bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 26
Deuteronomy 26
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 27 →
1
“Bwe mulimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, era nga mukkalidde;
2
Buli muntu anaatoolanga ku bibereberye by'ebibala byonna eby'ettaka, by'aliggya mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawadde; n'abiteeka mu kibbo, n'abitwala mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okumusinzizangamu.
3
Aligenda eri kabona alibaawo mu kiseera ekyo, n'amugamba nti, ‘Kaakano nkakasa Mukama Katonda wange nti nnyingidde mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.’
4
Kale kabona aliggya ekibbo mu mikono gye, n'akissa wansi mu maaso g'ekyoto kya Mukama Katonda we.
5
Naye aliddamu n'ayogera mu maaso ga Mukama Katonda we nti, ‘Bajjajjaffe Abasuuli baali batambuze era abagenyi mu Misiri, bwe batuula eyo, abaali abatono ne bayala, ne bafuuka eggwanga eddene ery'amaanyi.
6
Abamisiri ne batukola bubi, ne batubonyaabonya, ne batukaluubiriza obulamu;
7
ne tukoowoola Mukama Katonda wa bajjajjaffe, Mukama n'awulira eddoboozi lyaffe, n'alaba okubonaabona kwaffe, n'okutegana kwaffe, n'okujoogebwa kwaffe:
8
Mukama n'atuggya mu Misiri n'omukono gwe ogw'amaanyi ogwagololwa, n'entiisa ennyingi, n'obubonero n'eby'amagero;
9
n'atuyingiza mu kifo kino, n'atuwa ensi eno, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
10
Era kaakano nzuuno ndeese bye nsoose okukungula mu ttaka lye wampa ayi Mukama.’ ” “Awo anaabiteekanga mu maaso ga Mukama Katonda we, n'amusinza.
11
Onoosanyukanga olw'ebirungi byonna Mukama Katonda wo by'akuwadde ggwe, n'ab'omunnyumba yo, n'Abaleevi era ne bannamawanga ababeera nammwe.”
12
“Buli mwaka ogwokusatu munaatoolanga ekimu eky'ekkumi eky'ebikungulwa byonna eby'omwaka ogwo, ne mukiwa Abaleevi, bannamawanga, bamulekwa, ne bannamwandu bakiriire mu nnyumba zammwe bakkute;
13
Olwo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, ‘Ebintu ebyatukuzibwa mbiggye mu nnyumba yange, era mbiwadde Abaleevi, bannamawanga, bamulekwa, ne bannamwandu; ng'ekiragiro kyo kyonna bwe kiri kye wandagira, sirina kye nsobezzaako oba kye nneerabidde.
14
Ne mukukungubaga kwange sikiryangako, so sikiggyanga mu nnyumba yange mu nnaku zange ez'obutali bulongoofu era sikiwongerangako bafu, naye ŋŋondedde eddoboozi lya Mukama Katonda wange, ne nkola byonna bye wandagira nga bwe biri.
15
Kale tunula ng'osiinziira mu ggulu, mu kifo kyo ekitukuvu mw'otuula, ow'e omukisa abantu bo Isiraeri, n'ettaka ly'otuwadde, nga bwe wasuubiza bajjajjaffe okutuwa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.’ ”
16
“Leero Mukama Katonda wo akulagira okukwatanga amateeka gano n'ebiragiro; kyonoovanga obyekuuma n'obituukiriza, n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna.
17
Oyatudde leero Mukama nga ye Katonda wo, era ng'onootambuliranga mu makubo ge, ne weekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye n'ogonderanga eddoboozi lye,
18
era Mukama ayatudde n'akukakasa leero, ggwe okubeeranga eggwanga ery'envuma gy'ali, nga bwe yakusuubiza, era weekuumenga ebiragiro bye byonna;
19
era anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna ge yakola, olyoke oweese erinnya lye ekitiibwa n'ettendo; era on'obeerenga eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yayogera.”
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34