bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 23
Deuteronomy 23
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 24 →
1
Eyalaayibwa, oba eyasalibwako ebitundu by'omubiri gwe eby'ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
2
Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusiza ddala ku mirembe ekkumi, tewabangawo ku bazzukulu be abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
3
Omwamoni n'Omumowaabu tebayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusiza ku mirembe ekkumi, tewabangawo ku bazzukulu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna:
4
kubanga baagaana okubawa emmere n'amazzi bwe mwali muli mu lugendo nga muva e Misiri era kubanga bagulirira Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya okubakolimira, tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n'amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya,
5
Kubanga Mukama Katonda wammwe yabaagala, n'agaana okuwulira Balamu; naye n'afuula ekikolimo kye okuba omukisa gye muli.
6
Ennaku zonna temukolereranga kuleetawo mirembe na bantu abo, wadde okubayamba okuba obulungi.
7
Temukyawanga ba Edomu; kubanga baganda bammwe; so temukyawanga Bamisiri, kubanga mwali bagenyi mu nsi yaabwe.
8
Bazzukulu baabwe bannakabirye banaakkirizibwanga okuyingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
9
Bwe mubeeranga mu nsiisira mu biseera eby'entalo mwewalenga ekintu kyonna ekiyinza okubafuula abatali balongoofu.
10
Bwe wanaabangawo mu mmwe omusajja afuuse atali mulongoofu olw'okwerooterera ekiro, anaafulumanga olusiisira, n'abeera ebweru waalwo.
11
Naye obudde bwe bunaabanga buwungeera, anaanaabanga, n'akomawo mu lusiisira ng'enjuba egudde.
12
Era munaabeeranga ne kabuyonjo ebweru w'olusiisira, gye munaafulumanga.
13
Era onoobanga n'ekifumu mu bintu byo; bw'onoofulumanga okweteewuluza onoosimanga ekinnya, oluvannyuma n'oziika mu ekyo ekinakuvangamu ng'omaze okweteewuluza.
14
Munaakuumanga olusiisira lwammwe nga luyonjo, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabeeranga wamu nammwe mu lusiisira okubakuuma, n'okubasobozesa okuwangula abalabe bammwe. Mwewalenga buli ekitali kirongoofu, ekiyinza okumunyiiza, n'abakuba amabega.
15
Tozzangayo muddu eyabomba ku Mukama we n'ajja gy'oli okumukuuma.
16
Anaabeeranga naawe mu nnyumba yo nga bw'anaasimanga; tomujooganga.
17
Tewabanga mwenzi ku bakazi ba Isiraeri, so tewabanga alya ebisiyaga ku basajja ba Isiraeri.
18
Ensimbi ezifuniddwa omukazi oba omusajja mu bwenzi obw'omu Yeekaalu, temuzireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe okutuukiriza obweyamo, kubanga Mukama Katonda akyayira ddala obwenzi obwengeri eyo.
19
Temuggyanga magoba ku baganda bammwe be muwola ensimbi, oba mmere, oba ekintu ekirala kyonna;
20
naye si kibi okuwola bannamawanga ne mubaggyako amagoba; naye baganda bammwe temubawolanga ne mubaggyako amagoba; Mukama Katonda wammwe alyoke abawenga omukisa mu byonna bye munaakolanga, mu nsi gye mugenda okutuulamu.
21
Bwe muneeyamanga obweyamo eri Mukama Katonda wammwe, temulwangawo kubutuukiriza; kubanga Mukama Katonda wammwe talirema ku bubabuuza ne kifuuka ekibi gye muli.
22
Naye bwe muteeyamenga tewaabengako kibi kye mukoze.
23
Ekyo kye muneeyamanga n'emimwa gyammwe nga mweyagalidde mukikuumanga ne mukituukiriza.
24
Bw'oyingira mu lusuku lwa munno, olw'emizabbibu, si kibi okulya ezabbibu n'okkuta nga bw'oyagala; naye togitwalirangako mu kintu kyonna.
25
Bw'onoogendanga mu nnimiro ya munno ey'eŋŋaano etennakungulwa, si kibi okunoga ebirimba n'engalo zo n'olya; naye tosalanga n'ekiwabyo eŋŋaano ya munno etennakungulwa.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34