bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 12
Deuteronomy 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 13 →
1
Gano ge mateeka n'ebiragiro bye munaakwatanga mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa okutuulamu, ennaku zonna ze mulimala nga muli balamu mu nsi.
2
Temulemanga kuzikiriza bifo byonna eby'amawanga ge mugenda okuwangula gye baweerereza bakatonda baabwe, ebiri ku nsozi empanvu, ne ku busozi, ne wansi wa buli muti omubisi.
3
Munaamenyamenyanga ebyoto n'empagi zaabwe, era munaayokyanga n'ebifaananyi bya katonda waabwe Asera; munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; ne musangulira ddala amannya ga bakatonda abo, ne bataddamu ku sinzibwa mu bifo ebyo.
4
Temusinzanga Mukama Katonda wammwe ng'abamawanga abo bwe basinza bakatonda baabwe.
5
Naye mmwe munaasinzizanga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, n'akitongoza mu bika byammwe okusinzizangamu erinnya lye, eyo gye munaagendanga.
6
Eyo gye munaatwalanga ebiweebwayo: ebyokebwa, ssaddaaka, ebitundu eby'ekkumi, ebiweebwayo ebisitulibwa n'emikono, obweyamo, ne bye muwaayo ku bwammwe, ebibereberye by'ente zammwe n'eby'endiga zammwe.
7
Era munaaliiranga mu kifo ekyo, mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye mukoze n'emikono gyammwe, wamu n'ab'omu nnyumba zammwe, nga Mukama Katonda wammwe bw'abawadde omukisa.
8
Temukolanga ebyo byonna bye tukola wano kaakano; kubanga buli muntu abadde akola ekyo ky'alowooza nti kye kituufu mu maaso ge;
9
kubanga temunnatuuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa gye munaabeeranga mu mirembe.
10
Naye bwe mulisomoka Yoludaani ne mutuula mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, anaabawonyanga eri abalabe bammwe bonna abanaabeetooloolanga ne mutuula mirembe.
11
Awo Mukama Katonda wammwe bw'alimala okweroboza ekifo eky'okutuuzaamu erinnya lye ne mulyoka mutwala eyo eby'okuwaayo byonna bye mbalagira: ebiweebwayo ebyokebwa, ssaddaaka, ebitundu eby'ekkumi, ebiweebwayo ebisitulibwa n'emikono, n'obweyamo bwammwe bwonna eri Mukama.
12
Munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe, kubanga bo tebaafuna busika bwa ttaka nga mmwe.
13
Mwekuumenga muleme okuweerangayo mu buli kifo kye mulaba ebyo bye muwaayo ebyokebwa;
14
naye munaabiweerangayo mu kifo kimu kyokka Mukama ky'alyeroboza okuva mu bika byammwe. Eyo gye munaaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa, era gye munaakoleranga ebyo byonna bye mbalagira.
15
Naye munaayinzanga okutta ebisolo ne muliira ennyama yaabyo wonna we munaabeeranga, nga bwe munaabanga mwagadde, nga Mukama bw'anaabanga abawadde omukisa. Abatali balongoofu n'abalongoofu banaagiryangako nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.
16
Kyokka temulyanga ku musaayi; munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.
17
Temuliiranga mu bifo gye munaabeeranga, ebitundu eby'ekkumi eby'eŋŋaano, eby'envinnyo, eby'amafuta ag'emizeyituni, eby'ebibereberye by'ente n'endiga, eby'ebintu byonna bye mweyama, eby'ebintu byonna bye muwaayo ku bwammwe n'ebyo ebisitulibwa n'emikono.
18
Naye munaabiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abanaabeeranga mu bibuga byammwe. Munaasanyukiranga ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'abawadde mu mikono gyammwe.
19
Mwekuumenga mulemenga okusuuliriranga Abaleevi ennaku zonna ze munaabeeranga abalamu mu nsi yammwe.
20
“Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo zammwe, nga bwe yabasuubiza, ne muyoya ennyama, munaagiryanga nga bwe munaayagalanga.
21
Ekifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, bwe kinaabanga ewala, munattanga ku nte ne ku mbuzi zammwe, Mukama z'abawadde, ne muziriira gye munaabeeranga nga bwe munaayagalanga.
22
Abatali balongoofu n'abalongoofu banaaziryangako kye nkanyi, ng'empeewo n'enjaza bwe ziriibwa.
23
Kyokka mwegendereze mulemenga okulya ku musaayi; kubanga mu musaayi mwe muli obulamu; tolyanga musaayi awamu n'ennyama.
24
Temugulyanga, wabula munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.
25
Bwe munaakwatanga ekiragiro ekyo, ne mutagulyako; abaana bammwe n'abazzukulu bammwe banaalabanga ebirungi.
26
Byo ebintu ebitukuvu n'obweyamo eby'okuwangayo munaabitwalanga mu kifo ekyo Mukama ky'alyeroboza.
27
Munaaweerangayo eyo ku kyoto kya Mukama Katonda wammwe ebiweebwayo eby'okebwa, ennyama n'omusaayi. Omusaayi gwa ssaddaaka zammwe gunaayibwanga ku kyoto, nammwe munaalyanga ennyama.
28
Mukwatenga ebyo byonna bye mbalagira, mulyoke mulabenga ebirungi, mmwe n'abaana bammwe, n'abazzukulu bammwe, emirembe gyonna, bwemunaakolanga ebiri mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ebirungi era eby'ensonga.”
29
“Mukama Katonda wammwe bw'alizikiriza amawanga agali mu nsi gy'agenda okubawa;
30
amawanga ago bwe galimala okuzikirizibwa mu maaso gammwe, mwekuumenga mulemenga okugwa mu bikemo eby'okusinza ba katonda ab'amawanga ago, nga mwegomba okusinzanga bo.
31
Temukolanga bwe mutyo Mukama Katonda wammwe, nga mukola eby'omuzizo Mukama by'akyawa ebyakolebwanga ab'amawanga ago ne batuuka n'okuwaayo batabani baabwe ne bawala baabwe okubookya omuliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.
32
Buli kigambo kye mbalagira munaakikwatanga ne mukikola; temukyongerangako, era temukisalangako.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34