bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 6
Deuteronomy 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 7 →
1
“Kale gano ge mateeka n'ebiragiro, Mukama Katonda wammwe bye yalagira okubayigiriza, mulyoke mubikolenga mu nsi, gye mugenda okubeeramu nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani.
2
Mmwe n'abaana bammwe era ne bazzukulu bammwe, mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa obulamu bwammwe bwonna. Mutuukirizenga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye bye mbawa, mulyoke muwangaale ennaku nnyingi.
3
Kale wulira, ggwe Isiraeri, bw'otuukanga mu nsi Mukama Katonda wo gye yasuubiza bajjajjaabo, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, okwatanga ebyo byonna bye yakulagira olyoke olabenga ebirungi era olyoke oyale nnyo.”
4
“Wulira, ggwe Isiraeri; Mukama Katonda waffe ali omu.
5
Onooyagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna.
6
Era ebigambo bino bye nkulagira tobyerabiranga; onoobikuuma mu mutima gwo,
7
era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga.
8
Era onoobisibanga ku mukono gwo era onoobyetimbanga mu kyenyi okuba akabonero ak'okubikujjukizanga.
9
Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi z'ennyumba yo.”
10
“Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa omuli ebibuga ebinene ebirungi by'otaazimba,
11
n'ennyumba ezijjudde ebirungi byonna, by'otaateekamu, n'ebidiba by'otaasima, n'ensuku ez'emizabbibu n'emizeyituuni z'otaasimba, n'olya n'okkuta;
12
kale weegendereze oleme okwerabira Mukama, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.
13
Otyanga Mukama Katonda wo; oyo gw'onooweerezanga, era erinnya lye ly'onoolayiranga.
14
Temusinzanga bakatonda abalala ab'amawanga agabeetoolodde;
15
kubanga Mukama Katonda wo, Katonda wa buggya, obusungu bwe buleme okukubuubuukirako, n'akuzikiriza, n'akusaanyaawo.”
16
“Temukemanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwamukemera e Masa.
17
Munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe n'ebyo bye yategeeza, n'amateeka ge, ge yakulagira.
18
Bw'onookolanga ebiri mu maaso ga Mukama ebituufu era ebirungi, olyoke olabenga ebirungi era oyingire otuule mu nsi ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo.
19
Ogobangamu abalabe bo bonna, nga Mukama bwe yayogera.”
20
“Omwana wo bw'akubuuzanga mu biro ebigenda okujja, ng'ayogera nti, ‘Ebyo Mukama Katonda waffe bye yabalaga, n'amateeka n'ebiragiro bitegeeza ki?’
21
N'olyoka ogamba omwana wo nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu Misiri; Mukama n'atuggya mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi;
22
era Mukama n'akola obubonero n'eby'amagero, ebinene era ebizibu, ku Misiri, ku Falaawo, ne ku nnyumba ye yonna, nga tulaba.
23
n'atuggya omwo, alyoke atuyingize, okutuwa ensi gye yalayirira bajjajjaffe.
24
Era Mukama n'atulagira okukwatanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli balamu nga bwe tuli kaakano.
25
Era kinaabanga kirungi gyetuli, okwegenderezanga n'okukolanga byonna Mukama Katonda waffe bye yatulagira, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira.’ ”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34