bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 3
Deuteronomy 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 4 →
1
“Ne tulyoka tukyuka ne twambukira mu kkubo erigenda e Basani. Ogi kabaka w'e Basani n'asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna, okutulwanyisiza mu Ederei.
2
Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Tomutya, kubanga muwaddeyo gy'oli, ye n'abantu be, wamu n'ensi ye mu mukono gwo; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli, abaatuulanga mu Kesuboni.’ ”
3
“Awo Mukama Katonda waffe n'awaayo Ogi, Kabaka we Basani n'abantu be bonna mu mukono gwaffe, ne tubatta bonna ne watasigalawo n'omu.
4
Ne tuwamba ebyali ebibuga bye byonna mu kiseera ekyo. Tewali kibuga na kimu kye tutaabawambako. Byonna awamu byali ebibuga nkaaga (60), eby'omu kitundu kyonna ekya Arugobu, ebyali obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
5
Ebyo byonna byali ebibuga ebyazimbibwako bbugwe omugulumivu nga birina enzigi n'ebisiba; okwo kw'ogatta n'ebibuga ebirala bingi nnyo ebitaaliko bbugwe.
6
Ne tubizikiririza ddala nga bwe twakola Sikoni kabaka w'e Kesuboni, nga mu buli kibuga tuzikiririza ddala abasajja, n'abakazi, n'abaana abato.
7
Naye ente zonna n'ebintu ebirala byonna bye twanyaga mu bibuga ne tubyetwalira ng'omunyago.”
8
“Era mu biro ebyo ne tuwamba ensi ya bakabaka bombi ab'Abamoli ababeeranga emitala wa Yoludaani, okuva mu kiwonvu kya Alunoni okutuusa ku lusozi Kerumooni.
9
Edda Kerumooni Abasidoni baakiyitanga Siriyooni, ate Abamoli bo bakiyitanga Seniri.
10
Twawamba ekitundu kyonna eky'obwakabaka bwa Ogi mu Basani; ebibuga byonna eby'omu lusenyi, n'ebitundu byonna ebya Gireyaadi n'ebya Basani, okutuukira ddala e Saleka ne Edereyi.”
11
“Ogi kabaka w'e Basani ye yekka eyali akyasigaddewo ku Balefa; n'essanduuko ey'amayinja mwe baamuziika obuwanvu bwayo bwali emikono mwenda n'obugazi emikono ena, ng'omukono gw'omuntu bwe guli.”
12
“Mu biro ebyo ensi eyo ne tugiwangula ne tugituulamu. Abalewubeeni n'Abagaadi ne mbawa ekitundu okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi eya Gireyaadi, n'ebibuga byamu.
13
Ekitundu ky'ekika kya Manase ne nkiwa ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna, obwali obwakabaka bwa Ogi, y'ensi yonna eya Alugobu, eyali eyitibwa ensi ya Balefa.
14
Yayiri, mutabani wa Manase, n'atwala oluuyi lwonna olwa Alugobu okutuuka ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi. Ebyalo ebyo byonna n'abituuma Basani, erinnya lye, era bimanyiddwa ng'ebyalo bya Yayiri n'okutuusa leero.
15
Makiri ne mmuwa Gireyaadi.
16
Ekika kya Lewubeeni n'ekika kya Gaadi ne mbiwa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ng'amakkati g'ekiwonvu ye nsalo mu bukiikaddyo, ate Omugga Yabboki nga ye nsalo n'Abamoni mu bukiikakkono.
17
Ku ludda olw'ebugwanjuba, ekitundu kyabwe ne kituuka ku mugga Yoludaani, okuva ku nnyanja Kinneresi mu bukiikakkono, okutuuka ku Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, n'okutuukira ddala wansi w'olusozi Pisuga ku ludda olw'ebuvanjuba.”
18
“Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugituulamu; naye abasajja bonna abazira, nga bakutte eby'okulwanyisa, banaasomoka ne baganda baabwe abaana ba Isiraeri.
19
Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato n'ebisibo byammwe, mmanyi nga mulina ebisibo bingi, binaabeeranga mu bibuga byammwe bye nnabawa.
20
Muyambe baganda bammwe okutuusa lwe baliwangula ne bakkalira mu nsi Mukama gy'abawa emitala wa Yoludaani, olwo nammwe ne mulyoka mudda mu butaka bwammwe bwe nnabawa. ’ ”
21
“Mu biro ebyo ne ndagira Yoswa ne mugamba nti, ‘Olabidde ddala n'amaaso go ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze ku bakabaka abo ababiri. Bw'atyo Mukama bw'ajja okukola ku buli bwakabaka bwe mugenda okulumba.
22
Temubatyanga, kubanga Mukama Katonda wammwe, ye an'abalwaniriranga.’ ”
23
“Mu biro ebyo ne nneegayirira Mukama nga njogera nti,
24
‘Ayi Mukama Katonda, olaze omuddu wo obukulu bwo n'omukono gwo ogw'amaanyi; kubanga katonda ki omulala ali mu ggulu oba mu nsi ayinza okukola ng'emirimu gyo bwe giri era ng'ebikolwa byo eby'amaanyi bwe biri?
25
N'olw'ekyo, nkwegayiridde nzikiriza nsomoke ndabe ku nsi ennungi eri emitala wa Yoludaani, olusozi luli olulungi, ne Lebanooni.’
26
Naye Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe n'atampulira. Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Kikumale; toyogera nate nange ku kigambo ekyo.
27
Kale linnya ku ntikko ya Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba n'obukiikakkono n'obukiikaddyo, n'ebuvanjuba, olabe n'amaaso go ensi eyo; kubanga tolisomoka mugga guno Yoludaani.
28
Naye kuutira Yoswa omugumye, omuwe amaanyi kubanga ye alikulembera abantu bano okusomoka era ye, ye alibagabira ensi gy'onoolaba.’ ”
29
“Awo ne tusigala mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34