bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 5
Deuteronomy 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 6 →
1
Awo Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti, “Wulira, ggwe Isiraeri, amateeka n'ebiragiro bye mbategeeza leero, mubiyige, mubikwatenga era mu bikolenga.
2
Mukama Katonda waffe yalagaana endagaano naffe ku lusozi Kolebu.
3
Mukama teyalagaana ndagaano eyo na bajjajjaffe bokka, naye era naffe ffenna abalamu abali wano leero.
4
Mukama yayogera nammwe ng'asinziira ku lusozi, wakati mu muliro nga mulaba.
5
Mu biro ebyo, nange nnayimirira wakati wa Mukama nammwe, okubategeeza ekigambo kya Mukama; kubanga mwali mutidde omuliro ne mutalinnya ku lusozi, Mukama bwe yayogera nti,
6
‘Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.’ ”
7
“ ‘Tobanga na bakatonda balala we ndi.’ ”
8
“ ‘Teweekoleranga kifaananyi kyole, eky'ekintu kyonna ekiri mu waggulu mu ggulu, newakubadde wansi ku ttaka, newakubadde mu mazzi agali wansi w'ettaka:
9
tobivuunamiranga, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, awalana ku baana obubi bwa bajjajjaabwe, ne ku bannakabirye ne ku bannakasatwe ku abo abankyawa;
10
era asaasira abantu nkumi na nkumi abanjagala era, abeekuuma amateeka gange. ’ ”
11
“ ‘Tolayiriranga bwereere linnya lya Mukama Katonda wo: kubanga Mukama talirema ku mussaako musango omuntu alayirira obwereere erinnya lye.’ ”
12
“ ‘Okwatanga olunaku olwa Ssabbiiti okulutukuza, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira.
13
Ennaku omukaaga okolanga n'omala emirimu gyo gyonna:
14
naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo: tolukolerangako mirimu gyonna ggwe, newakubadde mutabani wo newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ente yo, newakubadde endogoyi yo, newakubadde ebisolo byo byonna, newakubadde munnaggwanga ali ewuwo; omuddu wo n'omuzaana wo bawummulenga nga ggwe.
15
Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akuggyamu n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okwekuumanga olunaku olwa Ssabbiiti.’ ”
16
“ ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira; ennaku zo zibe nnyingi, era olabe ebirungi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.’ ”
17
“ ‘Tottanga.
18
So toyendanga.
19
So tobbanga.
20
So towaayirizanga muntu munno.
21
So teweegombanga mukazi wa muntu munno, so toyaayaaniranga nnyumba ya muntu munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna ekya muntu munno. ’ ”
22
“Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n'eddoboozi ddene, n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja n'abimpa.”
23
“Awo olwatuuka, bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza wakati, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera awamu n'abakulu bonna ab'ebika byammwe, n'abakadde bammwe;
24
ne mwogera nti, ‘Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obukulu bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva mu muliro wakati. Leero tulabye nga kisoboka Katonda okwogera n'omuntu n'asigala nga mulamu.
25
Kale kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi gunaatuzikiriza; bwe tunaddamu nate okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe tujja kufa.
26
Kubanga ani ku balina omubiri bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogera nga liva mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n'aba mulamu?
27
Ggwe sembera owulire byonna Mukama Katonda waffe by'anaayogera; olyoke otubuulire byonna Mukama Katonda waffe by'anaakubuulira; naffe tulibiwulira ne tubikola.’
28
Mukama n'awulira ebigambo bye mwayogera nange, n'aŋŋamba nti, ‘Mpulidde ebigambo abantu bano bye bakugambye. Byonna bye boogedde birungi.
29
Kale singa bulijjo baba n'omutima ng'ogwo, bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna, bo n'ezadde lyabwe; bandibadde bulungi ennaku zonna!
30
Genda obagambe nti muddeyo mu weema zammwe.
31
Naye ggwe beera wano we ndi, nkubuulire ebiragiro byonna n'amateeka by'olibayigiriza, balyoke babikolenga mu nsi gye mbawa okubeeramu.’
32
Kale mwegenderezenga okukolanga nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira, temukyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.
33
Mutambulirenga mu kkubo lyokka Mukama Katonda wammwe ly'abalagira, mulyoke mubenga abalamu, era mulabe ebirungi, era muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mugenda okutuulamu.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34