bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 18
1 Samuel 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 19 →
1
Awo olwatuuka, Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, omutima gwa Yonataani ne gwegattira ddala n'ogwa Dawudi, Yonataani, n'amwagala nga bwe yeeyagala yennyini.
2
Sawulo n'abeera ne Dawudi okuva ku olwo, era n'atamukkiriza kuddayo mu maka ga kitaawe.
3
Awo Yonataani n'atta omukago ne Dawudi, kubanga yamwagala nga bwe yeeyagala yennyini.
4
Yonataani ne yeeyambulamu omunagiro gwe, gwe yali ayambadde, n'aguwa Dawudi, n'amuwa n'ekyambalo kye eky'entalo, n'ekitala, n'omutego ogw'obusaale, era n'olukoba lwe.
5
Dawudi n'agendanga yonna Sawulo gye yamutumanga, n'akolanga na magezi, Sawulo n'amufuula omukulu w'abaserikale. Kino ne kisanyusa nnyo abaweereza ba Sawulo, n'abantu bonna.
6
Awo abaserikale bwe baali nga badda eka, nga Dawudi akomawo ng'amaze okutta Omufilistiya, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Yisirayeli okusisinkana Kabaka Sawulo. Baali bayimba ennyimba ez'essanyu, nga bazina era nga bakuba ensaasi n'ennanga ez'enkoba essatu.
7
Mu kusanyuka okungi bwe kutyo, abakazi ne bayimba nti: “Sawulo yatta nkumi, sso Dawudi mitwalo.”
8
Ebigambo ebyo ne binyiiza Sawulo, n'asunguwala nnyo. N'agamba nti: “Dawudi bamubalidde mitwalo, naye nze nkumi zokka! Kale ekinaddirira si kumufuula kabaka?”
9
Okuviira ddala ku lunaku olwo, Sawulo ne yeekengera Dawudi.
10
Ku lunaku olwaddirira, omwoyo omubi ogwasindikibwa Katonda, ne gufubutukira ku Sawulo, n'alogojjanira mu nnyumba ye. Dawudi n'akuba ennanga nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yali akutte effumu.
11
Sawulo n'agamba nti: “Ka nfumite Dawudi, nkwase n'ekisenge!” N'akasuukirira Dawudi effumu emirundi ebiri. Kyokka buli mulundi, Dawudi ne yeewoma.
12
Sawulo n'atya Dawudi, kubanga Mukama yali naye, kyokka Mukama ng'avudde ku Sawulo.
13
Sawulo kyeyava yeggyako Dawudi, n'amufuula omukulu w'abaserikale lukumi, Dawudi n'abakulemberanga mu ntalo.
14
Byonna Dawudi bye yakolanga, n'abikolanga na magezi, era Mukama n'abanga wamu naye.
15
Sawulo bwe yalaba nga Dawudi byonna by'akola, abikola na magezi mangi nnyo, ne yeeyongera okumutya.
16
Naye abantu bonna mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, ne baagala Dawudi, kubanga yali mukulembeze mulungi.
17
Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Muwala wange ono omukulu Merabu, nja kumukuwa omuwase, wabula njagala obeerenga muzira, olwanenga entalo za Mukama.” Sawulo yakola ekyo ng'agamba mu mutima gwe nti: “Nze ka nneme kumutta, naye Abafilistiya be baba bamutta.”
18
Dawudi n'addamu nti: “Nze ani, wadde obulamu bwange, oba ennyumba ya kitange mu Yisirayeli, nze okuwasa muwala wa kabaka?”
19
Naye ekiseera bwe kyatuuka Merabu muwala wa Sawulo okuweebwa Dawudi, ate omuwala oyo n'aweebwa Adriyeepi ow'e Mehola okuba mukazi we.
20
Naye ate Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala Dawudi. Ne babuulira Sawulo, ekigambo ekyo n'akisiima.
21
Sawulo n'agamba nti: “Ka mmumuwe mmweyambise ng'omutego, Abafilistiya bamulwanyise.” Bw'atyo Sawulo n'agamba Dawudi omulundi ogwokubiri nti: “Ojja kuwasa muwala wange.”
22
Awo Sawulo n'alagira abaweereza be nti: “Mwogere ne Dawudi mu kyama mumugambe nti: ‘Kabaka akusiima, n'abaweereza be bonna bakwagala. Kale kaakano ekiseera kituuse owase muwala wa kabaka.’ ”
23
Awo abaweereza ba Sawulo ne bagamba Dawudi ebigambo ebyo. Dawudi n'ababuuza nti: “Mukiyita kintu kitono okuwasa muwala wa kabaka, naddala ku muntu nga nze omwavu era anyoomebwa?”
24
Abaweereza abo ne bategeeza Sawulo ebyo Dawudi by'agambye.
25
Sawulo n'agamba nti: “Mugambe Dawudi nti: ‘Kabaka tayagala bintu bya buko, wabula ensusu kikumi ezikomoleddwa ku Bafilistiya, olw'okuwoolera eggwanga ku balabe be abo.’ ” Sawulo yalowooza ng'Abafilistiya bajja kutta Dawudi.
26
Awo abaweereza ba Sawulo bwe baabuulira Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n'asiima nnyo eky'okuwasa muwala wa kabaka. Ennaku bwe zaali nga tezinnayitawo,
27
Dawudi n'asituka n'agenda ne basajja be, n'atta Abafilistiya ebikumi bibiri. Dawudi n'atwala ensusu ze yabakomolako n'aziwaayo zonna eri kabaka, n'azimubalira, alyoke awase muwala we. Awo Sawulo n'amuwa Mikali muwala we okumufumbirwa.
28
Sawulo n'alaba era n'ategeera nga Mukama yali wamu ne Dawudi, era nga Mikali muwala we, yali ayagala Dawudi.
29
Awo Sawulo ne yeeyongera okutya Dawudi, era n'aba mulabe wa Dawudi obulamu bwe bwonna.
30
Abafuzi b'Abafilistiya baalumbanga, naye buli lwe baalumbanga, nga Dawudi akola bulungi okusinga abaweereza ba Sawulo abalala bonna, erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31