bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 18
Deuteronomy 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 19 →
1
“Bakabona Abaleevi, kye kika kyonna ekya Leevi, tebabanga na mugabo newakubadde obusika mu Isiraeri; wabula banaalyanga ebiweebwayo eri Mukama ebyokebwa n'omuliro, n'ebiweebwayo ebirala.
2
Tebabanga na butaka mu baganda baabwe; Mukama bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.
3
Era lino lye linaabanga ebbanja lya bakabona lye banaabanjanga abantu, abo abanaawangayo ssaddaaka, bw'eba ente oba ndiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, n'enda.
4
Ebibereberye by'eŋŋaano yo, eby'envinnyo yo n'eby'amafuta go, n'ebibereberye by'ebyoya by'endiga zo, onoobimuwanga.
5
Kubanga mu bika byammwe byonna Mukama Katonda wammwe yerobozamu ekika kya Leevi okumuweerezanga ennaku zonna.”
6
“Omuleevi bw'anaavanga mu kimu ku bibuga byammwe mw'abeera n'agenda mu kifo ekirala Mukama ky'alyeroboza, era nga yeeyagalidde okugenda,
7
naaweerezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe nga baganda be bonna Abaleevi abaweerereza eyo mu maaso ga Mukama bwe bakola.
8
Anaafunanga omugabo gwe mmere gwe gumu nga banne, nga tobaliddeeko ebyo by'anaabanga afunye mu b'eŋŋanda ze.”
9
“Bwe mutuukanga mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temugezanga ne muyiga okukola eby'emizizo eby'amawanga ago bye bakola.
10
Tewabangawo omuntu yenna mu mmwe awaayo mutabani we oba muwalawe okwokebwa mu muliro nga ssaddaaka; newakubadde akola eby'obufumu, newakubadde alaguza ebire, newakubadde omulogo, newakubadde omuganga,
11
newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emmandwa, newakubadde abuuza abafu.
12
Kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama; era olw'emizizo egyo, Mukama Katonda wammwe kyava abagoba mu nsi gye mugendamu.
13
Temuubengako kya kunenyezebwa eri Katonda wammwe.”
14
“Kubanga amawanga gano ge mugenda okugoba mu nsi gye mugendamu, beebuuza ku abo abalaguza ebire n'abafumu; naye mmwe Mukama Katonda wammwe abagaanyi okukolanga bwe mutyo.
15
Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi, ava mu baganda bammwe, afaanana nga nze; oyo gwe muliwulira;
16
kubanga mwasaba Mukama Katonda wammwe ku lusozi Kolebu, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako nga mwogera nti, ‘Tuleme kuddayo kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe nate, wadde okuddamu okulaba omuliro guno omungi, tuleme okufa.’
17
Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Boogedde bulungi.
18
Ndibayimusiza nnabbi okuva mu baganda baabwe, afaanana nga ggwe; era nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke, era alibabuulira byonna bye ndimulagira.
19
Kale buli ataliwulira bigambo byange nnabbi oyo by'alyogera mu linnya lyange, ekyo kye ndimuvunaana.
20
Naye nnabbi anaayogeranga ekigambo mu linnya lyange nga yeetulinkirizza bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, nnabbi oyo anaafanga.’
21
Era bwe muneebuuzanga mu mitima gyammwe nti, ‘Tunaategeeranga tutya ekigambo Mukama ky'atayogedde?’
22
Nnabbi bwanetulinkirizanga, n'ayogera mu linnya lya Mukama, byayogedde ne bitabaawo oba ne bitatuukirira, oyo temumutyanga.”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34