bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 22
Deuteronomy 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 23 →
1
“Bw'olabanga ente oba endiga ya munno nga ebula, togirekanga, ogizzangayo eri nnyiniyo.
2
Naye munno bw'abanga tali kumpi, oba nnyiniyo nga tomumanyi, ogitwalanga ewuwo, okutuusa nnyiniyo lw'aliginoonya n'ogimuwa. Era muganda wo bw'aba nga takuli kumpi oba bw'oba nga tomumanyi, onoogitwalanga eka ewuwo, eneebeeranga naawe okutuusa muganda wo lw'aliginoonya, n'ogizza nate gy'ali.
3
Era onookolanga bw'otyo ne ku ndogoyi ye, ne ku kyambalo kye, ne ku kintu ekirala kyonna ekinaabulanga n'okironda; si kirungi kukikweeka.”
4
“Bw'olabanga endogoyi ya munno oba ente ye nga egudde ku kkubo, togiyitangako; oyambanga n'ogiyimusa.”
5
“Omukazi tayambalanga kya kyambalo kyamusajja, so n'omusajja tayambalanga kyambalo kya mukazi; kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama Katonda wammwe.”
6
“Bw'osanganga ekisu ky'ennyonyi ku muti oba mu kkubo; nga kirimu amagi, oba obwana, nga nnyina waabwo amaamidde ku magi oba atudde ku bwana, totwalanga nnyina waabwo awamu n'amagi.
7
Oyinza okutwala obwana, nnyina waabwo n'omuta; olyoke olabenga ebirungi, era owangaalenga ennaku nnyingi.”
8
“Bw'ozimbanga ennyumba ey'akasolya akaagaagavu, okatekangako omuziziko; omuntu yenna aleme okuvaako okugwa, n'obaako omusango ogw'obussi.
9
Toosimbenga kirime kirala mu nnimiro yo ey'emizabbibu, olemenga kufiirwa bibala byonna: eby'ekirime kye wasimbamu, n'ebibala eby'emizabbibu, kubanga byonna bya Mukama.”
10
Tolimisanga nte n'endogoyi ku kikoligo ekimu
11
“Toyambalenga lugoye lulukiddwa nga batobeka ewuzi ez'ebyoya, n'ez'ekika ekirala.”
12
“Onootunganga ebijwenge ku nsonda ennya ez'ekyambalo kyo ky'oyambala.”
13
“Omusajja yenna bw'awasanga omukazi, ne yeegatta naye, ate oluvannyuma n'amukyawa,
14
n'amuwawaabira ng'amwogerako eby'ensonyi, n'ayonoona erinnya lye ng'agamba nti, ‘N'awasa omukazi ono, wabula n'amusanga si mbeerera,’
15
kitaawe ne nnyina w'omuwala oyo banatwalanga essuuka eyakozesebwa ku buliri, eriko obubonero obw'obutamanya musajja; ne bagireetera abakadde b'ekibuga, mu mulyango awasalirwa emisango, okukakasa nti omuwala yali mbeerera,
16
kitaawe w'omuwala n'agamba abakadde nti, ‘Omusajja ono n'amuwa mwana wange okumuwasa, naye amukyaye;
17
era, laba, amuwawaabidde eby'ensonyi, ng'agamba nti saalaba mu mwana wo bubonero bwa butamanya musajja; era naye obubonero bw'omwana wange obw'obutamanya musajja buubuno.’ Awo ne banjuluza essuuka mu maaso g'abakadde b'ekibuga.
18
Awo abakadde b'ekibuga ekyo ne batwala omusajja oyo ne bamukuba;
19
ne bamutanza sekeri eza ffeeza kikumi (100), ne baziwa kitaawe w'omuwala oyo, kubanga omusajja oyo yayonoona erinnya ly'omwana embeerera Omuisiraeri; era anaabanga mukazi wa musajja oyo obutamugobanga ennaku zonna.
20
Naye omusajja ky'alumiriza bwe kinaabanga ekituufu, nga tewali bukakafu bulaga nti omuwala yali mbeerera,
21
awo banaamutwalanga ku mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kyabwe banaamukubanga amayinja ne bamutta, kubanga yakola eby'ensonyi mu Isiraeri, n'ayendera mu nnyumba ya kitaawe; bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi ekyo mu Isiraeri.”
22
“Omusajja bw'anaakwatibwanga nga yeegasse n'omukazi omufumbo, bombi banattibwanga; bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi ekyo mu Isiraeri.”
23
“Bwe wabangawo omuwala embeerera ayogerezebwa, omusajja omulala n'amusanga mu kibuga ne yeegatta naye;
24
bombi munabatwalanga ku wankaaki w'ekibuga ekyo ne mu bakuba amayinja ne bafa, kubanga omuwala teyakuba nduulu ng'ali mu kibuga; era kubanga n'omusajja ye gatta ne mukazi wa munne; bw'otyo bw'onoggyanga ekibi ekyo wakati mu Isiraeri.”
25
“Naye omusajja bw'asanganga omuwala ayogerezebwa mu nnimiro, n'amukaka okwegatta naye; omusajja yekka y'anattibwanga.
26
Naye omuwala temumukolangako kabi konna, kubanga anaabanga talina kibi kimusaanyiza kuttibwa; kino kifaanana n'omuntu afubutukira munne n'amutta.
27
Kubanga omuwala oyo ayogerezebwa, yasangibwa mu nnimiro, n'akuba enduulu, ne watabaawo amudduukirira.”
28
“Omusajja bw'anaagwikirizanga omuwala embeerera atayogerezebwa, n'amukwata, ne yeegatta naye, ne babalaba;
29
kale omusajja oyo, anaawanga kitaawe sekeri eza ffeeza ataano (50), olwo n'alyoka afuuka mukazi we, kubanga yeegatta naye, era tamugobanga ennaku zonna ez'obulamu bwe.”
30
Omusajja teyegattanga na muka kitaawe, aleme okuswaza kitaawe.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34