bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 13
1 Samuel 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 14 →
1
Sawulo yali wa myaka…egy'obukulu we yatandikira okufuga, n'afugira Yisirayeli emyaka …ebiri.
2
Sawulo ne yeeroboza mu Bayisirayeli abasajja enkumi ssatu. Ku abo, enkumi bbiri baabeeranga naye e Mikumasi ne mu nsi ey'ensozi ey'e Beteli, olukumi ne babeeranga ne Yonataani e Gibeya mu kitundu kya Benyamiini. Abantu abalala bonna n'abasiibula buli omu okuddayo mu maka ge.
3
Yonataani n'awangula enkambi y'Abafilistiya e Geba, Abafilistiya ne bakiwulira. Awo Sawulo n'afuuwa ekkondeere okubuna eggwanga lyonna, ng'agamba nti: “Abeebureeyi bawulire!”
4
Abayisirayeli bonna ne bawulira nti Sawulo awangudde enkambi y'Abafilistiya era nti Abafilistiya beetamiddwa Abayisirayeli. Awo abantu ne bayitibwa beegatte ku Sawulo e Gilugaali.
5
Awo Abafilistiya ne bakuŋŋaana okulwanyisa Abayisirayeli. Baalina amagaali emitwalo esatu, abasajja kakaaga abeebagadde embalaasi, n'abantu abaali abangi ng'omusenyu ogw'oku lubalama lw'ennyanja. Ne bagenda ne basiisira e Mikumasi ku ludda olw'ebugwanjuba bwa Betaveni.
6
Abayisirayeli bwe baalaba nga bali mu kabi, era ng'eggye lyabwe lifumbiikiriziddwa, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka, ne mu mpampagama z'enjazi ne mu bunnya.
7
Abamu ku Beebureeyi ne basomoka omugga Yorudaani ne bayingira mu nsi ya Gaadi n'eya Gileyaadi. Sawulo yali akyali Gilugaali. Abantu bonna ne bamugoberera nga bakankana.
8
N'amala ennaku musanvu ng'alinda Samweli, nga Samweli bwe yali amulagidde. Kyokka Samweli yali tannajja Gilugaali. Abantu ne batandika okusaasaana nga bava ku Sawulo.
9
Sawulo n'agamba nti: “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'okutabagana.” N'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa.
10
Yali kyajje amale okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samweli n'atuuka. Awo Sawulo n'avaayo okumusisinkana n'okumulamusa.
11
Samweli n'agamba nti: “Okoze ki?” Sawulo n'addamu nti: “Nalabye ng'abantu basaasaana nga banvaako, ate nga naawe tojjidde mu nnaku ze wagamba, n'Abafilistiya nga bakuŋŋaanidde e Mikumasi;
12
ne ŋŋamba nti Abafilistiya bagenda kuserengeta bannumbe wano e Gilugaali, ate nga sinnaba kwegayirira Mukama kunkwatirwa kisa. Kyennavudde nneewaliriza ne mpaayo ekiweebwayo ekyokebwa.”
13
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Okoze kya busirusiru. Tokutte kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakuwa. Singa okikutte, Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo ku Yisirayeli ennaku zonna.
14
Naye kaakano obwakabaka bwo tebuube bwa nsikirano. Mukama yeenoonyerezzaayo omuntu gw'asiimye, era oyo gw'alonze okukulembera abantu be, kubanga ggwe tokutte kye yakulagira.”
15
Awo Samweli n'asituka n'ava e Gilugaali n'ayambuka e Gibeya ekya Benyamiini. Sawulo n'abala abantu abaali awamu naye, abasajja nga lukaaga.
16
Sawulo ne mutabani we Yonataani, n'abantu abaali awamu nabo, ne basigala e Geba ekya Benyamiini, naye Abafilistiya ne basiisira e Mikumasi.
17
Abaagenda okunyaga ne bafuluma mu lusiisira lw'Abafilistiya nga bali mu bibinja bisatu. Ekibinja ekimu ne kikwata ekkubo erigenda mu Ofura, mu nsi ya Suwali.
18
Ekibinja ekirala ne kikwata erigenda e Beti Horoni ate ekibinja ekirala ne kikwata ekkubo erigenda ku nsalo okwolekera ekiwonvu kya Zeboyiimu, ku ludda olw'eddungu.
19
Mu nsi ya Yisirayeli yonna temwalimu muweesi, kubanga Abafilistiya baali baweze Abeebureeyi okweweesa ebitala n'amafumu.
20
Abayisirayeli bonna baagendanga mu Bafilistiya okuwagala enkumbi zaabwe, n'ebiwabyo byabwe, n'embazzi zaabwe, n'ebifumu byabwe.
21
Ne babawoozangako ssente bbiri okuwagala enkumbi n'ebiwabyo, ate ne babaggyangako ssente emu okuwagala embazzi, n'okuddaabiriza emiwunda.
22
Kale ku lunaku olw'olutalo, tewaali muntu n'omu ku abo abaali ne Sawulo ne Yonataani, eyalina ekitala, wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonataani.
23
Abafilistiya abaali mu nkambi ne bagenda okukuuma awayingirirwa okulaga e Mikumasi.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31