bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 1
1 Samuel 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 2 →
1
Waaliwo omusajja erinnya lye Elukaana, eyabeeranga mu kibuga Raamatayimuzofimu, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Yali mutabani wa Yerohaamu, Yerohaamu mutabani wa Elihu, Elihu mutabani wa Tohu, Tohu mutabani wa Zufu Omwefurayimu.
2
Elukaana yalina abakazi babiri: Hanna ne Penina. Penina yalina abaana, naye Hanna teyalina.
3
Buli mwaka, Elukaana yavanga mu kibuga ky'ewaabwe n'agenda e Siilo, okusinza n'okuwaayo ebitambiro eri Mukama Nnannyinimagye. Batabani ba Eli bombi, Hofuni ne Finehaasi, be baali bakabona ba Mukama e Siilo.
4
Olunaku Elukaana lwe yaweerangayo ekitambiro, yawanga mukazi we Penina n'abaana be abawala n'abalenzi, emigabo.
5
Newaakubadde Elukaana yayagalanga nnyo Hanna, yamuwanga omugabo gumu gwokka, kubanga Mukama yali amufudde mugumba.
6
Muggya we yakolanga ebyamusunguwazanga era ne bimunakuwaza nnyo, kubanga Mukama yali amufudde mugumba.
7
Bwe kityo bwe kyabanga buli mwaka. Bwe baagendanga mu nnyumba ya Mukama, Penina yasunguwazanga Hanna. Hanna kyeyavanga akaaba amaziga, n'alemwanga n'okulya.
8
Awo Elukaana bba n'amubuuzanga nti: “Hanna okaabiranga ki era lwaki tolya? Lwaki omutima gwo munakuwavu? Nze sikugasa kusinga baana kkumi ab'obulenzi?”
9
Bwe baamala okulya n'okunywa e Siilo, Hanna n'asituka. Mu kiseera ekyo, Eli kabona yali atudde ku ntebe okumpi n'omulyango gw'Essinzizo lya Mukama.
10
Hanna yali munakuwavu mu mwoyo. N'asaba Mukama, era n'akaaba nnyo amaziga.
11
Ne yeeyama ng'agamba nti: “Ayi Mukama Nnannyinimagye bw'onontunuulira nze omuzaana wo, n'olaba okubonaabona kwe ndimu, n'onzijukira, era n'otanneerabira, n'ompa omwana ow'obulenzi, ndimukuwa ennaku zonna ez'obulamu bwe, era enviiri ze, teziimumwebwengako.”
12
Awo bwe yeeyongera okusaba Mukama, Eli ne yekkaanya emimwa gye.
13
Hanna yasabiranga mu mutima gwe, emimwa gye nga gyenyeenya, naye eddoboozi lye nga teriwulikika. Eli kyeyava alowooza nti omukazi atamidde.
14
Awo Eli n'amugamba nti: “Olituusa wa okutamiiranga? Lekera awo okunywanga omwenge.”
15
Hanna n'amuddamu nti: “Nedda, mukama wange, ndi mukazi anakuwadde mu mwoyo. Sinywedde mwenge, wadde ekitamiiza ekirala kyonna. Mbadde nnyanjulira Mukama, ennaku endi ku mwoyo.
16
Tolowooza nti nze omuweereza wo ndi mukazi ataliimu nsa. Mu buyinike bwange obunsukkiridde, ne mu kunyiiga kwange, mwe nsinzidde okwogera okutuusa kaakano.”
17
Awo Eli n'addamu nti: “Genda mirembe, Katonda wa Yisirayeli akuwe ky'omusabye.”
18
Hanna n'agamba nti: “Weebale kunjagaliza mukisa, nze omuweereza wo.” Awo omukazi ne yeddirayo, n'alya, n'ataddamu kunakuwala.
19
Awo enkeera mu makya Elukaana n'ab'omu nnyumba ye ne bazuukuka, ne basinza Mukama ne baddayo ewaabwe, ne batuuka mu nnyumba yaabwe e Raama. Elukaana ne yeegatta ne Hanna mukazi we, Mukama n'ajjukira Hanna.
20
Hanna n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, n'amutuuma erinnya Samweli, kubanga yagamba nti: “Namusaba Mukama.”
21
Awo omusajja oyo Elukaana n'agenda nate n'ab'ennyumba ye okuwaayo eri Mukama ekitambiro ekya buli mwaka, era n'okutuukiriza kye yeeyama.
22
Kyokka Hanna n'atagenda, kubanga yagamba bba nti: “Sijja kugendayo okutuusa ng'omwana avudde ku mabeere, ndyoke mmutwale mmwanjule mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna.”
23
Elukaana, bba, n'amugamba nti: “Kola ky'olaba nga kye kisinga obulungi, olinde okutuusa lw'olimuggya ku mabeere. Kyokka Mukama anyweze ekigambo kye.” Awo omukazi n'asigala, n'ayonsa omwana we okutuusa lwe yamuggya ku mabeere.
24
Bwe yamuggya ku mabeere, n'amutwala wamu n'ente ssatu, n'ekisero kimu eky'obuwunga bw'eŋŋaano, n'ensawo y'eddiba ejjudde omwenge, n'amuleeta ng'akyali muto e Siilo, mu nnyumba ya Mukama.
25
Awo ne batta ente, ne batwala omwana ewa Eli.
26
Hanna n'agamba nti: “Ayi mukama wange, wangaala! Mukama wange, nze mukazi eyayimirira wano mu maaso go, nga nsaba Mukama.
27
Ono ye mwana gwe nasaba Mukama era yawulira okusaba kwange, n'amumpa.
28
Nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama.” N'asinziza eyo Mukama.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31