bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 13
Deuteronomy 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 14 →
1
“Bwe wanaabangawo wakati mu mmwe nnabbi oba omuntu aloota ebirooto, n'abawa akabonero oba eky'amagero,
2
akabonero ako oba eky'amagero ekyo ne bwe kituukiriranga, kyokka n'abagamba okuweereza bakatonda abalala bemutamanyangako era be mutaweerezangako,
3
temukkirizanga nnabbi oyo, oba omuntu oyo aloota ebirooto; kubanga Mukama Katonda wammwe anaabagezesanga okulaba oba nga mu mwagala n'omutima gwammwe gwonna n'obulamu bwammwe bwonna.
4
Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezanga, ne mwegattanga naye.
5
Era nnabbi oyo oba omuntu oyo aloota ebirooto anattibwanga; kubanga ayogedde ebigambo ebibajeemesa okuva ku Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'abanunula mu nnyumba ey'obuddu, nga abasendasenda okukyama okuva mu kkubo Mukama Katonda wammwe lye yabalagira okutambulirangamu. Kale mwe mutyo bwe munaggyangamu okwonoona wakati mu mmwe.”
6
“Muganda wo, mutabani wa nnyoko, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba omukazi wo, oba mukwano gwo ennyo, bw'akusendasendanga mu kyama, ng'ayogera nti, ‘tugende tuweereze bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe, newakubadde bajjajjaabo,’
7
ku bakatonda ab'amawanga agabeetoolodde, abali okumpi nammwe, oba abali ewala mu nsi,
8
tomukkirizanga so tomuwuliranga; tomukwatirwanga kisa, tomusonyiwanga, so tomukwekanga;
9
naye omuttanga; ggwe osookanga okumukuba amayinja n'abalala bonna ne balyoka bagamukuba okumutta.
10
Onoomukubanga amayinja okumutta, kubanga yagezaako okukusedasenda okuva ku Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.
11
Abaisiraeri bonna bwe banaakiwuliranga ekyo, ne batya, era tewaabengawo mu mmwe muntu anaagezangako okukola ekibi ekifaanana bwe kityo wakati mu mmwe.”
12
“Bwemunawuliranga nga boogera ku kimu ku bibuga byammwe, Mukama Katonda wammwe by'abawa okutuulamu, nga bagamba nti,
13
Waliwo abantu abataliiko kye bagasa abavudde wakati mu mmwe, era abasenzesenze abatuula mu bibuga byammwe, nga boogera nti, Tugende tuweereze bakatonda abalala, be mutamanyanga;
14
muneekennenyanga ebigambo ebyo, oba nga ddala bituufu; bwe kizuulibwanga nti bya muzizo era nga bikolebwa wakati mu mmwe;
15
mukwatanga ebitala ne muzikiriza buli muntu atuula mu kibuga ekyo. Musaanyizangawo ddala ekibuga, ne mutta n'ekitala buli muntu akirimu awamu n'ebisolo byonna.
16
Era mukuŋŋaanyizanga wakati mu kibuga ebintu byonna eby'abantu ne mulyoka mu kyokya n'omuliro wamu n'ebintu by'abantu byonna; okuba nga ssaddaaka enjokye eri Mukama Katonda wammwe. Ekibuga ekyo kinaabeeranga matongo ennaku zonna.
17
Temweterekerangako ku kintu kyonna ekikolimiddwa, Mukama alyoke akyuke okuleka obusungu bwe obungi, abalage ekisa, abasaasire era abaaze, nga bwe yalayirira bajjajjammwe.
18
Muwulirenga eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe, mwekuumanga ebiragiro bye byonna bye mbalagira leero, okukolanga ebiri mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ebirungi.”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34