bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 1
Deuteronomy 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 2 →
1
Bino bye bigambo Musa bye yagamba Isiraeri yenna, nga bali mu ddungu Alaba, ku ludda olw'ebuvanjuba bw'omugga Yoludaani. Baali mu kiwonvu kyagwo okumpi ne Sufu, wakati wa Palani ku ludda olumu, ne Toferi, Labani, Kazerosi ne Dizakabu ku ludda olulala.
2
Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu (11) okuva e Kolebu, okuyita mu nsi ya Seyiri ey'ensozi, okutuuka e Kadesubanea.
3
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ana (40), mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu (11), ku lunaku olw'omwezi ogwolubereberye, Musa n'ategeeza abaana ba Isiraeri byonna Mukama bye yamulagira okubabuulira.
4
Bino byabaawo ng'amaze okuwangula Sikoni, kabaka w'Abamoli, eyabeeranga e Kesuboni, ne Ogi kabaka w'e Basani, eyabeeranga mu Asutaloosi, ekiri mu Ederei.
5
Emitala w'omugga Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa gye yatandikira okunnyonnyola amateeka gano, n'agamba nti,
6
“Nga tuli ku lusozi Kolebu, Mukama Katonda waffe yayogera naffe ng'agamba nti, ‘Muludde nnyo ku lusozi luno.
7
Musituke, mutambule, mugende mu nsi ey'ensozi ey'Amoli, ne mu bifo byonna ebiriraanyeewo, mu Alaba, mu nsi ey'ensozi, ne mu nsi ey'olusenyi, ne mu bukiikaddyo, ne ku ttale ly'ennyanja, ensi y'Abakanani, ne Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene Fulaati.
8
Ensi yiiyo ngibalaze, muyingire mugirye, y'ensi Mukama gye yalayirira okuwa bajjajjammwe Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo ne bazzukulu baabwe.’ ”
9
Musa n'agamba abantu nti, “Nange mu kiseera ekyo n'abagamba mmwe nti, ‘Sisobola kubakulembera nzekka.
10
Mukama Katonda wammwe abaazizza, laba, leero muli ng'emmunyeenye ez'oku ggulu obungi.
11
Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, abaaze emirundi lukumi (1,000) okusinga nga bwe muli kati, era abawe omukisa, nga bwe yabasuubiza.
12
Naye nze nzekka nsobola ntya okwetikka obuvunaanyizibwa obwenkanidde awo, obw'okubalabirira n'okutawulula ennyombo n'enkaayana zammwe?’
13
Ne mbagamba nti, ‘mulonde abasajja abagezi, abategeevu era abamanyifu mu bika byammwe, abo mbafuule abakulembeze bammwe.’
14
Ne munziramu nti, ‘Kirungi, tukole nga bw'ogambye.’
15
Kale ne nzirira abakulembeze abagezi era abamalirivu, ne mbafuula abakulembeze ab'enkumi, n'ebikumi, n'abataano, n'ab'amakumi, era n'abamyuka, ng'ebika byammwe bwe biri.”
16
“Era n'akuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti, ‘Muwulirizenga ensonga, musalenga mu bwenkanya emisango egy'abantu b'eggwanga lyonna, era n'egyo egya bannamawanga ababeera mu mmwe.
17
Bwe munaasalanga emisango, temusalirizanga, munaawuliranga abato n'abakulu kyenkanyi; temutyanga maaso ga muntu, kubanga omusango gwa Katonda; era ensonga eneebalemanga mugireetenga gye ndi, nange nnaagiwuliranga.’
18
Era mu kiseera ekyo, nnabalagira byonna bye musaana okukola.”
19
“Awo ne tutambula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu liri lyonna eddene ery'entiisa lye mwalaba, mu kkubo eriyita mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tutuuka e Kadesubanea.
20
Ne mbagamba nti, ‘Mutuuse mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, Mukama Katonda waffe gy'atuwa.
21
Laba, Mukama Katonda wo atadde ensi mu maaso go; yambuka ogitwale ogituulemu nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba; totya so tokankana.’ ”
22
“Mwenna ne mujja gye ndi ne mwogera nti, ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo nga bwe biri.’ ”
23
“Ekigambo ekyo ne kinsanyusa nnyo; ne nnonda mu mmwe abantu kkumi na babiri (12), omuntu omu okuva mu buli kika;
24
ne bagenda ne bambuka ku lusozi, ne batuuka mu kiwonvu ekya Esukoli, ne bakiketta.
25
Ne banogayo ku bibala, ne babituleetera. Ne batubuulira nti, ‘Ensi Mukama Katonda waffe gy'atuwa, nnungi.’
26
“Naye mmwe ne mutakkiriza kugendayo, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe;
27
ne mwemulugunyiza mu weema zammwe, nga mugamba nti, ‘Mukama yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi ey'e Misiri, okutugabula mu mikono gy'Abamoli okutuzikiriza.
28
Twambuka wa? Baganda baffe batumazeemu amaanyi era batutiisizza,’ nga boogera nti, ‘abantu baayo banene, bawanvu okusinga ffe; ebibuga binene, byazimbibwako ebigo ebigulumivu ennyo; era twalabayo abaana ba Abanaki.’ ”
29
“Awo ne ndyoka mbagamba nti, ‘Temubatya so temutekemuka
30
Mukama Katonda wammwe abakulembera ye anaabalwaniriranga, nga bwe mwalaba byonna bye yabakolera e Misiri;
31
era ne mu ddungu mwalaba Mukama Katonda wammwe bwe yabasitula, ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe yabatuusa mu kifo kino.’
32
Naye newakubadde Mukama yabakolera ebyo byonna, temwamwesiga,
33
eyabakulemberanga okubanoonyeza ekifo eky'okusiisiramu. Yasinziiranga mu mpagi ey'omuliro ekiro, ne mu mpagi ey'ekire emisana, okubalaga ekkubo lye munaayitamu.”
34
“Mukama n'awulira bye mwayogera, n'asunguwala, n'alayira ng'ayogera nti,
35
‘Mazima tewalibaawo n'omu ku bantu bano ab'emirembe gino emibi aliyingira mu nsi eyo ennungi, gye nneerayirira okuwa bajjajjaabwe;
36
okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ndi muyingiza mu nsi gye yaketta, ye n'abaana be, kubanga yeesiga Mukama mu byonna.’
37
Nange Mukama n'ansunguwalira ku lwammwe, ng'ayogera nti, ‘Naawe toligiyingiramu.
38
Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wo oyo ye aligiyingiramu; mugumye omwoyo; kubanga ye yaligigabira abaana ba Isiraeri.’ ”
39
“Era abaana bammwe abo, abatannayawula kirungi na kibi, be mwagamba nti, ‘Balinyagibwa,’ be baliyingira mu nsi eyo.
40
Naye mmwe mukyuke mutambule nga mudda mu ddungu, nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emmyufu.”
41
“Naye ne muddamu ne muŋŋamba nti, ‘Tusobezza Mukama; ka twambuke tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.’ Buli muntu n'akwata eby'okulwanyisa bye, ne mwambuka nga mulowooza nti kyangu okulwanira mu nsi ey'ensozi.”
42
“Awo Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Bagambe nti temugenda so temulwana, kubanga Nze siri wamu nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’
43
Awo ne njogera nammwe, naye ne mutawulira; nga mujjudde amalala, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama ne mwambuka ku lusozi mulwane.
44
Awo Abamoli abaatuulanga ku lusozi olwo, ne bafuluma okubalumba nga bataamye ng'enjuki, ne babagoba ne babakuba okuva e Seyiri okutuusa e Koluma.
45
Ne mukomawo ne mukaabirira Mukama abayambe. Naye Mukama n'atabawuliriza era n'atabafaako.
46
Kye mwava mutuula mu Kadesi okumala ennaku nnyingi.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34