bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 27
Deuteronomy 27
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 28 →
1
Awo Musa n'abakadde ba Isiraeri, ne balagira abantu, nga boogera nti, “Mwekuumenga ebiragiro byonna bye mbalagira leero.
2
Ku lunaku lwe mulisomoka Yoludaani okuyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, mulyesimbira amayinja amanene ne mugasiigako ennoni.
3
Bwe mulimala okusomoka, muliwandiika ku mayinja ago ebigambo byonna eby'amateeka gano, ne mulyoka muyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabasuubiza.
4
Bwe mulisomoka Yoludaani, ne mulyoka musimba amayinja gano ge mbalagira leero, ku lusozi Ebali, ne mugasiigako ennoni.
5
Era mulizimbira Mukama Katonda wammwe, ekyoto eky'amayinja agatatemeddwa na kyuma.
6
Ekyoto kya Mukama Katonda wammwe munaakizimbyanga amayinja agatali mateme; era okwo kwe munaaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wammwe;
7
era munaasalanga ebiweebwayo olw'emirembe, ne mubiriira eyo, ne musanyukira mu maasa ga Mukama Katonda wammwe.
8
Ebigambo byonna eby'amateeka gano mubiwandiikiranga ddala bulungi ku mayinja ago.”
9
Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Isiraeri yenna nti, “Musirike, muwulire, ggwe Isiraeri; leero ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo.
10
Kyonoovanga ogondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okolanga ebiragiro bye n'amateeka ge, bye nkulagira leero.”
11
Awo Musa n'akuutira abantu ku lunaku olwo, ng'ayogera nti,
12
“Bwe mulisomoka Yoludaani, Ebika bino bye biriyimirira ku lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa: ekya Simyoni, ekya Leevi, ekya Yuda, ekya Isakaali, ekya Yusufu n'ekya Benyamini.
13
Era bino bye bika ebiriyimirira ku lusozi Ebali okukolima: ekya Lewubeeni, ekya Gaadi, ekya Aseri, ekya Zebbulooni, ekya Ddaani n'ekya Nafutaali.
14
Abaleevi balyogera ebigambo bino byonna eri abasajja bonna aba Isiraeri n'eddoboozi eddene nti,
15
‘Omuntu akola ekifaananyi ekyole, ekibajje oba ekisaanuuse, eky'omuzizo eri Mukama, n'akiteekawo n'akisinza akolimirwe.’ ” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
16
“Omuntu anyooma kitaawe oba nnyina, akolimirwe.” Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
17
“Omuntu ajjulula ensalo ya muliraanwa we, akolimire.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
18
“Omuntu awabya omuzibe w'amaaso okumujja mu kkubo ettuufu, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
19
“Omuntu asaliriza munnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
20
“Buli musajja asobya ku muka kitaawe, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
21
“Omuntu eyeegatta n'ensolo yonna, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
22
“Omusajja asobya ku mwannyina, omwana wa kitaawe oba owa nnyina akolimirwe.” Abantu bonnna baddemu nti Amiina.
23
“Omuntu yenna asula ne nnyazaala we akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
24
“Omuntu yenna atemula muliraanwa we akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
25
“Omuntu yenna agulirirwa okutta omuntu ataliiko musango, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
26
“Buli muntu yenna atakwata bigambo by'amateeka gano okubituukiriza akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34