bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 28
Deuteronomy 28
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 29 →
1
Bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo n'okugondera ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi
2
Bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo, emikisa gino gyonna ginaakujjiranga era ginaakutuukangako.
3
Onoobanga n'omukisa mu kibuga, era onoobanga n'omukisa mu kyalo.
4
Onoobanga n'omukisa n'ozaala abaana bangi, era n'oyaza ebirime, ebiraalo by'ente, ebisibo by'endiga n'embuzi.
5
Onoobanga n'emmere ekumala okulya n'okutta.
6
Onoobanga n'omukisa bw'onooyingiranga, era onoobanga n'omukisa bw'onoofulumanga.
7
Abalabe bwe banaakulumbanga okukulwanyisa Mukama anaakuwanga obuwanguzi. Banaafulumanga okukulumba mu kkubo limu, naye ne badduka okuva mu maaso go mu makubo musanvu.
8
Mukama anaawanga omukisa emirimu gyo gyonna n'amaterekero go ganajjulanga emmere era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu nsi gy'akuwa okutuulamu.
9
Bw'onookwatanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo n'otambuliranga mu makubo ge, Mukama anaakufuulanga eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakulayirira.
10
Amawanga gonna ag'oku nsi bwe ganaalabanga ng'otuumiddwa erinnya lya Mukama; ganaakutyanga.
11
Mukama anaakuwanga ebirungi bingi, n'ozaala abaana bangi, n'ayaza ebisibo byo era n'ebirime byo, mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.
12
Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi ery'omu ggulu, n'atonnyesa enkuba mu biseera byayo, era n'akuwa omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola; era onoowolaga amawanga mangi naye nga ggwe tewewola.
13
Bw'onoowuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkukuutira leero okubikwatanga n'okubikola, Mukama anaakufuulanga mutwe, so si mukira; era onoobanga waggulu wokka so si wansi.
14
Tokyamanga mu kigambo kyonna okuva ku ebyo bye nkulagira leero, n'oweereza bakatonda abalala.
15
Naye, bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n'amateeka ge bye nkulagira leero; ebikolimo bino byonna birikujjira, era birikutuukako.
16
Olikolimirwa mu kibuga, era olikolimirwa mu kyalo.
17
Onoozaalanga abaana batono n'ebikungulwa byo binaabanga bitono ddala. Toobenga na mmere ekumala, era bw'onoolyanga tokkutenga
18
Toozaalenga baana bangi, era n'ebikungulwa byo binaabanga bitono ddala; ebiraalo by'ente zo n'embuzi zo tebiiyalenga.
19
Onookolimirwanga bw'onooyingiranga era onookolimirwanga bw'onoofulumanga.
20
Bw'onookolanga ebibi n'ova ku Mukama, anaakuleetangako ebikolimo, n'okulemwa, n'okunenyezebwa mu byonna by'onookolanga okutuusa lw'olizikirizibwa n'oggweerawo ddala mangu.
21
Mukama anaakuleetangako kawumpuli anaakumalirangawo ddala okuva mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okubeeramu.
22
Mukama anaakuleetangako endwadde ezinaakukenenyanga, n'omusujja, n'okuzimba, n'okubabuukirirwa okungi. Era anaakusindikiranga entalo n'ekyeya n'okugengewala kw'ebirime. Ebyo byonna binaakulemerangako okutuusa lw'oliggweerawo ddala.
23
Katonda anaaggalangawo eggulu enkuba n'etatonnya, n'ettaka lyo linaafukanga olukalajje.
24
Mu kifo ky'enkuba, Mukama anaasindikanga mbuyaga ya nfuufu n'omusenyu mu nsi yo, okutuusa lw'olizikirira.
25
Abalabe bo bwe banaakulumbanga Mukama anaakuvangamu ne bakuwangula; bw'onoofulumanga okubalumba okuva mu kkubo erimu on'oddukanga okuva mu maaso gaabwe mu makubo musanvu. Amawanga gonna ag'oku nsi, bwe ganaawuliranga ebikutuuseeko ganeewuunyanga, negatya.
26
Bw'onoofanga omulambo gwo gunaabanga kya kulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko; so tewaabengawo aziguŋŋumula.
27
Mukama anaakuleetangako amayute nga ge yalwaza Abamisiri, amabwa, n'endwadde ez'okwetakula, ebitawona.
28
Mukama anaakusuulanga eddalu, anaakuzibanga amaaso era anaakweraliikirizanga.
29
Onoowammantanga mu ttuntu, ng'omuzibe w'amaaso bw'awammantira mu kizikiza, so toolabenga mukisa mu makubo go; onoojoogebwanga bujoogebwa era onoonyagibwanga ennaku zonna, so tewaabengawo akulokola
30
Bw'onooyogerezanga omukazi, omusajja omulala aneegattanga naye; bw'onozimbanga ennyumba, togisulengamu; era bw'onosimbanga olusuku lw'emizabbibu, toolyenga ku bibala byalwo.
31
Ente yo enettibwanga nga olaba, naye toolyenga ku nnyama yaayo; endogoyi yo eneenyagibwanga ng'otunula, so tekuddizibwenga; n'endiga zo zinaagabirwanga abalabe bo, naye toobengako akuyamba.
32
Batabani bo ne bawala bo banaawambibwanga; onookandanga kutunula buli lunaku bakomewo, nga buteerere, naawe toobengako ky'oyinza kukola.
33
Eggwanga ly'otomanyi lirirya ebikungulwa byonna eby'ettaka lyo byewateganira; era onoojoogebwanga, n'onyigirizibwanga ennaku zonna.
34
Ennaku eyo gy'onoolabanga eneekulalusanga.
35
Mukama anaakulwazanga ku maviivi ne ku magulu amayute agatawonyezeka, ne gakubuna omubiri gwonna, okuva ku bigere okutuuka ku mutwe.
36
Mukama anaakuwaŋŋangusanga ggwe, ne kabaka wo gw'olyerondera okukufuga; n'akutwala mu ggwanga eddala, ggwe ne bajjajjaabo lye mutamanyangako, era onooweererezanga eyo ba katonda abalala, emiti n'amayinja.
37
Mu nsi Mukama gy'anaabanga akuwaŋŋangusirizza, abantu baamu baneewuunyanga ekikutuuseko ggwe, n'owemuka ne bakusekerera.
38
Onoosiganga ensigo nnyingi, naye n'okungulanga ebibala bitono, kubanga enzige zinaabiryanga.
39
Bw'onosimbanga ensuku ez'emizabbibu, n'ozirabirira, toonywenga ku mubisi gwamu newakubadde okukungulamu ebibala, kubanga obuwuka bunaagiryanga.
40
Onoobanga n'emizeyituuni mu nsi yonna; naye toosaabenga mafuta gaagyo; kubanga ginaakunkumulanga ebibala byagyo.
41
Olizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye tebaabenga babo; kubanga balitwalibwa mu busibe.
42
Emiti gyo gyonna n'ebikungulwa okuva mu ttaka lyo enzige zinaabiryanga.
43
Bannaggwanga ababeera mu nsi yo baneeyongeranga okukulakulana, naye ggwe nga weeyongera kufeeba.
44
Munnaggwanga anaakuwolanga naye ggwe nga tolina ky'oyinza kumuwola; ye anaabeeranga waggulu, ggwe n'obeera wansi, era ye anaakufuganga.
45
Era ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga binaakugobereranga binaakutuukangako okutuusa lw'olizikirizibwa; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye n'amateeka ge bye yakulagira:
46
era binaabanga ku ggwe okuba akabonero n'ekyewuunyo, ne ku zzadde lyo ennaku zonna:
47
kubanga tewaweereza Mukama Katonda wo n'essanyu era n'omutima ogujaguza, olw'ebintu byonna okuba ebingi:
48
kyonoovanga oweereza abalabe bo Mukama b'anaasindikanga okukulumba, ng'olumwa enjala n'ennyonta, era ng'oli bwereere, era ng'obulwa ebintu byonna: era anaateekanga ekikoligo eky'ekyuma ku nkoto yo, okutuusa lw'alimala okukuzikiriza.
49
Mukama alikuleetako ggwe abantu ab'eggwanga eddala ng'abaggya ewala ku nkomerero gy'ensi; aboogera olulimi lw'ototegeera, ne bafubutuka ne bakulumba ng'empungu bw'ekola.
50
Abo baliba bakambwe, nga tebatya bakadde, wadde okusaasira abaana abato.
51
Banaalyanga ebisolo byo n'emmere gy'olimye, ne batakulekerawo ŋŋaano wadde omubisi gw'emizabbibu oba amafuta g'omuzeeyituni; wadde ente oba embuzi; n'ofa enjala n'ozikirira.
52
Era banaakuzingizanga mu bibuga byo byonna ebiwanvu era ebigumu bye weesiga, ebiri mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwadde, ne babimenyaamenya.
53
Mukuzingizibwa ne mukunyigirizibwa abalabe, onoolyanga abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala Mukama Katonda wo baakuwadde.
54
Omusajja ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, bwalituuka okulya abamu ku baana be, ku nnyama eyo taliwaako muganda we, oba mukazi we omuganzi, wadde abaana be abakyaliwo.
55
Era olw'obutabaako ky'alya kirala kyonna, ku nnyama y'abaana be banaalyanga, taliwaako muntu mulala yenna, olw'okuzingizibwa n'okunyigirizibwa abalabe kw'anaabangamu.
56
Omukazi ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, ataganya na kulinnya kigere kye ku ttaka; olw'okuzingizibwa n'okunyigirizibwa abalabe, bba gw'ayagala ennyo, ne mutabani we, ne muwalawe anaabalyangako ennyama y'omwana gwe yaakazaala n'ekitanyi mu nkukutu,
57
anaabalyangako mu nkukutu omwana gwe yaakazaala, n'ekitanyi, olw'okubulwa eby'okulya, n'okuzingizibwa, n'okunyigirizibwa abalabe.
58
Bw'otookwatenga ebiri mu mateeka gano gonna agawandiikiddwa mu kitabo kino n'obituukiriza, era bw'otatyenga linnya lya Mukama Katonda wo ery'ekitiibwa era ery'entiisa,
59
Mukama anaakuleeteranga ggwe n'ezzadde lyo okubonaabona okutatendeka, okunene era okutasalako, n'endwadde embi era ezitawona, anaafuulanga ebibonyoobonyo eby'ekitalo, n'ebibonyoobonyo by'ezzadde lyo, ebibonyoobonyo ebinene era ebirwawo ennyo, era endwadde enkambwe era ezirwawo ennyo.
60
Era alikulwaza endwadde zonna ez'e Misiri ze watyanga; zinaakwezingangako ggwe.
61
Era anaakuleeteranga buli ndwadde, n'okubonaabona ebitawandiikiddwa mu kitabo eky'amateeka gano, okutuusa lw'olizikirizibwa.
62
Bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, ne bwe mulyala okwenkana emmunyeenye ez'oku ggulu mulikendeera.
63
Nga Mukama bwe yasanyuka okubakolera ebirungi n'okubaaza, bw'atyo bw'anaasanyukanga okubazikiriza n'okubasaanyaawo, okuva mu nsi gye mugenda okubeeramu.
64
Era Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'ensi; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo, emiti n'amayinja.
65
Era mu mawanga ago tolisanyukirayo, tolibaako w'otereera, wabula Mukama alikuwa omutima ogweraliikirira, nga tolaba w'olaga era nga tolina ssuubi.
66
Emisana n'ekiro, obulamu bwo bunaabanga mu kutya n'okweraliikirira nga tomanyi kigenda kukubaako.
67
Ku nkya onooyogeranga nti Singa buwungedde! era n'akawungeezi onooyogeranga nti Singa bukedde! olw'ebyo by'onoolabanga n'olw'okutya okungi n'okweraliikirira.
68
Mukama alikuddizaayo mu lyato e Misiri, gye nakugamba nti toliddayo gwa kubiri. Nga oli eyo, olyewaayo eri abalabe bo bakugule ng'omuddu oba omuzaana, naye tewaliba akugula.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34