bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 2
Deuteronomy 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 3 →
1
“Awo ne tulyoka tukyuka, ne tutambula mu ddungu nga tukutte ekkubo eriraga ku nnyanja Emmyufu, nga Mukama bwe yaŋŋamba; ne tumala ennaku nnyingi nga twetooloorera mu nsi ey'ensozi ey'e Seyiri.”
2
“Mukama n'ayogera nange nti,
3
‘Muludde nnyo ku lusozi luno; mukyuke mugende e bukiikakkono.’
4
Naawe lagira abantu ng'oyogera nti, ‘Mugenda kuyita mu nsalo ya baganda bammwe abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, era bo balibatya; naye mwegendereze nnyo.
5
Temuyomba nabo; kubanga sijja kubawa kafo konna ku nsi yaabwe; kubanga nnamala dda okuwa Esawu olusozi Seyiri okuba obutaka bwe.
6
Munaawangayo nsimbi okugula emmere gye mulya n'amazzi ge munywa.
7
“Mu myaka gino ana (40) Mukama Katonda wo abadde wamu naawe, akuwadde omukisa mu mirimu gyo gyonna ne mu kutambula kwo kwonna mu ddungu lino eddene, so tewabangawo kye weetaaga.”
8
“Awo ne tutambula nga twebalama baganda baffe, abaana ba Esawu abatuula ku lusozi Seyiri, nga twebalama ekkubo lya Alaba okuva mu Erasi ne Eziyonigeba. Ne tukyuka ne tuyita mu kkubo ly'omu ddungu ly'e Mowaabu.
9
Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Tososonkereza Mowaabu so tobawakulako lutalo; kubanga sijja kukuwa butaka ku nsi yaabwe; kubanga nnamala dda okuwa abaana ba Lutti, Ali okuba obutaka bwabwe. ’ ”
10
( Edda Abemi be baatuulanga omwo, nga ggwanga kkulu, ddene era nga bawagguufu nga Abanaki bwe baali;
11
era nabo nga bayitibwa Balefa, ng'Abanaki; naye Abamowaabu bo baabayitanga Bemi.
12
Edda Abakooli be babeeranga ku Seyiri, naye abaana ba Esawu bwe bajja, ne babagobako, ne bazikiriza eggwanga lyabwe, ne basenga mu kifo kyabwe, okufaananira ddala ng'Abaisiraieri bwe baakola mu nsi Mukama gye yabawa okuba obutaka bwabwe).
13
“Kale musituke musomoke akagga Zeredi. Awo ne tusomoka akagga Zeredi.
14
Okuva lwe twava e Kadesubanea, okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi, gyali giweze emyaka asatu mu munaana (38). Abasajja abalwanyi bonna ab'omulembe ogwo, baali bafudde nga baweddewo mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira.
15
Mukama yabalwanyisa okutuusa lwe yabazikiriza n'abamalirawo ddala mu lusiisira.”
16
“Awo olwatuuka, abalwanyi bonna bwe baamala okufa ne baggwaawo,
17
Mukama n'alyoka aŋŋamba nti,
18
‘Leero onooyita mu Ali, ye nsalo ya Mowaabu;
19
bw'onoosemberera abaana ba Amoni era ng'oboolekedde, tobasosonkereza so tobawakulako lutalo kubanga sijja kukuwa butaka ku nsi yaabwe, kubanga nnamala dda okugiwa abaana ba Lutti okuba obutaka bwabwe.’ ”
20
(Ensi eyo era eyitibwa ya Balefa. Abaleefa be baagibeerangamu edda. Naye Abammoni baabayitanga Bazamuzumu.
21
Baali ggwanga kkulu, ddene, era nga bawagguufu ng'Abanaki bwe baali, naye Mukama n'abazikiriza, Abammoni ne balyoka basenga mu nsi eyo, ne badda mu kifo kyabwe.
22
Mukama era bw'atyo bwe yakolera abaana ba Esawu ababeera ku Seyiri; bwe yazikiriza Abakooli, olwo abaana ba Esawu ne batuula mu nsi eyo, ne badda mu kifo kyabwe n'okutuusa leero).
23
Era n'Abavi abaabeeranga mu byalo okutuukira ddala e Gaaza, Abakafutooli abaava e Kafutooli baabazikiriza, ne badda mu kifo kyabwe.
24
“Musituke, mutambule, muyite mu kiwonvu kya Alunoni, Sikoni, Omwamoli, kabaka w'e Kesuboni, muwaddeyo awamu n'ensi ye mu mikono gyammwe, mumulwanyise mutwale ensi ye.
25
Okuva leero ntadde entiisa yo n'ekitiibwa kyo ku mawanga agali wansi w'eggulu lyonna. Banaawuliranga ettutumu lyo ne batekemuka era ne beeraliikirira.”
26
“Ne ntuma ababaka nga nsiiziira mu ddungu ery'e Kedemosi eri Sikoni, kabaka w'e Kesuboni, n'ebigambo eby'emirembe nga musaba nti,
27
‘Ka mpite mu nsi yo; nnaatambuliranga mu luguudo mwokka, sijja kukyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.
28
Emmere gye tunaalyanga n'amazzi ge tunanywanga tunaagulanga bigule na nsimbi; naye tukkirize tuyitemu;
29
ng'abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, n'Abamowaabu abatuula mu Ali bwe banzikiriza; okutuusa lwe ndisomoka Yoludaani ne ŋŋenda mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.’ ”
30
“Naye Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'atatuganya kuyita mu nsi ye; kubanga Mukama Katonda wo yakakanyaza omutima gwe, n'ajeema alyoke amuweeyo mu mukono gwo nga bwe kiri leero.
31
Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Laba, ntandise okubawa Sikoni n'ensi ye; kale mugiwangule mugituulemu.’
32
Sikoni n'abantu be bonna ne basitula okutulumba okutulwanyisiza e Yakazi.
33
Mukama Katonda waffe n'amutuwa mu mukono gwaffe ne tumutta, ye n'abaana be n'abantu be bonna.
34
Ne tunyaga ebibuga bye byonna, ne tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato; obutalekaawo n'omu;
35
ente zokka ze twetwalira ng'omunyago, wamu n'ebintu bye twanyaga mu bibuga ebyo.
36
Mukama Katonda waffe yatuwa byonna mu mukono gwaffe, okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu okutuusa ku Gireyaadi. Tewali kibuga kyatulema olw'obugulumivu bwakyo.
37
Naye tetwasemberera nsi y'abaana ba Amoni, n'olubalama lw'Omugga Yabboki, n'ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi, wadde ebifo ebirala byonna, Mukama Katonda waffe gye yatuziyiza okugenda.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34