bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 32
Deuteronomy 32
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 33 →
1
Wulira, ggwe eggulu, nange naayogera; N'ensi ewulire ebigambo by'akamwa kange.
2
Okuyigiriza kwange kunaatonnya ng'enkuba, Okwogera kwange kunaagwa ng'omusulo; Ng'obukubakuba ku ssubi eggonvu, Era ng'oluwandaggirize ku muddo
3
Kubanga nnaatenda erinnya lya Mukama: Ne njatula obukulu bwa Katonda waffe.
4
Lwazi, omulimu gwe mutuukirivu; Asalawo obulungi ensonga; Katonda mwesigwa, w'amazima, Akola ebituufu eby'obwenkanya.
5
Naye abantu be boonoonyi, era tebasaanidde kuba babe. Bafuuse ggwanga kkakanyavu, eryakyama.
6
Bwe mutyo bwe musasula Mukama, Mmwe abantu abasirusiru abatalina magezi? Ye Kitammwe eyabagula, n'abateekawo; n'abafuula eggwanga.
7
Jjukira ennaku ez'edda, Lowooza emyaka emingi egiyise; Mubuuze bakitammwe, babalage; Bakadde bammwe bababuulire ebyaliwo.
8
Ali waggulu ennyo bwe yawa amawanga obusika bwabwe, Bwe yayawula abaana b'abantu, Yassaawo ensalo z'amawanga Ng'omuwendo bwe gwali ogw'abaana ba Isiraeri.
9
Kubanga Mukama ye nnyini yalonda abaana ba Yakobo, okuba omugabo gwe era obusika bwe.
10
Yabasanga babungeetera mu ddungu, ekkalu kibuyaga mw'akuntira, N'abakuuma n'abalabirira, ng'omuntu bw'alabirira emmunye y'eriiso lye.
11
Ng'empungu esaasaanya ekisu kyayo, Epaapaalira ku bwana bwayo, Yayanjuluza ebiwaawaatiro bye, n'abatwala, N'abasitulira ku byoya bye.
12
Mukama yekka ye yabakulembera, So tewaali katonda mulala eyamuyambako.
13
Yabawa okutuula mu nsi ey'ensozi, Ne balya emmere ey'omunnimiro; Ne balya omubisi gw'enjuki okuva mu njazi, Ettaka ery'oluyinjayinja ne libaza emizeyituuni gyabwe.
14
Yabawa omuzigo gw'ente n'amata okuva mu bisibo byabwe, N'amasavu g'endiga ez'e Basani, n'ennyama y'embuzi ensava, N'abawa n'eŋŋaano ennungi, n'omwenge ogw'emizabbibu omulungi;
15
Naye Yesuluuni bwe yagaggawala n'ajeema; Mwagejjulukuka, ne munyirira, ne munneewulirirako; Ne muva ku Katonda eyabakola, Ne munyooma Olwazi olw'obulokozi bwammwe.
16
Baamukwasanga obuggya nga baweereza bakatonda abalala, Baamusunguwazanga n'eby'emizizo.
17
Baawanga ssaddaaka balubaale abatali Katonda, Bakatonda abatamanyiddwa, Bakatonda abaggya abaakajja bayimuke, Bajjajjaabwe be batasinzanga.
18
Lwazi eyabazaala temumujjukira, Era mwerabidde Katonda eyabazaala.
19
Mukama bwe yakiraba n'asunguwala, N'atamwa batabani be ne bawala be.
20
N'ayogera nti, Naabakisa amaaso gange, Ndiraba enkomerero yaabwe bw'eriba; Kubanga gye mirembe egy'ekyejo ekingi, Abaana omutali kukkiriza.
21
Bankwasanga obuggya n'ekyo ekitali Katonda; Bansunguwazanga n'ebigambo byabwe ebitaliimu: Nange ndibakwasa obuggya eri abo abatali ggwanga; Ndibasunguwaza n'eggwanga essirusiru.
22
Kubanga obusungu bwange bukoledde ng'omuliro, Bwase okutuuka mu magombe aga wansi ennyo, Era bwokya ensi n'ekyengera kyayo, Era bukoleeza ensozi we zisibuka.
23
Ndibatuumako obubi; Ndimalira obusaale bwange ku bo:
24
Balikoozimba n'enjala, n'omusujja omungi gulibazikirizza, Ensolo enkambwe ziribalya; N'ebyewalula eby'omu nfuufu eby'obusagwa biribazikiriza.
25
Ebweru ekitala kinaabafuulanga bamulekwa, Ne mu nnyumba entiisa en'ebabuutikiranga; Binaazikirizanga omulenzi era n'omuwala, Ayonka era n'omusajja ameze envi.
26
N'ayogera nti, Nandibasaasaanyirizza wala, Nnandimazeewo okujjukirwa kwabwe mu bantu;
27
Singa saatya kuvvoola kw'abalabe, Abaabakyawa baleme okwewaana, Baleme okwogera nti Omukono gwabwe guwangudde, Era Mukama si y'akoze bino byonna.
28
Kubanga lye ggwanga eritalina magezi, So tebalina kutegeera mu bo.
29
Singa balina magezi banditegedde ekyo, Ne balowooza enkomerero yaabwe ey'oluvannyuma!
30
Omu yandigobye atya olukumi, N'ababiri bandiddusizza batya omutwalo, Lwazi waabwe singa teyabatunda, Era Mukama singa teyabaabulira?
31
Kubanga olwazi lw'abalabe baffe teruliŋŋanga olwazi lwaffe, N'abalabe baffe bennyini ekyo bakimanyi.
32
Kubanga omuzabbibu gwabwe gwava ku muzabbibu ogw'e Sodoma, Ne mu nnimiro ez'e Ggomola: Ezabbibu zaabwe zabbibu za mususa, Ebirimba byazo bikaawa:
33
Omwenge gwabwe busagwa bwa misota, Era busagwa bukambwe bwa mbalasaasa.
34
Katonda ky'ategekedde okukola Isiraeri n'abalabe be, ye akyesigalizza,
35
Okuwalana kwange, n'okusasula, Obudde bwe bulituuka ekigere kyabwe ne kiseerera; Kubanga olunaku lwabwe olw'okulaba ennaku luli kumpi, N'ebigenda okubajjira biryanguwa.
36
Kubanga Mukama alisalira abantu be omusango, Era alyejjusa olw'abaddu be; Bw'aliraba ng'obuyinza bwabwe buweddewo, So tewali asigaddewo, oba musibe oba atali musibe.
37
Era alyogera nti, Bakatonda baabwe bali ludda wa, Olwazi lwe beesiganga?
38
Abaalyanga amasavu ag'essaddaaka zaabwe, Abaanywanga omwenge ogw'ekyo kye baawangayo eky'okunywa Bagolokoke bababeere, Babe ekigo kyammwe,
39
Mulabe kaakano nga nze, nze wuuyo, So tewali katonda mulala Nze nzita, era nze mpa obulamu; Nfumise, era mponya; So tewali ayinza okubalokola okubaggya mu mukono gwange.
40
Kubanga ngolola omukono gwange eri eggulu, Ne njogera nti Nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna,
41
Ndiwagala ekitala kyange ekimasamasa, Mu buyinza bwange ndisala mazima Ndiwalana eggwanga ku balabe bange, Ndibonereza abo abankyawa.
42
Obusaale bwange bulijjula omusaayi, N'ekitala kyange kirirya ennyama; awamu n'omusaayi ogw'abattiddwa n'abawambiddwa, N'emitwe gy'abakulembeze b'abalabe.
43
Musanyuke, mmwe amawanga, wamu n'abantu be; Kubanga aliwalana eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be, Era alibonereza abalabe be, Era aliwonya ensi ye, n'abantu be.
44
Musa n'ajja ne Koseya, omwana wa Nuuni. Ne boogera ebigambo by'oluyimba luno byonna ng'abantu bawulira.
45
Musa bwe yamala okwogera ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isiraeri,
46
n'abagamba nti, “Musseeyo omwoyo ku bigambo byonna bye mbategeeza leero; bye muliyigiriza abaana bammwe, balyoke bakwatenga ebigambo byonna eby'amateeka ago n'okubituukirizanga.
47
Kubanga ebigambo bino si bya kusaaga, naye bya bulamu bwammwe, bye biribawaangaliza mu nsi gye mugenda okutuulamu nga musomose omugga Yoludaani.”
48
Mukama n'agamba Musa ku lunaku olwo nti,
49
“Yambuka mu nsozi za Abalimu, eziri mu nsi ya Mowaabu, olinnye ku lusozi Nebo, olw'olekedde Yeriko; olengere ensi ya Kanani gyempa abaana ba Isiraeri okuba obutaka bwabwe;
50
ofiire ku lusozi lw'olinnyako, ogoberere bajjajjaabo, nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku lusozi Koola, n'agoberera bajjajjaabe abantu be:
51
kubanga mwansobya ne munnyiiriza wakati mu baana ba Isiraeri, ku mazzi ag'e Meriba mu Kadesi, mu ddungu Zini; kubanga temwantukuza wakati mu baana ba Isiraeri;
52
Olirengera bulengezi ensi gyempa abaana ba Isiraeri, naye ggwe toligiyingiramu.”
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34