bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 4
Deuteronomy 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 5 →
1
“Kale kaakano, ggwe Isiraeri, wulira amateeka n'ebiragiro, bye mbayigiriza, okubikolanga; mulyoke mube balamu, muyingire mutuule mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gy'abawa.
2
Temwongeranga ku kigambo kye mbalagira, so temukisalangako, mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbalagira.
3
Mmwe bennyini mwalaba Mukama Katonda kye yakola e Pyoli, bwe yazikiriza abantu abo abaali mu mmwe abaasinza Baali ow'e Pyoli.
4
Naye mmwe abaanywerera ku Mukama Katonda wammwe, mukyali balamu okutuusa leero.
5
Laba, mbayigirizza amateeka n'ebiragiro, nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mubikwatenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okutuulamu.
6
Kale mubyekuumenga, mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe eri amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti, ‘Mazima eggwanga lino kkulu, be bantu ab'amagezi era abategeera.’
7
Kubanga ggwanga ki eririna katonda abali okumpi nga Mukama Katonda waffe bw'ali, buli lwe tumukoowoola?
8
Era ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n'ebiragiro eby'ensonga ng'amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero?
9
“Kyokka weegendereze, weekuume emmeeme yo, nyiikira oleme okwerabira ebyo byonna amaaso go bye gaalaba, bireme okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez'obulamu bwo; era bitegeezenga abaana bo ne bazzukulu bo;
10
olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo wansi w'olusozi Kolebu; Mukama bwe yaŋŋamba nti, ‘Nkuŋŋaanyiza abantu, mbategeeze ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaamalanga nga balamu ku nsi, era bayigirizenga n'abaana baabwe.’
11
“Ne musembera ne muyimirira wansi w'olusozi; olwali lubikkiddwa ebire ebikwafu, eby'omukka omuddugavu, ne lwaka omuliro, ne gutumbiira mu bbanga.
12
Mukama n'ayogera nammwe ng'ayima wakati mu muliro; naye mwawulira ddoboozi lya bigambo lyokka, naye temwalaba kifaananyi kyonna.
13
N'ababuulira endagaano ye, gye yabalagira okukola, ge mateeka ekkumi; n'agawandiika ku bipande eby'amayinja bibiri.
14
Mu biro ebyo Mukama n'andagira okubayigiriza amateeka n'ebiragiro, bye munaakolanga mu nsi gye mugenda okutuulamu.
15
“Kale mwekuume nnyo; kubanga temwalaba kifaananyi kyonna ku lunaku Mukama lwe yayogera nammwe ku Kolebu ng'ayima wakati mu muliro;
16
mwekuume muleme kwonoona nga mwekolera ekifaananyi ekyole eky'engeri yonna, eky'ekintu ekisajja oba ekikazi,
17
eky'ensolo yonna ku nsi, eky'ekinyonyi eky'ebiwaawaatiro ekibuuka mu bbanga,
18
oba eky'ekintu kyonna ekyewalula ku ttaka, wadde eky'ekyennyanja ekibeera wansi mu mazzi.
19
“Toyimusanga amaaso mu ggulu n'olaba enjuba, omwezi n'emmunnyeenye eby'omuggulu, n'osendebwasendebwa okubisinza oba okubiweereza, kubanga Mukama Katonda wo ebyo yabiteerawo amawanga gonna agali ku nsi.
20
Naye Mukama yabatwala, n'abaggya mu bulumi n'okubonyaabonyezebwa okungi mu Misiri, mulyoke mubeere abantu be abe nvuma nga bwe muli leero.
21
Naye nze Mukama yansuguwalira ku lwammwe, n'alayira era n'anziyiza okusomoka Yoludaani, newakubadde okuyingira mu nsi eyo ennungi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obutaka.
22
Naye nze nja kufiira mu nsi muno, sijja kusomoka Yoludaani; naye mmwe mulisomoka, ne mutuula mu nsi eyo ennungi.
23
Mwekuume mulemenga okwerabira endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yalagaana nammwe; temwekoleranga ekifaananyi ekyole eky'ekintu kyonna era eky'engeri yonna, Mukama Katonda wo kye yakugaana.
24
Kubanga Mukama Katonda wo wa buggya, gwe muliro ogwokya.
25
“Ne bwe muliba nga mumaze ebbanga ggwanvu mu nsi eyo, nga muzadde abaana, era nga mulina n'abazzukulu, temugezanga ne mwonoona nga mwekolera ekifaananyi eky'engeri yonna. Ekyo kibi mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era kirimusunguwaza.
26
Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, mulizikirira ne muggweerawo ddala mangu mu nsi gye muyingira okutuulamu, nga musomose omugga Yoludaani.
27
Era Mukama alibasaasaanyiza mu mawanga, mulisigalawo batono mu bantu, eyo ewala Mukama gy'alibatwala.
28
Eyo gye muliweerereza ba katonda abakolebwa n'emikono gy'abantu ab'emiti, n'amayinja, abatalaba, abatawulira, abatalya newakubadde okuwunyiriza.
29
Naye nga muli eyo bwe munaanoonyanga Mukama Katonda wammwe, n'omutima gwammwe gwonna, n'obulamu bwammwe bwonna munaamulabanga.
30
Bw'onoolabanga ennaku, era ebyo byonna nga bikujjidde, ku nkomerero onookomangawo eri Mukama Katonda wo, n'owulira eddoboozi lye;
31
kubanga Mukama Katonda wo wa kusaasira; taakulekenga, so taakuzikirizenga, so teyeerabirenga ndagaano ya bajjajja bo gye yabalayirira.
32
“Kale mwetegereze ebyaliwo mu mirembe egy'edda, okuviira ddala emabega, Katonda bukya atonda bantu ku nsi. Mwetegereze ensi yonna. Ekintu ekikulu nga kino kyali kibaddewo, era waliwo eyali akiwuliddeko?
33
Waali wabaddewo abantu abaawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera okuva wakati mu muliro nga ggwe bwe waliwulira, ne baba balamu?
34
Waliwo Katonda yenna eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga ng'aliggya wakati mu ggwanga eddala ng'akozesa obubonero, eby'amagero, entalo, n'engalo ez'amaanyi, n'omukono ogwagololwa, n'eby'entiisa ebikulu, nga byonna bwe byali Mukama Katonda wammwe bye yabakolera e Misiri nga mulaba?
35
Ebyo Mukama yabibalaga mmwe, mulyoke mumanye nti ye, ye Katonda yekka, tewali mulala.
36
Mmwe yabawuliza eddoboozi lye ng'asinziira mu ggulu, alyoke abayigirize. Ne ku nsi yabalaga omuliro gwe ogw'amaanyi, ne muwulira bye yayogerera wakati mu gwo.
37
Olw'okwagala bajjajjammwe, ye yennyini yabalondamu mmwe bazzukulu baabwe, n'abaggya mu Misiri n'obuyinza bwe obungi.
38
N'agoba mu maaso go amawanga agaakusinga obukulu n'amaanyi, n'akuyingiza ggwe, n'akuwa ensi yaabwe okuba obutaka bwo nga bwe kiri leero.
39
Kale manya leero, era okisse ku mwoyo, nga Mukama ye Katonda mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi; tewali mulala.
40
Era oneekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye nkulagira leero olyoke olabenga ebirungi ggwe n'abaana bo abaliddawo, era owangaale nnyo ku nsi, Mukama Katonda wo gy'akuwa emirembe gyonna.”
41
Awo Musa n'alyoka ayawula ebibuga bisatu emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba;
42
omuntu anattanga munne mu butanwa, addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo, awone okuttibwa.
43
Bezeri ekiri mu ddungu, mu lusenyi, okuba eky'Abalewubeeni; ne Lamosi ekiri mu Gireyaadi okuba eky'Abagaadi; ne Golani ekiri mu Basani okuba eky'Abamanase.
44
Era gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g'abaana ba Isiraeri;
45
na buno bwe bujulirwa n'amateeka n'ebiragiro, Musa bye yabuulira abaana ba Isiraeri bwe baava mu Misiri.
46
Bwe baali emitala wa Yoludaani, mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli, mu nsi eyali eya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, Musa n'abaana ba Isiraeri gwe baakuba, bwe baali bava e Misiri;
47
ne batuula mu nsi ye, wamu n'ensi ya Ogi eyali kabaka w'e Basani; bakabaka bombi ab'Abamoli, abaabeeranga emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
48
Ekitundu kino, kiva ku kibuga Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu Alunoni okutuuka ku lusozi Sayuuni, oluyitibwa Kerumooni. Okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, okutuusa ku lusozi Sayuuni, olwo ye Kerumooni,
49
ne kitwaliramu Alaba yonna emitala wa Yoludaani, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okutuukira ddala ku nnyanja Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, wansi w'olusozi Pisuga.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34