bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 8
Deuteronomy 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 9 →
1
“Ebiragiro byonna bye mbalagira leero munaabikwatanga ne mubikola, mulyoke mubeerenga abalamu, mwalenga, muyingire mutuule mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe.
2
Era munajjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wammwe lwe yabatambuza mu ddungu emyaka ana (40), alyoke abatoowaze, abagezese, ategeere ebyali mu mitima gyammwe, oba nga munaakumanga ebiragiro bye oba nedda.
3
N'abatoowaza n'abalumya enjala, n'abaliisa emmaanu gye mwali temumanyi wadde bajjajjammwe, alyoke abayigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula n'olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama.
4
Ebyambalo byammwe tebyakaddiwako n'ebigere byammwe tebyazimbako emyaka gyonna ana.
5
Era mutegeerenga mu mitima gyammwe nti ng'omuntu bw'akangavvula omwana we, ne Mukama Katonda wammwe bw'abakangavvula mmwe.
6
Era muneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mutambulira mu makubo ge nga mumussaamu ekitiibwa.
7
Kubanga Mukama Katonda wammwe abatwala mu nsi ennungi omuli amazzi ag'emigga, ag'enzizi n'ebidiba, agakulukutira mu nsozi ne mu biwonvu;
8
ensi ey'eŋŋaano ne sayiri, n'emizabbibu n'emitiini n'emikomamawanga;
9
ensi mwonooliiranga emmere nga teggwaawo, toobengako ky'obulwa omwo; enjazi zaayo zirimu ekyuma, ne mu nsozi zaayo muyinza okusimamu ekikomo.
10
Era munaalyanga ne mukkuta, ne mwebaza Mukama Katonda wammwe olw'ensi ennungi gye yabakuwa.”
11
“Mwekuumenga muleme okwerabira Mukama Katonda wammwe, obutagonderanga biragiro bye n'amateeka ge byembalagira leero:
12
bw'onoomalanga okulya n'okkuta, era ng'omaze okuzimba ennyumba ennungi n'okutuula omwo;
13
era ente zo n'embuzi zo nga zaaze, n'effeeza yo ne zaabu yo nga byaze, ne byonna by'olina nga byaze;
14
kale omutima gwo gulemenga okufuna amalala ne weerabira Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu;
15
eyabayisa mu ddungu eddene era ery'entiisa, omwali emisota n'enjaba eby'obusagwa. Mu ddungu eryo ekkalu omutaali mazzi, yabaggyira amazzi mu lwazi olw'embaalebaale; oyo
16
eyabaliisizazanga emmaanu mu ddungu, bajjajjammwe gye batalyangako, alyoke abatoowaze, abagezese, era ku nkomerero alyoke abawe ebirungi era abakole bulungi.
17
Temwogeranga mu mitima gyammwe nti, ‘Obuyinza bwaffe n'amaanyi g'emikono gyaffe bye bitufunidde obugagga buno.’
18
Naye munajjukiranga Mukama Katonda wammwe, kubanga oyo y'abawa obuyinza okufuna obugagga; alyoke atuukirize endagaano gye yalayirira ne bajjajjammwe nga bwe kiri leero.
19
Awo olunaatuukanga, bwe muneerabiranga Mukama Katonda wammwe ne mugoberera bakatonda abalala ne mubaweereza, ne mubasinza, mbategeeza leero nga temulirema kuzikirira.
20
Bwe muligaana okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe, nammwe mulizikirira bwe mutyo ng'amawanga Mukama g'alizikiriza mu maaso gammwe.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34