulembeddemu mwanguwe, yakatuuka mu kibuga, kubanga leero abantu balina okuwaayo ssaddaaka mu kifo ekigulumivu.
13
Amangu nga mwakayingira mu kibuga, munaamulaba nga tannaba kwambuka mu kifo ekigulumivu okulya; kubanga abantu tebaalye nga tannatuuka, kubanga ye yasabira ssaddaaka omukisa; olwo abaayitiddwa ne balyoka balya. Kale nno kaakano mwambuke mujja kumulaba.”
14
Awo Sawulo n'omuddu we ne bagenda mu kibuga. Bwe baali nga bakiyingiramu, ne balaba Samwiri ng'afuluma ng'ajja gyebali, bwe yali ng'agenda mu kifo ekigulumivu.
15
Awo Mukama yali abikkulidde Samwiri ng'ekyasigaddeyo olunaku lumu Sawulo okujja, ng'agamba nti,
16
“Enkya nga mu kiseera kino nnaaweereza gy'oli omusajja ava mu nsi ya Benyamini, era olimufukako amafuta okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri. Ye y'alirokola abantu bange mu mukono gw'Abafirisuuti; kubanga ntunuulidde abantu bange, kubanga okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”
17
Awo Samwiri bwe yalaba Sawulo, Mukama n'amugamba nti, “Laba omusajja gwe nnakugambyeko! Oyo ye aliba n'obuyinza ku bantu bange.”
18
Awo Sawulo n'asemberera Samwiri mu mulyango n'ayogera nti, “Mbuulira, nkwegayiridde, ennyumba ey'omulabi w'eri.”
19
Samwiri n'addamu Sawulo nti, “Nze mulabi. Nkulemberamu tugende mu kifo ekigulumivu, kubanga mujja kulya nange olwaleero. Enkya ku makya nnakubuulira ebyo byonna ebiri mu mutima gwo, ndyoke mbasiibule mugende.
20
N'endogoyi zo ezaakamala ennaku ssatu okubula, tozeeraliikirira; kubanga zirabise. Era byonna eby'egombebwa mu Isiraeri biriba by'ani? Tebiriba bibyo ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna?”
21
Sawulo n'addamu n'ayogera nti, “Nze siri Mubenyamini, ow'omu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? N'ennyumba yange si ye esinga obutono mu nnyumba zonna ez'ekika kya Benyamini? Kale kiki ekikwogeza nange bw'otyo?”
22
Awo Samwiri n'atwala Sawulo n'omuddu we n'abayingiza mu nju ey'abagenyi n'abatuuza mu kifo eky'oku mwanjo mu abo abaayitibwa, abantu nga asatu (30).
23
Samwiri n'agamba omufumbiro nti, “Leeta ennyama gyenakuwadde nenkugamba nti, ‘Gitereke.’ ”
24
Awo omufumbi n'aleeta ekisambi n'ebyakiriko n'akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Eno ye nnyama gye n'akuterekedde. Girye, kubanga yakuterekeddwa okutuusa ku kiseera ekyatekeddwawo, olyoke ogirye n'abagenyi.” Bw'atyo Sawulo n'aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo.
25
Awo bwe baali baserengese mu kibuga okuva mu kifo ekigulumivu, n'ateesa ne Sawulo waggulu ku nnyumba.
26
Ne bagolokoka mu makya, awo olwatuuka obudde nga bukya, Samwiri n'ayita Sawulo waggulu ku nnyumba ng'ayogera nti, “Golokoka, nkusindike ogende.” Sawulo n'agolokoka ne bafuluma bombi, ye ne Samwiri.
27
Bwe baali nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Lagira omuddu ayitemu atukulembere,” n'ayitamu, “naye ggwe yimirira buyimirizi wano nkutegeeze ekigambo kya Katonda.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31