bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 33
Deuteronomy 33
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 34 →
1
Era guno gwe mukisa Musa omusajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isiraeri nga tannaba kufa.
2
N'ayogera nti, “Mukama yava ku Sinaayi, Era yabagolokokera ng'ava ku Seyiri; Yamasamasa okuva ku lusozi Palani, Ng'ali wamu n'emitwalo gy'abatukuvu; N'omuliro ogwaka ku mukono gwo ogwa ddyo.
3
Weewaawo, ayagala abantu be; Abatukuvu be bonna bali mu mikono gye. Ne batuula ku bigere bye Okuwulira ebigambo bye.
4
Musa yatuwa amateeka, Bwe busika obw'ekibiina kya Yakobo.
5
Mukama yali kabaka mu Yesuluni. Abakulembeze b'abantu, n'ebika byonna ebya Isiraeri bwe bakkuŋŋaana;”
6
“Ab'ekika kya Lewubeeni babenga abalamu, balemenga okufa, Naye abantu be balemenga okwaala.”
7
Ku kika kya Yuda n'ayogera nti, “Wulira, Mukama, eddoboozi lya Yuda, Omukomyewo mu baganda be; Nyweza emikono gye nga yeerwanirira, era omuwonye eri abalabe be. N'emikono gye yeerwanirira;”
8
Ne ku Kika kya Leevi n'ayogera nti, “Sumimu wo ne Ulimu wo biwe abasajja bo abatya Katonda, Be wakemera e Masa, Be wawakana nabo ku mazzi ag'e Meriba;
9
Abaanywerera ku ggwe Okusinga ku bazadde baabwe, Ne ku baganda baabwe, ne ku baana baabwe. Baawulira ebiragiro byo, ne bakuuma endagaano yo.
10
Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo, Ne Isiraeri banaamuyigirizanga amateeka go; Banaayoterezanga obubaane mu maaso go, Banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebiramba ku kyoto kyo.
11
Ebintu byabwe, Mukama, biwenga omukisa, Okkirize omulimu gw'emikono gyabwe; Obetenterenga ddala abalabe baabwe, abo ababakyawa balemenga okuddamu okubalumba.”
12
Ku kika kya Benyamini n'ayogera nti, “Omwagalwa wa Mukama anaatuulanga mirembe awali ye; Amubikkako okuzibya obudde, Era anaabeeranga wakati mu bo.”
13
Ne ku kika kya Yusufu n'ayogera nti, “Ensi ye eweebwe Mukama omukisa; Olw'omusulo omungi oguva mu ggulu, N'amazzi agava wansi mu ttaka.”
14
N'ensi ye ebeeremu ebibala bingi ebyengezebwa enjuba, n'ebikungulwa bingi buli mwezi.
15
Ensi ye ebeeremu eby'omuwendo omungi ebiva mu nsozi ez'edda, N'ebirungi ebiva mu busozi obutaggwaawo.
16
Ensi ye eweebwe ebirungi bingi ebiweereddwa Mukama omukisa; Olw'ekisa ky'oyo eyayogera ng'asinziira mu kisaka ekyaka omuliro. N'omukisa gujje ku kika kya Yusufu, oyo eyaggyibwa mu baganda be okuba omukulembeze.
17
Amaanyi ga Yusufu galinga ag'ente ennume embereberye; Era galinga ag'amayembe g'embogo; Aligatomeza amawanga n'agasindiikiriza ku nkomerero y'ensi; Efulayimu alivaamu emitwalo n'emitwalo; ne Manase enkumi n'enkumi;
18
Ku kika kya Zebbulooni n'ayogera nti, “Sanyuka, Zebbulooni, mu kutambula kwo,” Ne ku kika kya Isakaali, n'ayogera nti, “sanyuka ng'oli mu weema zo.”
19
Baliyita amawanga okujja ku lusozi lwabwe; Banaaweeranga eyo ssaddaaka ez'obutuukirivu; Balifuna obugagga obungi obuva mu nnyanja ne mu musenyu gwayo.
20
Ne ku kika kya Gaadi n'ayogera nti, “Mukama alibakwatirwa ekisa; n'agaziya ensi yammwe, Mulyoke mumwebazenga. Alibwama ng'empologoma enkazi, n'ataagula omukono n'omutwe.
21
Abakulembeze bwe bakuŋŋaana, yaweebwa ekitundu ekisinga obulungi eky'omugabo ogw'omukulembeze; N'atuukiriza ebiragiro bya Mukama n'amateeka ge yawa Isiraeri.”
22
Ne ku kika kya Ddaani n'ayogera nti, “Ddaani mwana wa mpologoma, Abuuka okuva mu Basani.”
23
Ne ku kika kya Nafutaali n'ayogera nti, “Ggwe Nafutaali, Mukama akukwatiddwa ekisa, era akuwadde omukisa; Twala ensi ey'ebugwanjuba n'obukiika obwaddyo.”
24
Ne ku kika kya Aseri n'ayogera nti, “Aseri aweebwe omukisa ogusinga ku gwa banne; Ayagalibwenga baganda be; Ensi ye eyazenga amafuta ag'emizeyituuni.
25
Ebibuga bye biggalwenga enzigi ez'ekyuma n'ez'ekikomo. Abenga wa maanyi obulamu bwe bwonna.”
26
“Ggwe Yesuluni, tewali afaanana Katonda, Eyeebagala ku ggulu n'ayita mu bbanga, Ng'ali mu kitiibwa ekingi, n'ajja okukuyamba.
27
Katonda ataggwaawo kye kifo kyo ky'otuulamu, Era emikono gye egitaggwaawo gikuwanirira: yagoba abalabe okuva mu maaso go,” Naayogera nti, “Mubazikirize.”
28
Era Isiraeri anaatuulanga mirembe, Abaana ba Yakobo banaabeeranga bokka, Mu nsi ey'eŋŋaano n'omwenge; Efukirirwa omusulo oguva mu ggulu.
29
Olina omukisa, ggwe Isiraeri; Teri akufaanana ggwe, eggwanga eryalokolwa Mukama, Mukama ye ngabo yo era kye kitala kyo ekikutaasa, Era abalabe bo balikujeemulukukira; Naawe olibawangula.
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34