bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 17
Deuteronomy 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 18 →
1
Temuwangayo ente newakubadde endiga eriko obulema oba akamogo konna okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe kubanga ekyo kya muzizo gy'ali.
2
Bwe wanaalabikangawo mu kimu ku bibuga byammwe Mukama Katonda wammwe by'abawa, omusajja oba omukazi asobezza endagaano,
3
n'aweereza ba katonda abalala n'abasinza, oba njuba, oba mwezi, oba mmunnyeenye bye ssaalagira;
4
bwe banaababuuliranga, ne mukiwulira, munaanyiikiranga okubuuliriza, era bwe kinaabanga eky'amazima, nga tekibuusibwabuusibwa, eky'omuzizo ekyo nga kikolebwa mu Isiraeri;
5
Kale munaafulumyanga omusajja oyo oba omukazi oyo akoze ekibi ekyo ebweru w'ekibuga kyammwe ne mubakuba amayinja n'afa.
6
Wabula olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba abasatu lw'anattibwanga; naye bw'anaabanga omujulirwa omu yekka tattibwenga.
7
Abajulirwa be banaasookanga okumukuba amayinja, olwo n'abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba amayinja okumutta; bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi ekyo.
8
Bwe wanaabangawo emisango gye mutasobola kusalira mu bibuga byammwe, ng'egy'obussi, enkaayana z'ebintu, oba ebisago ebituusiddwa ku bantu, olwo munaasitukanga ne mugenda mu kifo Mukama ky'alyeroboza.
9
Munaagendanga eri bakabona Abaleevi n'eri omulamuzi anaabangawo mu kiseera ekyo ne mubeebuuzaako, ne babalaga ensala y'omusango
10
Nammwe munaasalanga omusango nga bwe banaabalaganga nga bayima mu kifo Mukama ky'alyeroboza. Muneegenderezanga okukolanga ebyo byonna bye banaabanga babalagidde.
11
Munakkirizanga ensala yaabwe, ne mutuukiriza ebyo byonna bye babalagidde awatali kukyusaamu wadde okuwunjawunja.
12
Omuntu yenna anaajeemeranga ensala ya Kabona aweereza mu Maaso ga Mukama, oba omulamuzi, omuntu oyo anaafanga. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi mu Isiraeri.
13
Olwo abantu bonna banaawuliranga ne batya, ne batakola nate bya bujeemu.
14
Bwe muliba nga mutuuse mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu; ne musalawo okussaawo kabaka okubafuga ng'amawanga gonna agabeetoolodde bwe gali;
15
mussangawo omu ku baganda bammwe, Mukama gw'alyeroboza okuba kabaka okubafuga; si kirungi mmwe okussaawo mu nnaggwanga okubafuga.
16
Kyokka kabaka tagezangako okwefunira embalaasi ennyingi wadde okuzzaayo abantu e Misiri alyoke yefunire embalaasi ennyingi; kubanga Mukama yabagamba nti Temuddangayo nate mu kkubo eryo okuva kaakano.
17
So teyeefuniranga bakazi bangi, omutima gwe gulemenga okukyuka: so teyeefuniranga ffeeza newakubadde zaabu ennyingi ennyo.
18
Awo olulituuka bw'alituula ku ntebe y'obwakabaka bwe, alyewandiikira etteeka lino mu kitabo, ng'aliggya mu ekyo ekiri mu maaso ga bakabona Abaleevi.
19
Anaabeeranga nakyo, era anaakisomangamu ennaku zonna ez'obulamu bwe; ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby'etteeka lino n'ebiragiro bino okubikolanga:
20
omutima gwe gulemenga okwegulumiriza ku ba Isiraeri banne, era alemenga okukyama okuva ku biragiro bino; olwo alyoke awangaale ennaku nnyingi ku bwakabaka bwe, ye n'abaana be, mu Isiraeri.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34