bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 21
Deuteronomy 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 22 →
1
“Mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu, omuntu bw'anaasangibwanga mu nsiko ng'attiddwa naye amusse nga tategeerekese;
2
abakadde n'abalamuzi bammwe banaagendanga ne bapima ebbanga, okuva ku mulambo okutuuka ku buli kimu ku bibuga ebiriraanyeewo.
3
Abakulembeze b'ekibuga ekisinga okuba okumpi n'omulambo, banatwalanga ente enduusi, etekozesebwangako mulimu, era etebangako kye walula nga eri ku kikoligo.
4
era abakadde b'ekibuga ekyo banaaserengesanga ente eyo enduusi, mu kiwonvu ekitalimwangamu era ekitasigibwangamu, ekirimu amazzi agakulukuta, ne bakutulira omwo ensingo y'ente eyo.
5
Ne bakabona ab'omu kika kya Leevi, abo Mukama Katonda wammwe be yeeroboza okumuweerezanga n'okuwanga omukisa mu linnya lye, n'okutawulula abakaayana, n'abalwanaganye, banajjanga ne babawoleza.
6
Awo abakadde bonna ab'omu kibuga ekisinga okuba okumpi n'omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo ku nte enduusi ekutuddwako ensingo mu kiwonvu;
7
era banaayogeranga nti, ‘Si ffe twatemula omuntu ono, so n'eyamutemula tetwamulaba.’
8
Kale nno ayi Mukama, sonyiwa abantu bo Isiraeri, bewanunula, so tobassaako musango olw'omuntu eyattirwa obwereere. Kale omusango gunaabagibwangako.
9
Bwe munaakolanga bwe mutyo, nga Mukama bw'alagira, bwe muneggyangako omusango oguli mu mmwe.”
10
“Bwe munaalwananga n'abalabe bammwe, Mukama Katonda wammwe, n'abawa ne mubawangula, ne munyaga abakazi;
11
mu banyagiddwa, n'olabamu omukazi omulungi n'omwegomba okumuwasa;
12
on'omutwalanga mu nnyumba yo, n'amwebwako enviiri, n'asala n'enjala ze;
13
era anaayambulangamu ebyambalo eby'obunyage, n'abeera mu nnyumba yo okumala omwezi mulamba ng'akabira kitaawe ne nnyina; kale oluvannyuma onegattanga naye n'aba mukazi wo.
14
Awo bw'ataganjenga mu maaso go, onoomulekanga n'agenda gy'ayagala; naye tomutundangamu bintu, so tomuyisanga nga omuzaana, kubanga wegattako naye.”
15
“Omusajja bw'abanga n'abakazi babiri, omu nga muganzi okusinga omulala, bombi ne bamuzaalira abaana; kyokka ng'omwana omulenzi omubereberye wa mukazi atali muganzi,
16
omusajja oyo bw'anaatuusanga okulaamira abaana be ebintu by'alina, taafuulenga mwana wa mukazi omuganzi okuba omubereberye, mu kifo ky'omwana omulenzi omubereberye omutuufu, eyazaalibwa omukazi atali muganzi,
17
naye anakkirizanga omwana omulenzi omubereberye, ow'omukazi atali muganzi, n'amuwa emigabo ebiri ku byonna by'alina; kubanga oyo ye yasooka okuva mu maanyi ge, eby'omubereberye byonna bibye.”
18
“Omuntu bw'abanga ne mutabani we omukakanyavu era omujeemu, nga tagondera kitaawe ne nnyina, era nga tawulira ne bwe bamubonereza;
19
kale kitaawe ne nnyina banaamukwatanga, ne bamutwala eri abakadde ab'omukibuga ku wankaaki;
20
ne bamuloopa eri abakadde ab'omukibuga nti, ‘Omwana waffe ono mukakanyavu era mujeemu, tawulira, wa mpisa mbi era mutamiivu.’
21
Awo abasajja bonna ab'omu kibuga kyabwe banaamukubanga amayinja ne bamutta; bw'otyo bw'onoggyangawo obubi wakati mu mmwe; kale Isiraeri yenna anaawuliranga era anaatyanga.”
22
“Omuntu bw'anaakolanga ekibi ekisaanira okumussa, ne bamutta, ne bamuwanika ku muti;
23
omulambo gwe tegusulanga ku muti, naye mumuziikirangawo ku lunaku olwo; kubanga awanikiddwa, aleme okuleeta ekikolimo ku nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka.”
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34