bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 15
Deuteronomy 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 16 →
1
Buli myaka omusanvu bwe bweginaggwangako, onoosonyiwanga.
2
Era eno ye ngeri ey'okusonyiwa okwo: buli abanja, anaasonyiwanga ekyo kye yawola muliraanwa we; taakibanjenga muliraanwa we oba muganda we, kubanga Mukama y'alangiridde okusonyiwa okwo;
3
wabula munnaggwanga oyinza okumubanja; naye ekintu kyonna ky'obanja muganda wo on'okimusonyiwanga.
4
Olw'okubanga Mukama anaabawanga omukisa mu nsi gy'abawa okuba obutaka bwammwe, tewaabenga mwavu mu mmwe;
5
kasita munaanyiikiranga okuwulira, ne mutuukirizanga ebiragiro bye bino bye mbawa leero,
6
era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa, nga bwe yakusuubiza; onoowolanga amawanga mangi, naye ggwe teweewolenga; era onoofuganga amawanga mangi, naye tebaakufugenga ggwe.
7
“Mu mmwe bwe munaabangamu omwavu mu kimu ku bibuga byammwe, mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temuukakanyazanga mitima gyammwe, ne mugaana okuyamba muganda wammwe oyo omwavu,
8
wabula mumukwatirwanga ekisa, ne mumuwola byonna by'anaabanga yeetaaga.
9
Weegendereze walemenga okubaawo obukodo mu mutima gwo, ng'oyogera nti omwaka ogw'omusanvu, gw'osonyiriramu gunaatera okutuuka, n'ogaana okuyamba muganda wo omwavu, naye n'akoowoola Mukama ng'akuwaabira, ne kiba kibi gy'oli.
10
Tolemanga kumuwa, so omutima gwo tegunakuwalanga ng'omuwadde, bw'onookolanga bw'otyo, Mukama Katonda anaakuwanga omukisa mu mirimu gyonna gy'okola.
11
Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna; kyenva nkulagira nti tolemanga kuyamba muganda wo ali mu bwetaavu.”
12
“Bwe bakuguzanga omwebbulaniya munno, omusajja oba omukazi, n'akuweereza okumala emyaka omukaaga, omwaka ogw'omusanvu omuteeranga ddala n'agenda.
13
Era bw'abanga agenda ng'omutadde, tomulekanga kugendanga talina kintu.
14
Onoomuwanga ku mbuzi zo, ne ku mmere yo ey'empeke ne ku by'omussogolero lyo, nga Mukama bweyakuwa omukisa bw'otyo bw'onoomuwanga.
15
Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula; kyenva nkulagira ekigambo ekyo leero.
16
Naye omuddu wo bw'anaayagalanga okusigala naawe, kubanga akwagala ggwe n'ab'omu maka go, era nga mu mativu,
17
olwo n'olyoka oddira olukato n'omuwummula okutu kwe nga ali ku luggi, n'abeerera ddala muddu wo ennaku zonna. N'omuzaana wo bw'onoomukolanga bw'otyo.
18
Tokalubirirwanga kumusonyiyiranga ddala n'agenda, kubanga yakuweereza emyaka mukaaga emirundi ebiri, okusinga oyo aweererezza empeera.”
19
“Ensolo zammwe ensajja ezisooka okuzaalibwa, ente, embuzi oba endiga, munaazaawulangamu nga za Mukama, temuzikozesanga mulimu gwonna, era n'embuzi oba endiga temuzisalangako byoya.
20
Buli mwaka, mmwe n'ab'omu maka gammwe munaaziriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okumusinzizangamu.
21
Naye bw'eneebangako obulema bwonna obutali bulungi, nga ziwenyera oba nzibe z'amaaso, oba obulema obulala bwonna, temuziwangayo eri Mukama Katonda wammwe.
22
Ezo onooziriiranga munda w'ebibuga byo era abalongoofu n'abatali balongoofu banaaziryangako kyenkanyi nga bwe balya empeewo n'enjaza.
23
Kyokka tolyanga musaayi gwazo, naye oguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34