bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 25
1 Samuel 25
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
1
Awo Samweli n'afa. Abayisirayeli bonna ne bakuŋŋaana wamu okumukungubagira, ne bamuziika mu maka ge e Raama. Awo Dawudi n'asituka n'aserengeta mu ddungu ly'e Parani.
2
E Mawoni waaliyo omusajja, ng'emirimu gye agikolera Karumeeli. Omusajja oyo yali mugagga nnyo, ng'alina endiga enkumi ssatu, n'embuzi lukumi. Yali ng'asala ebyoya by'endiga ze e Karumeeli.
3
Omusajja oyo, yali ayitibwa Nabali, ne mukazi we, ng'ayitibwa Abigayili. Omukazi yali mutegeevu era nga mulungi mu ndabika ye. Naye bba, eyali ow'omu nnyumba ya Kalebu ye yali wa kkabyo, era nga mubi mu bikolwa bye.
4
Awo Dawudi bwe yali mu ddungu, n'awulira nti Nabali yali asala ebyoya by'endiga ze.
5
N'atuma abavubuka kkumi, n'abagamba nti: “Mwambuke e Karumeeli, mugende eri Nabali, mumunnamusize.
6
Era mu kumulamusa, mumuŋŋambire nti: ‘Emirembe gibe ku ggwe, ne ku b'omu nnyumba yo, ne ku byonna by'olina.
7
Kaakano mpulidde ng'olina abasala ebyoya by'endiga. Abasumba bo babadde naffe, ne tutabakolako kabi konna. Era ekiseera kyonna kye baamala e Karumeeli, tewaali kintu kyabwe na kimu kyababulako.
8
Buuza abavubuka bo, bajja kukubuulira. Kale nno naawe, okwatirwe abavubuka bange ekisa, kubanga tujjidde ku lunaku olw'okujaguza. Nkwegayiridde, kyonna ky'osobola okiwe abaweereza bo, era nange mutabani wo Dawudi.’ ”
9
Abavubuka ba Dawudi bwe baatuukayo, byonna ne babibuulira Nabali, nga Dawudi bwe yabibatuma, ne balinda.
10
Awo Nabali n'addamu abaweereza ba Dawudi ng'agamba nti: “Dawudi ye ani? Mutabani wa Yesse ye ani? Mu biro bino, waliwo abaddu bangi abadduka ku bakama baabwe,
11
kale nzirire emigaati gyange, n'amazzi gange, n'ennyama gye nzitidde basajja bange abasala ebyoya, mbiwe abantu be simanyiiko gye bavudde?”
12
Abavubuka ba Dawudi ne bakyuka ne baddayo, ne bamubuulira ng'ebyo byonna bwe bibadde.
13
Dawudi n'agamba abasajja be nti: “Mwesibe buli omu ekitala kye!” Buli omu ne yeesiba ekitala kye. Ne Dawudi ne yeesiba ekikye. Abasajja ng'ebikumi bina ne bagoberera Dawudi. Ebikumi ebibiri ne basigala okukuuma ebintu.
14
Awo omu ku baweereza ba Nabali, n'agamba Abigayili muka Nabali nti: “Waategedde? Dawudi yatumye ababaka abaavudde gy'ali mu ddungu okulamusa mukama waffe, naye ye n'abavuma,
15
sso ng'abasajja abo baatuyisa bulungi nnyo. Tetwatuukibwako kabi, era tetulina kintu na kimu kyatubulako ekiseera kyonna kye twamala nabo ku ttale.
16
Baatukuumanga emisana n'ekiro ebbanga lyonna lye twabeera nabo, nga tulunda endiga.
17
Kale nno kaakano osaanidde omanye era olowooze ky'onookola, kubanga bamaliridde okukola akabi ku mukama waffe ne ku b'omu nnyumba ye bonna. Omuntu omubi eyenkanidde awo, tewali ayinza kwogera naye.”
18
Abigayili n'ayanguwa n'addira emigaati ebikumi bibiri, n'ensawo bbiri ez'amaliba ezijjudde omwenge ogw'emizabbibu, n'endiga ttaano enfumbire ddala, n'ebibbo by'eŋŋaano ensiike bitaano, n'ebirimba kikumi eby'emizabbibu emikalu, n'ebitole ebikumi bibiri eby'emitiini, n'abitikka ku ndogoyi.
19
N'agamba abaweereza be nti: “Munkulemberemu mugende, nange mbaveeko emabega.” Kyokka n'atabuulira bba Nabali.
20
Awo Abigayili bwe yali nga yeebagadde endogoyi, aserengeta ng'aweta mu kasonda k'olusozi, amangwago Dawudi ne basajja be ne baserengeta okumwolekera, n'asisinkana nabo.
21
Dawudi yali amaze okugamba nti: “Mazima nakuumira bwereere ebintu by'omusajja oyo byonna, bye yalina mu ddungu, ne watabulawo wadde ekimu? Kale ye ansasudde bibi mu birungi bye namukolera?
22
Nze Dawudi, Mukama ambonereze n'obukambwe, singa we bunaakeerera, nnaaba ndeseewo omusajja, wadde omwana ow'obulenzi mu bantu be bonna b'alina.”
23
Awo Abigayili bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa n'ava ku ndogoyi, n'avuunamira Dawudi, n'akutama ku ttaka.
24
N'agwa ku bigere bya Dawudi, n'agamba nti: “Mukama wange, omusango ogwo gube ku nze, ddala gube ku nze. Era kkiriza omuweereza wo kye ŋŋamba.
25
Nkwegayiridde mukama wange, tofa ku Nabali, omuntu omubi, kubanga ng'erinnya lye bwe liri, naye bw'ali. Nga bw'ayitibwa Nabali, era ddala musiru. Naye nze omuweereza wo, saalaba balenzi ggwe mukama wange be watuma.
26
Kaakano mukama wange, Mukama akuwonyezza okuyiwa omusaayi, n'okuwoolera eggwanga. Kale nno, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, abalabe bo, n'abo abaagala okukukolako akabi, mukama wange, babonerezebwe nga Nabali.
27
Era kaakano mukama wange, ekirabo kino nze omuweereza wo kye nkuleetedde, kiweebwe abavubuka abakugoberera, mukama wange.
28
Nkwegayiridde, nsoyiwa nze omuweereza wo, bye nsobezza. Mukama talirema kukuwa, ggwe mukama wange, bwakabaka bwa nkalakkalira kubanga ggwe, mukama wange, olwana entalo za Mukama. Era tebalikulabamu kibi obulamu bwo bwonna.
29
Singa wabaawo asituka okukuyigganya, ng'ayagala okukutta, obulamu bwo, mukama wange, bujja kusibwa mu muganda gw'abalamu abali awamu ne Mukama Katonda wo, obulamu bw'abalabe bo Mukama abukanyuge, ng'omuntu bw'akanyuga amayinja ng'akozesa envuumuulo.
30
Awo Mukama bw'alimala okukukolera ebirungi byonna bye yakusuubiza ggwe, mukama wange, n'akufuula kabaka wa Yisirayeli,
31
olwo mukama wange, tolibaako kikweraliikiriza wadde kikulumya mwoyo, olw'okuyiwa omusaayi awatali nsonga, oba mukama wange, olw'okuwoolera eggwanga. Era mukama wange, Mukama bw'aliba ng'akuwadde omukisa, kale onzijukiranga nze omuweereza wo.”
32
Dawudi n'agamba Abigayili nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli akutumye olwaleero okusisinkana nange, atenderezebwe.
33
Naawe otenderezebwe olw'amagezi go n'olw'okumponya okuzza omusango ogw'okuyiwa omusaayi n'okuwoolera eggwanga.
34
Nga Mukama, Katonda wa Yisirayeli anziyizizza okukukolako akabi, bw'ali omulamu, mazima ddala singa toyanguye n'ojja okusisinkana nange, we bwandikeeredde wandibadde tewasigadde musajja wadde omwana ow'obulenzi, mu bantu ba Nabali.”
35
Awo Dawudi n'akkiriza Abigayili by'amuleetedde, n'amugamba nti: “Ddayo mirembe mu nnyumba yo. Mpulidde by'oŋŋambye, era mbikkirizza.”
36
Abigayili n'addayo eri Nabali. Nabali yali afumbye embaga nnene mu nnyumba ye, embaga eyo ng'eri ng'eya kabaka. Yali ng'atamidde nnyo era nga musanyufu, Abigayili kyeyava tabaako ky'amubuulira okutuusa enkeera.
37
Awo enkeera Nabali omwenge bwe gwamwamukako, Abigayili n'amubuulira byonna. Nabali n'akalambala n'afuuka ng'ejjinja.
38
Bwe waayitawo ennaku kkumi, Mukama n'akuba Nabali, Nabali n'afa.
39
Dawudi bwe yawulira nga Nabali afudde, n'agamba nti: “Mukama atenderezebwe, awooledde eggwanga ku Nabali eyanvuma, era aziyizza nze omuweereza we okukola ekibi. Mukama abonerezza Nabali olw'ekibi kye.” Awo Dawudi n'atumira Abigayili ng'amusaba bafumbiriganwe.
40
Abaweereza ba Dawudi ne bagenda eri Abigayili e Karumeeli, ne bamugamba nti: “Dawudi atutumye gy'oli, tukutwale obeere mukazi we.”
41
Awo Abigayili n'asituka n'avuunama ku ttaka, n'agamba nti: “Nzuuno omuweereza wo, neetegese okunaazanga ebigere by'abaweereza ba mukama wange.”
42
Awo Abigayili n'ayanguwa n'asituka, ne yeebagala endogoyi. N'agenda n'abaweereza ba Dawudi, ng'awerekerwa abaweereza be bataano. Abigayili n'afuuka muka Dawudi.
43
Dawudi n'awasa ne Ahinowamu ow'e Yezireeli, bombi ne baba bakazi be.
44
Sawulo yali agabye muwala we Mikali, eyali muka Dawudi, ng'amuwadde Paluti mutabani wa Layisi, ow'e Gallimu.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31