bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 9
Deuteronomy 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 10 →
1
“Muwulire, Mmwe abaana ba Isiraeri: Leero mugenda kusomoka Yoludaani, okuyingira okuwangula amawanga agabasinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebyazimbibwako ebigo ebigulumivu ennyo;
2
abantu abanene, abawanvu, abaana b'Anaki, be mumanyi, era be mwawulirako nga boogerwako nti, ‘Ani ayinza okubaŋŋaanga?’
3
Kale mumanye leero nga Mukama Katonda wammwe ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya buli kintu; alibazikiriza, era alibamegga mu maaso gammwe; bwe mutyo bwe mulibagobamu, ne mubazikiriza mangu, nga Mukama bwe yabagamba
4
Mukama Katonda wammwe bw'alimala okubagoba mu maaso gammwe, temwogeranga mu mitima gyammwe nti, Tuwangudde ensi eno olw'obutuukirivu bwaffe; kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama ky'ava agagoba mu maaso go.
5
Si lwa butuukirivu bwammwe so si lwa bugolokofu bwa mitima gyammwe, kyemuva muyingira okutwala ensi yaabwe: naye olw'obubi bw'amawanga ago, Mukama Katonda wammwe kyava agagoba mu maaso gammwe, alyoke anyweze ekigambo kye yalayirira bajjajjammwe, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
6
Kale mutegeere nga Mukama Katonda wammwe tabawa nsi eno nnungi kugitwala lwa butuukirivu bwammwe; kubanga muli ggwanga eririna emputtu.”
7
“Mujjukire temwerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wammwe mu ddungu; kubanga okuva ku lunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino, mujeemera Mukama.
8
Era ne ku lusozi Kolebu mwasunguwaza Mukama, n'abanyiigira, era katono abazikirize.
9
Bwe nnalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, n'amalayo ennaku ana (40) emisana n'ekiro nga ssirya mmere so nga ssinywa mazzi.
10
Mukama n'ampa ebipande bibiri eby'amayinja ye yennyini byeyawandiikako n'engalo ye; bye bigambo byonna bye yayogera nammwe ku lusozi ng'asinziira wakati mu muliro, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako.
11
Awo olwatuuka ennaku ana (40) bwe zaayitawo emisana n'ekiro, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano.
12
Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka ove wano, oserengete mangu; kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaananyi ekisaanuuse.’
13
Era Mukama ne yeeyongera n'aŋŋamba nti, ‘Ndabye eggwanga lino, era, laba, lye ggwanga eririna emputtu;
14
ndeka mbazikirize, nsangule erinnya lyabwe okuva ku nsi; naye ggwe ndikufuula eggwanga eribasinga amaanyi n'obukulu.’
15
Awo ne nkyuka ne nva ku lusozi, nga lukyayaka omuliro, era n'ebipande eby'endagaano byombi nga biri mu mikono gyange gyombi.
16
Ne ntunula, era, laba, mwali mumaze okusobya ku Mukama Katonda wammwe; nga mwekoledde ennyana ensaanuuse, nga mumaze okukyama amangu ago okuva mu kkubo Mukama lye yabalagira.
17
Ne nkwata ebipande byombi ebyali mu mikono gyange, ne mbikasuka ku ttaka ne bimenyekeramenyekera mu maaso gammwe.
18
Ne nvuunama mu maaso ga Mukama, ng'olubereberye, okumala ennaku ana (40) emisana n'ekiro nga ssirya mmere era nga ssinywa mazzi olw'okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona, nga mukola ebibi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.
19
Kubanga nnatya obusungu n'ekiruyi kya Mukama bwe yali ng'amaliridde okubazikiriza. Naye Mukama n'ampulira ne ku mulundi ogwo.
20
Era Mukama n'asunguwalira nnyo Alooni n'ayagala okumuzikiriza; wabula ne musabira nnyo mu kiseera ekyo.
21
Ne nzirira ekibi kyammwe, ye nnyana gye mwali mukoze, ne ngyokya omuliro, ne ngisambirira, ne ngisekulasekula nnyo, okutuusa lwe yafuuka ng'enfuufu; enfuufu eyo ne ndyoka ngiyiwa mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi.”
22
“Era n'e Tabera, n'e Masa, n'e Kiberosukataava nayo mwasunguwalizaayo Mukama.
23
Era Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesubanea, ng'ayogera nti, ‘Mwambuke mutwale ensi gye mbawadde;’ mwajeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye.
24
Okuva ku lunaku lwe nnabamanya mubadde mujeemera Mukama.”
25
“Awo ne nvuunama mu maaso ga Mukama ennaku ana (40) emisana n'ekiro; kubanga Mukama yali ayogedde nga bw'agenda okubazikiriza.
26
Ne nsaba Mukama nga njogera nti, Ayi Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo era obusika bwo, be wanunula olw'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi.
27
Jjukira abaddu bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo; totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano newakubadde obubi bwabwe newakubadde okwonoona kwabwe;
28
ensi gye watuggyamu ereme okwogera nti, Kubanga Mukama teyasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era kubanga yabakyawa, kyeyava abatwala mu ddungu okubatta.
29
Naye be bantu bo, era bwe busika bwo, be waggya mu Misiri n'obuyinza bwo obungi era n'omukono gwo ogw'amaanyi.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34