bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 19
Deuteronomy 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 20 →
1
“Mukama Katonda wammwe bw'alizikiriza amawanga agali mu nsi gy'abawa okuba obutaka, ne mutuula mu bibuga byabwe ne mu nnyumba zaabwe.
2
Mulyerondera ebibuga bisatu mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu.
3
Ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka muligigabanyamu ebitundu bisatu, buli kimu nga kirimu ekibuga eby'obuddukiro, era mulyerimira enguudo ezituuka mu bibuga ebyo. Buli atta omuntu nga tagenderedde addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo.
4
Oyo anattanga omuntu nga tagenderedde, so nga gw'asse tabadde mulabe we, annaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe.
5
Ekyokulabirako, singa omuntu agenda ne munne mu kibira okutema omuti, n'agalula embazzi okugutema, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'ekuba munne n'emutta, oyo asse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'awonya obulamu bwe.
6
Singa ekibuga kibeera ekimu, olugendo lwandibadde luwanvu nnyo okukituuka mu, oyo awooleera eggwanga ng'akyalina obusungu olw'omuntu eyattibwa, n'awondera eyatta, n'amutuukako, n'amutta, sso nga teyandittiddwa kubanga gwe yatta teyali mulabe we.
7
Kyenva mbalagira mwerondere ebibuga bisatu.
8
Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo zammwe, nga bwe yalayirira bajjajjammwe, n'abawa ensi yonna gye yasuubiza okuwa bajjajjammwe;
9
bwemuneekuumanga ebiragiro bino byonna okubikola, bye mbalagira leero, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge bulijjo; olwo ku bibuga bino ebisatu, mulyongerako ebibuga ebirala bisatu.
10
Mulikola bwe mutyo, abantu abataliiko musango baleme kuttirwa mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, nammwe ne mubaako omusango.
11
Naye omuntu yenna bw'akyawanga munne, n'amuteega, n'amufumita, n'amutta; n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo;
12
kale abakadde b'ekibuga kye, banaamutumyanga ne bamuggyayo, ne bamuwaayo eri oyo awooleera eggwanga, n'attibwa.
13
Temumukwatirwanga kisa, naye muggyangawo omutemu oyo, mulyoke mulabenga ebirungi.”
14
“Bwe mulituuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, temujjululanga bulambe obwa nsalo za baliraanwa bammwe, ab'edda ze baatekawo.”
15
“Omujulizi omu yekka taasingisenga muntu musango olw'ekibi oba olw'ekintu kyonna omuntu ky'anaabanga asobezza. Ensonga eneekakasibwanga lwa bujulizi bwa bantu babiri oba basatu.
16
Omujulirwa ow'obulimba bw'anaawayirizanga munne okumusingisa omusango,
17
abantu bombi abatakkaanya banaagendanga mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne balamulwa bakabona n'abalamuzi abanaabeerangawo mu kiseera ekyo,
18
kale abalamuzi banaakemerezanga nnyo: era, bwe banaazuulanga ng'omujulizi mulimba, ng'awaayirizza munne;
19
banaamuwanga ekibonerezo ky'abadde ayagaliza munne. Bwe mutyo bwe munneggyangako ekibi ekyo.
20
Awo abantu abalala banaawuliranga ne batya ne batakola kibi ng'ekyo mu mmwe. N'abo abasigalawo b'anaawuliranga ne batya ne batakola nate okuva ku biro biri obubi bwonna obuli ng'obwo wakati wo.
21
So temukwatibwanga kisa; obulamu busasulwenga obulamu, eriiso lisasulwenga eriiso, erinnyo lisasulwenga erinnyo, omukono gusasulwenga omukono, n'ekigere kisasulwenga ekigere.”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34