bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 30
1 Samuel 30
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
1
Awo Dawudi ne basajja be ne batuuka e Zikulagi ku lunaku olwokusatu, ne basanga ng'Abamaleki balumbye ekitundu eky'ebukiikaddyo obwa Buyudaaya n'ekibuga Zikulagi, era nga bamaze okuwangula Zikulagi, n'okukyokya omuliro,
2
era nga banyaze abakazi, ne bonna abaakirimu abato n'abakulu. Tebatta muntu n'omu, baabatwala butwazi, ne bagenda.
3
Awo Dawudi ne basajja be bwe baatuuka mu kibuga, ne basanga nga kyokeddwa omuliro, ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga banyagiddwa.
4
Awo Dawudi n'abo abaali naye ne batema emiranga ne bakaaba amaziga, okutuusa lwe baggwaamu endasi ezikaaba.
5
Ne bakazi ba Dawudi bombi: Ahinowamu ow'e Yezireeli, ne Abigayili nnamwandu wa Nabali ow'e Karumeeli, baali banyagiddwa.
6
Dawudi n'anakuwala nnyo, kubanga abantu baagamba okumukuba amayinja. Abantu bonna omwoyo gwabaluma, nga balumirwa batabani baabwe ne bawala baabwe. Naye Dawudi n'afuna amaanyi mu kwesiga Mukama Katonda we.
7
Dawudi n'agamba Abiyataari kabona mutabani wa Ahimeleki nti: “Nkwegayiridde ndeetera wano efodi.” Abiyataari n'aleeta efodi eri Dawudi.
8
Dawudi n'abuuza Mukama nti: “Mpondere abanyazi abo? Nnaabakwata?” Mukama n'amuddamu nti: “Bawondere. Ddala ojja kubakwata era onunule abawambe.”
9
Awo Dawudi n'abasajja olukaaga abaali naye ne bagenda. Bwe baatuuka ku kagga Besori, abamu ku bo ne basigala awo.
10
Dawudi ne yeeyongerayo n'abasajja ebikumi bina, kubanga ebikumi ebibiri baali bakooye nnyo, nga tebasobola kusomoka kagga, ne basigala awo.
11
Abasajja abaali ne Dawudi ne basanga Omumisiri mu ttale, ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bawa Omumisiri oyo emmere n'alya, era ne bamuwa amazzi n'anywa.
12
Ne bamuwa n'ekitole ky'ettiini, n'ebirimba by'emizabbibu ebikalu bibiri. Bwe yamala okulya, n'afuna amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu nga talya, era nga tanywa, emisana n'ekiro.
13
Dawudi n'amubuuza nti: “Mukama wo ye ani, era ova wa?” N'addamu nti: “Nze ndi mulenzi Mumisiri, omuddu w'Omwamaleki. Mukama wange yansuula ennaku ssatu eziyise, kubanga mbadde mulwadde.
14
Twabadde tulumbye ekitundu eky'ebukiikaddyo eky'Abakereti, n'ekitundu kya Buyudaaya, n'ekitundu eky'ebukiikaddyo ekya Kalebu, era ne twokya Zikulagi omuliro.”
15
Dawudi n'amugamba nti: “Oyinza okuntwala n'ontuusa ku banyazi abo?” Oli n'addamu nti: “Ndayirira Katonda nti togenda kunzita, wadde okumpaayo eri mukama wange, olwo nja kukutwala nkutuuse ku banyazi abo.”
16
Bwe yamutuusaayo, ne basanga nga basaasaanye wonna, nga balya, banywa era nga bajaguza olw'omunyago omunene gwe baali bafunye okuva mu Filistiya ne mu Buyudaaya.
17
Awo nga buwungeera, Dawudi n'abalumba, n'abalwanyisa okutuusa akawungeezi ak'olunaku olwaddirira. Era ku bo ne watabaawo n'omu awonawo, okuggyako abavubuka ebikumi bina, abeebagala eŋŋamiya ne badduka.
18
Dawudi n'akomyawo ebintu byonna, n'abantu bonna Abamaleki be baali banyaze, n'akomyawo bakazi be bombi.
19
Tewali kintu kyabwe na kimu kyabula, ka kibe kitono oba ekinene, ka babe baana ab'obulenzi oba ab'obuwala, ka gube munyago oba ekintu kyonna Abamaleki kye beenyagira. Dawudi n'akomyawo byonna.
20
Dawudi n'atwala amagana g'endiga n'ente gonna, ne bazigoba okukulemberamu ensolo ezo endala, nga bagamba nti: “Guno gwe munyago gwa Dawudi.”
21
Awo Dawudi n'agenda eri abasajja ebikumi ebibiri, abaali bakooye ennyo ne batayinza kugenda naye era abaasigala ku kagga Besori. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n'abantu abaali naye. Dawudi bwe yabatuukako, n'abalamusa.
22
Awo abasajja bonna ababi era abatalina mugaso, mu abo abaali bagenze ne Dawudi ne bagamba nti: “Nga bwe bataagenda wamu naffe, tetujja kubawa ku munyago gwe tuleese, wabula batwale bakazi baabwe n'abaana baabwe bagende.”
23
Naye Dawudi n'agamba nti: “Baganda bange, temujja kukola bwe mutyo, ku ebyo Mukama by'atuwadde! Atukuumye n'atuwa okuwangula abanyazi abaatulumba.
24
Era tewali ajja kuwuliriza bye mugamba. Eyasigala ng'akuuma ebintu, n'oyo eyagenda ku lutalo, bateekwa okufuna omugabo gwe gumu, bajja kugabana kyenkanyi.”
25
Okuva ku lunaku olwo, eryo Dawudi n'alifuula tteeka era mpisa mu Yisirayeli n'okutuusa kati.
26
Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza mikwano gye, abakulembeze ba Buyudaaya, ku munyago ng'agamba nti: “Kino ekirabo kye mbaweerezza, kivudde ku munyago gwe twaggya ku balabe ba Mukama.”
27
N'akiweereza ab'e Beteli, n'ab'e Ramoti eky'omu bukiikaddyo, n'ab'e Yattiri,
28
n'ab'e Aloweri, n'ab'e Sifumoti, n'ab'e Esitemowa,
29
n'ab'e Rakali, n'ab'omu bibuga by'Abayerameeli n'ab'omu bibuga by'Abakeeni
30
n'ab'e Horuma, n'ab'e Horasani, n'ab'e Ataki
31
n'ab'e Heburooni, ne mu bifo byonna Dawudi ne basajja be bye baatambulatambulangamu.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31