bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 31
Deuteronomy 31
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 32 →
1
Awo Musa n'agenda n'abuulira Isiraeri yenna ebigambo ebyo.
2
N'abagamba nti, “Kaakano mpeza emyaka kikumi mu abiri (120); sikyasobola kubakulembera; era Mukama yaŋŋamba nti, ‘Tojja kusomoka Mugga guno Yoludaani.’
3
Mukama Katonda wammwe y'alibakulembera okusomoka; alizikiriza amawanga ago ne mugawangula nga mulaba, era Yoswa y'alibakulembera okusomoka, nga Mukama bwe yayogera.
4
Era Mukama aliwangula abantu abo nga bwe yawangula Sikoni ne Ogi, bakabaka ba b'Abamoli, n'ensi zaabwe.
5
Abantu abo Mukama alibagabula gye muli, ne mubazikiririza ddala nga bwe nnabalagira.
6
Mubeere n'amaanyi, mugume omwoyo, temutya so temubatekemukira; kubanga Mukama Katonda wammwe ye nnyini ye aligenda nammwe; taabalekenga so taabaabulirenga.
7
Awo Musa n'ayita Yoswa n'amugamba mu maaso ga Isiraeri yenna nti, Beera n'amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olikulembera abantu bano okugenda mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabwe okubawa; era ggwe olibasobozesa okugisikira.
8
Era Mukama yennyini abakulembera; anaabeeranga naawe, taakulekenga so taakwabulirenga; totya so totekemuka.”
9
Awo Musa n'awandiika amateeka ago n'agakwasa bakabona abaana ba Leevi, abaasitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, wamu n'abakadde bonna aba Isiraeri.
10
Musa n'abalagira ng'ayogera nti, “Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo eky'omwaka eky'okusonyiwa n'okusumululiramu ku mbaga Ey'ensiisira;
11
Abaisiraeri bonna nga bazze mu maaso ga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, onoobasomeranga amateeka gano bagawulire.
12
Okuŋŋaanyanga abantu bonna, abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne bannamawanga abali mu bibuga byo, bagawulire era bagayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bagonderenga ebigambo bino byonna amateeka gano bye galagira;
13
era abaana baabwe abatannayiga mateeka, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda waabwe, ennaku zonna ze mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okutuulamu nga musomose Omugga Yoludaani.”
14
Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, ennaku zo ez'okufa zisembedde; yita Yoswa, mweyanjule mu weema ey'okusisinkanirangamu, ndyoke mmulagire.” Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ne beeyanjula mu Weema ey'okusisinkanirangamu.
15
Awo Mukama n'alabikira mu weema mu mpagi y'ekire: empagi y'ekire n'eyimirira waggulu w'oluggi lw'eweema.
16
Mukama n'agamba Musa nti, “Onootera okufa weegatte ku bajjajjaabo. Abantu bano tebaliba beesigwa gye ndi era balimenya endagaano gye nnakola nabo. Balindekawo ne basinza bakatonda ab'omu nsi gye bagenda okubeerangamu.
17
Mu kiseera ekyo obusungu bwange ne bulyoka bubabuubuukirako, nange ndibaabulira ne mbekweeka ne bazikirira, balituukibwako ebizibu bingi n'okubonaabona kungi. Olwo lwe balitegeera nti ebizibu ebyo bibatuuseeko kubanga nze Mukama Katonda waabwe nnabaabulira.
18
Era ndibakisiza ddala amaaso gange olw'ebibi byonna bye baliba bakoze, kubanga bakyukidde bakatonda abalala.
19
Kale nno kaakano, wandiika oluyimba luno oluyigirize abaana ba Isiraeri, balukwate lubeerenga omujulirwa gyebali.
20
Kubanga bwe ndiba mbayingizza mu nsi gye nnalayirira bajjajjaabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bwe balirya ne bakkuta, ne bagejja; balikyukira bakatonda abalala, ne babaweereza, ne banyooma nze, era ne bamenya endagaano yange.
21
Bwe banaabanga batuukibbwako akabi n'okubonaabona okungi, oluyimba luno lunaayimbibwanga, ne luba omujulizi abalumiriza, ne bazzukulu baabwe tebaalwerabirenga. Ne kaakano, wadde nga sinnabatwala mu nsi gye nnabalayirira okubawa, mmanyi kye balowooza okukola.”
22
Awo Musa n'awandiika oluyimba luno ku lunaku olwo, n'aluyigiriza abaana ba Isiraeri.
23
Mukama n'alagira Yoswa omwana wa Nuuni ng'ayogera nti, “Beera n'amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olituusa abaana ba Isiraeri mu nsi gye nnabalayirira; nange n'abeeranga wamu naawe.”
24
Awo olwatuuka, Musa bwe yamalira ddala okuwandiika ebigambo eby'amateeka gano mu kitabo,
25
Musa n'alagira Abaleevi, abaasitulanga essanduuko y'endagaano ya Mukama ng'ayogera nti,
26
“Muddire ekitabo kino eky'amateeka, mukiteeke ku mabbali g'essanduuko y'endagaano ya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga omujulirwa gye muli.
27
Mmanyi obujeemu n'obukakanyavu bwammwe, kubanga ne bwembadde nammwe nga nkyali mulamu mubadde mujeemera Mukama; kale temulyeyongera nnyo okumujeemera nga mmaze okufa”
28
Musa n'alagira Abaleevi ng'agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abakadde n'abakulu b'ebika, n'abaami bammwe bonna ndyoke njogere ebigambo bino nga bawulira, era nkoowoola eggulu n'ensi okuba abajulirwa gyebali.
29
Kubanga mmanyi nga bwe ndimala okufa, balyefuulira ddala babi, ne bagaana okukola bye mbalagidde. Era gye bujja, balituukibwako ebizibu, kubanga baliba basunguwazizza Mukama nga bakola by'alaba nga bibi.”
30
Musa n'ayogera ebigambo by'oluyimba luno lwonna ng'abaana ba Isiraeri bonna bawulira.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34