bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 11
Deuteronomy 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 12 →
1
Kale munaayagalanga Mukama Katonda wammwe, ne mwekuuma bye yabakuutira, amateeka ge n'ebiragiro bye ennaku zonna.
2
Kale mumanye leero; soogera na baana bammwe abaatamanya era abataalaba kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, wabula nammwe abalaba obukulu bwe n'amaanyi ge, n'omukono gwe ogwagololwa;
3
n'obubonero bwe, n'emirimu gye, bye yakolera wakati mu Misiri, n'eri Falaawo, kabaka w'e Misiri n'ensi ye yonna;
4
era bye yakola eggye ery'e Misiri, bwe yasaanyawo embalaasi n'amagaali gaabwe; mu mazzi ag'ennyanya emmyufu, n'abazikiriza bonna bwe baali nga babawondera.
5
Mumanyi byonna Mukama bye yabakolera mu ddungu, bwe mwali nga temunnatuuka mu kifo kino;
6
mujjukira byeyakola Dasani ne Abiramu abaana ba Eriyaabu, bazzukulu ba Lewubeeni; ettaka bwe lyayatika ne lyasama, ne libamira bugobo; ab'omu maka gaabwe bonna, n'eweema zaabwe na buli kintu kyonna ekiramu kye baalina nga Abaisiraeri abalala bonna balaba.
7
Era mwalabira ddala n'amaaso gammwe omulimu gwonna omukulu Mukama gwe yakola.
8
Mwekuumenga ebiragiro byonna bye mbalagira leero, mulyoke mube n'amaanyi, musomoke omugga guno Yoludaani muyingire mutwale ensi Mukama gy'abawa;
9
era mulyoke muwangaale mu nsi, Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
10
Kubanga ensi gye muyingiramu okutwala, tefaanana ng'ensi ey'e Misiri gye mwava, gye mwasigiranga ensigo ne mukola n'amaanyi, nga muzifukirira ng'ennimiro y'enva.
11
Naye ensi gye muyingiramu okutwala nga mumaze okusomoka Yoludaani, nsi ya biwonvu n'ensozi efukirirwa enkuba.
12
Ensi eyo Mukama Katonda wammwe agyagala; era amaaso ge gaba ku yo ennaku zonna, okuva ku ntandikwa y'omwaka okutuusa ku nkomerero yaagwo.
13
Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'obulamu bwammwe bwonna,
14
anaatonnyesanga enkuba ku nsi yammwe mu ntuuko zaayo; enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo, mukungulenga eŋŋaano, n'envinnyo n'amafuta okuva mu mizeyituuni.
15
Era n'akuzanga omuddo mu ttale olw'ebisibo byammwe era nammwe munaalyanga ne mukkuta.
16
Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okulimbibwa, ne mukyama, okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza;
17
obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n'aggalawo eggulu, enkuba netatonnya, n'ensi netabala bibala byayo; ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi Mukama gy'abawa.
18
Kale mutereke ebigambo byange ebyo mu mitima gyammwe ne mu bulamu bwammwe; era munaabisibanga ku mikono gyammwe era munaabyetimbanga mu byenyi byammwe okuba akabonero ak'okubibajjukizanga.
19
Era munaabiyigirizanga abaana bammwe, nga mubinyumyako, bwe munaatuulanga mu nnyumba zammwe ne bwe munaabanga mutambula mu ŋŋendo zammwe, bwe munaabanga mugenda okwebaka, era ne bwe munaabanga mugolokose.
20
Era munaabiwandiikanga ku myango gy'ennyumba zammwe ne ku nzigi zammwe.
21
Ennaku zammwe n'ez'abaana bammwe zibeere nnyingi mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa emirembe gyonna.
22
Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bino byonna bye mbalagira okukola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu biragiro bye byonna, n'okwegattanga naye;
23
Mukama anaagobangamu amawanga gano gonna mu maaso gammwe, mmwe ne mutwala ensi z'amawanga ago agabasinga obunene n'amaanyi.
24
Buli kifo kye munaalinnyangamu ebigere byammwe kinaabanga kyammwe. Ensalo zammwe zinaabeeranga ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku nsozi za Lebanooni mu bukiikakkono, n'okuva ku mugga Fulaati mu buvanjuba, okutuuka ku nnyanja Eyawakati mu bugwanjuba.
25
Tewaliba muntu aliyinza okuyimirira mu maaso gammwe; Mukama Katonda wammwe anaateekanga ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe ku nsi yonna kwe munaalinnyanga, nga bwe yabagamba.
26
“Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n'okukolimirwa.
27
Munaabanga n'omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero.
28
Naye munaakolimirwanga, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne musinzanga bakatonda abalala be mwali temumanyi.
29
Awo olulituuka Mukama Katonda wammwe bw'alibayingiza mu nsi gye mugenda okutuulamu, mulangiriranga omukisa nga musinziira ku lusozi Gerizimu, n'ekikolimo nga musinziira ku lusozi Ebali.
30
Ensozi ezo zombi ziri mitala wa mugga Yoludaani, mu nsi y'Abakanani ababeera mu kiwonvu kya Yoludaani okwolekera Gilugaali, ku mabbali g'emivule gya Mole.
31
Kubanga mugenda okusomoka Yoludaani okuyingira mutwale ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, okubeeramu.
32
Era munaanyiikiranga okukwata amateeka n'ebiragiro byonna bye mbalagira mmwe leero.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34