bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Deuteronomy 14
Deuteronomy 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 15 →
1
Mmwe muli baana ba Mukama Katonda wammwe; temwesalanga misale so temumwanga mitwe gyammwe okufaanana nga ab'ebiwalaata nga mukungubagira abafu.
2
Kubanga muli ggwanga ttukuvu erya Mukama Katonda wammwe, era Mukama yabalonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali mu nsi.
3
Temulyaga ku kintu kyonna Mukama kyeyabagaana.
4
Zino ze nsolo ze munaalyanga: ente, endiga n'embuzi,
5
enjaza, empeewo, ennangaazi, embulabuzi, entamu, enteŋŋo n'endiga ey'omu nsiko.
6
na buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era erina ekinuulo ekyaseemu, ezza obwenkulumo, mu nsolo, ezo ze munaalyanga.
7
Ku ezo ezizza obwenkulumo, oba ezirina ekinuulo ekyaseemu, zino ze mutalyanga: eŋŋamira, akamyu n'omusu, kubanga zizza obwenkulumu naye tezaawulamu kinuulo; si nnongoofu gye muli;
8
n'embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo naye tezza bwekulumo, nayo si nnongoofu gye muli. Ennyama y'ensolo ezo temugiryangako, wadde okuzikwatako nga zifudde.
9
Bino bye munaalyanga ku byonna ebiba mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagalagamba.
10
Buli ekitalina maggwa n'amagamba temukiryanga; kubanga si kirongoofu gye muli.
11
Ennyonyi zonna ennongoofu munaaziryanga.
12
Zino ze zitali nnongoofu era temuziryangako: ennunda, empungu, makwanzi,
13
wonzi, eddiirawamu, kamunye n'endala eziri mu ngeri ye;
14
nnamuŋŋoona n'endala eziri mu ngeri ye;
15
maaya, olubugabuga, olusove, enkambo n'endala eziri mu ngeri ye;
16
ekiwuugulu, ekkufukufu, n'ekiwuugulu eky'amatu;
17
kimbaala, ensega, enkobyokkobyo;
18
kasida, ssekanyolya n'ebirala ebiri mu ngeri ye, ekkookootezi, n'ekinyira.
19
Ne byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro si birongoofu gye muli; tebiriibwanga.
20
Mulyanga ku nnyonyi zonna ennongoofu.
21
Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka; muyinza okukiwa bannamawanga abali mu bibuga byammwe bakirye oba okukibaguza; kubanga mmwe muli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wammwe. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina gwayo.
22
Muneesoloozangako ekitundu ekimu eky'ekkumi ku bibala ebinaavanga mu nnimiro zammwe buli mwaka.
23
Era onooliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, n'eky'envinnyo yo, n'eky'amafuta go, n'ebibereberye by'ente zo n'eby'embuzi zo; oyige okutyanga Mukama Katonda wo ennaku zonna.
24
Era oba ng'olugendo lunaakuyiŋŋanga okuba olunene, n'okuyinza n'otoyinza kukitwalayo, kubanga ekifo kiyinze okukuba ewala, Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, Mukama Katonda wo bw'alikuwa omukisa;
25
onookiwaanyisangamu effeeza, n'osiba effeeza mu mukono gwo, n'ogenda mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza:
26
kale effeeza onoogigulangamu ekintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala, ente, oba ndiga, oba nvinnyo, oba ekitamiiza, oba ekintu kyonna emmeeme yo ky'eneekusabanga: era onooliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo, era onoosanyukanga ggwe n'ab'omu nnyumba yo:
27
n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo, tomwabuliranga; kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe.
28
Ku buli nkomerero y'omwaka ogwokusatu munaakuŋŋaanyanga ebitundu byonna eby'ekkumi ne mubitereka mu bibuga byammwe;
29
n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu nammwe, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abali munda mu bibuga byammwe, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wammwe alyoke abawe omukisa mu mirimu gyonna gye mukola.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34