bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 29
Deuteronomy 29
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 30 →
1
Bino bye bigambo eby'endagaano Mukama bye yalagira Musa okulagaana n'abaana ba Isiraeri mu nsi ya Mowaabu, nga by'ongerwa ku bigambo by'endagaano gye yalagaana nabo ku lusozi Kolebu.
2
Awo Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti, “Mwalaba byonna Mukama bye yakola Falaawo n'abaweereza be n'ensi yonna ey'e Misiri.
3
Mwalaba okugezebwa okw'amaanyi, n'obubonero, n'eby'amagero ebikulu;
4
Naye okutuusa kaakano Mukama tabawadde magezi ga kutegeera, na maaso ga kulaba, na matu ga kuwulira.
5
Nange mpezezza emyaka ana (40) nga mbakulembera mu ddungu muno, so ebyambalo byammwe n'engatto zammwe tebikaddiye.
6
Temwalyanga mmere ya bulijjo oba ekitamiiza, naye Mukama yabawanga emmaanu mulyoke mutegeere nga ye Mukama Katonda wammwe.
7
Era bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w'e Kesuboni ne Ogi kabaka w'e Basani ne batulumba okutulwanyisa, ne tubatta;
8
ne tutwala ensi yaabwe, ensi yaabwe, ne tugiwa Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika ky'Abamanase, okuba obutaka bwabwe.
9
Kale nno mwekuumenga ebigambo eby'endagaano eno, mubituukirizenga, mulyoke mulabenga omukisa mu byonna bye mukola.”
10
“Olwaleero mwenna muyimiridde mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mu bika byammwe, n'abakulu bammwe, abakadde bammwe, n'abaami bammwe, be basajja bonna aba Isiraeri,
11
abaana bammwe abato, abakazi bammwe, ne bannamawanga abali wakati wammwe, okuva ku mutyabi w'enku okutuuka ku mukimi w'amazzi;
12
Olyoke olagaane endagaano ne Mukama Katonda wo era weeyame okugituukirizanga;
13
alyoke akufuule eggwanga lye, naye abeerenga Katonda wo, nga bwe yalayirira bajjajja bo Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
14
Endagaano eno n'obweyamo bwayo sigiragaana nammwe mwekka;
15
naye nammwe abayimiridde wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe era ne abo abatannaba kuzaalibwa.
16
Mujjukira embeera zetwalimu mu nsi ey'e Misiri, era ne bwe twatambulanga okuyita mu nsi z'abamawanga amalala;
17
era mwalabanga eby'emizizo byabwe, n'ebifaananyi byabwe, eby'emiti, eby'amayinja, eby'effeeza, n'ebya zaabu;
18
n'olwekyo waleme okubaawo mu mmwe leero, omusajja oba omukazi, oba nnyumba oba ekika, akyamya omutima gwe n'ava ku Mukama Katonda waffe okusinza ba katonda b'amawanga gali, n'abanga ekimera ekikaawa eky'obutwa.
19
Naye singa wabaawo omuntu yenna mu mmwe abali wano leero, abawulidde ebigambo eby'ekikolimo kino, n'alowooza mu mutima gwe nti alaba bulungi, wadde nga agugubidde mu bukakanyavu bw'omutima gwe; ekyo kigenda kuzikiriza mwenna abalungi n'ababi.
20
Mukama taamusonyiwenga, naye obuggya n'obusungu bwa Mukama bunaamubuubuukirangako, n'ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino kinaamubangako, era Mukama anaasangulanga erinnya lye okuva ku nsi.
21
Omuntu oyo Mukama anaamufuulanga ekyokulabirako mu bika byonna ebya Isiraeri, ng'amussaako ebikolimo byonna eby'endagaano, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka.
22
Mu mirembe egijja, ezzadde lyammwe eriribaddirira, ne bannamawanga abanaavanga mu nsi ez'ewala, banaalabanga ebibonyoobonyo by'ensi yammwe ne ndwadde Mukama zabataddeko.
23
Ensi yammwe yonna eneebanga eyokeddwa, ng'efuuse olukalaggye n'olunnyo. Eriba tekyasigibwamu kantu, nga terina ky'esobola kubaza, era nga tekyameramu muddo. Eriba ezikiriziddwa nga Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza olw'obusungu bwe.
24
Amawanga gonna galyebuuza nti, Mukama ekimukozesezza ensi eno bw'ati kiki? Kiki ekyamusunguwaza ennyo bw'atyo?
25
Abantu ne balyoka baddamu nti, ‘Kubanga baaleka endagaano ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, gye yalagaana nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri;
26
ne bagenda ne basinza, ne baweereza bakatonda abalala, be baali batamanyi era be yabagaana.
27
Obusungu bwa Mukama kye bwava bubuubuuka ku nsi eno, okugireetako ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino;
28
Mukama mu busungu bwe n'ekiruyi kye, n'okunyiiga okungi, kye yava abagoba mu nsi yaabwe, n'abasaasaanyiza mu nsi endala nga bwe kiri leero.’ ”
29
“Eby'ekyama biba bya Mukama Katonda waffe; naye ebibikkulibwa biba byaffe era by'abaana baffe, emirembe gyonna, tulyoke tukolenga ebigambo byonna eby'omumateeka gano.”
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34