bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 14
1 Samuel 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
1
Awo lwali lumu, Yonataani mutabani wa Sawulo n'agamba omuvubuka eyamukwatiranga ebyokulwanyisa bye nti: “Jjangu tusomoke tugende mu nkambi y'Abafilistiya.” Naye n'atabuulira kitaawe.
2
Sawulo yali ku njegoyego za Gibeya, wansi w'omuti omukomamawanga oguli e Migironi. Abantu abaali naye baali nga lukaaga,
3
wamu ne Ahiya, mutabani wa Ahituubu, muganda wa Yikabodi, mutabani wa Finehaasi, Finehaasi mutabani wa Eli, kabona wa Mukama e Siilo. Ahiya oyo yali ayambadde ekyambalo ekiyitibwa efodi. Abantu tebaamanya nga Yonataani agenze.
4
Wakati awo awayingirirwa, Yonataani we yalina okuyita okutuuka ku nkambi y'Abafilistiya, waaliwo enjazi ku buli ludda ezaalimu empampagama. Olwazi olumu nga luyitibwa Bozezi, n'olulala nga luyitibwa Sene.
5
Olwazi olumu lwali ku ludda olw'ebukiikakkono, okwolekera Mikumasi, ate olulala nga luli ku ludda olw'ebukiikaddyo, okwolekera Geba.
6
Yonataani n'agamba omuvubuka eyamukwatiranga ebyokulwanyisa bye nti: “Jjangu tusomoke tugende mu nkambi eya bano abatali bakomole, oboolyawo Mukama anaatukolera omulimu, kubanga tewali kiziyiza Mukama kununula ng'akozesa abangi, oba abatono.”
7
Eyamukwatiranga ebyokulwanyisa bye n'amugamba nti: “Kola ekikuli ku mutima. Genda mu maaso, nze ndi wamu naawe.”
8
Yonataani n'addamu nti: “Kale, tunaasomoka ne tugenda eri abasajja, ne tweraga gye bali.
9
Bwe banaatugamba nti: ‘Mubeere eyo, okutuusa lwe tunajja gye muli,’ olwo tunaasigala nga tuyimiridde we tuli, ne tutagenda gye bali.
10
Naye bwe banaagamba nti: ‘Mujje gye tuli,’ olwo tunaagenda, kubanga ako ke kanaabeera akabonero akatulaga nti Mukama abagabudde mu mikono gyaffe.”
11
Awo bombi ne beeraga eri enkambi y'Abafilistiya. Abafilistiya ne bagamba nti: “Laba Abeebureeyi bava mu binnya mwe babadde beekwese!”
12
Abasajja ab'omu nkambi ne bakoowoola Yonataani n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Mujje tubalage enkola.” Yonataani n'agamba omukwasi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Jjangu ongoberere, kubanga Mukama abagabudde mu mikono gya Yisirayeli.”
13
Awo Yonataani n'alinnyalinnya ng'ayavula, n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye ng'amugoberera. Yonataani n'agenda ng'abasanjaga, n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye naye n'abatta, ng'amuvaako emabega.
14
Mu lutta olwo olwasooka, Yonataani n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye ne batta abasajja ng'amakumi abiri, mu kibangirizi nga kya kimu kyakubiri ekya yiika.
15
Abafilistiya abaali mu lusiisira n'abaali mu nnimiro, n'abalala bonna, ne bakankana olw'okutya. Abaali mu nkambi era n'abo abaagenda okunyaga, ne batekemuka olw'okutya. Ensi n'ekankana, ne wabaawo entiisa ey'amaanyi, eyaleetebwa Katonda.
16
Awo abakuumi ba Sawulo abaali e Gibeya ekya Benyamiini, bwe baakubayo amaaso ne balaba ekibinja eky'Abafilistiya nga kibuna emiwabo.
17
Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti: “Mubale abantu, mulabe ataliiwo.” Bwe baabala, ne basanga nga Yonataani n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye tebaliiwo.
18
Sawulo n'agamba Ahiya nti: “Leeta wano Essanduuko ya Katonda.” Ku lunaku olwo, Essanduuko ya Katonda, Abayisirayeli baali bagenze nayo.
19
Awo olwatuuka Sawulo bwe yali ng'ayogera ne kabona, oluyoogaano olwali mu lusiisira lw'Abafilistiya ne lweyongera. Sawulo n'agamba kabona nti: “Ggyayo omukono gwo.”
20
Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana ne bagenda awalwanirwa olutalo, ne basanga ng'abantu battiŋŋana olw'okutabukatabuka ennyo okwaliwo.
21
Abeebureeyi abaali ku ludda lw'Abafilistiya, okutuusa mu kaseera ako, abaali bagenze ne basiisira nabo mu lusiisira lwabwe, nabo ne bakyuka, ne beegatta ku Bayisirayeli abaali ne Sawulo ne Yonataani.
22
Era bwe batyo n'abasajja bonna Abayisirayeli abaali beekwese mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu, bwe baawulira nti Abafilistiya badduse, nabo ne babawondera mu lutalo.
23
Olutalo ne lutuukira ddala e Betaveni. Mukama n'awonya Yisirayeli ku lunaku olwo.
24
Abasajja Abayisirayeli baabonaabona ku lunaku olwo, kubanga Sawulo yalayiza abantu ng'agamba nti: “Omuntu yenna anaabaako k'alya nga tebunnawungeera era nga sinnamala kuwoolera ggwanga ku balabe bange, akolimirwe.” Kale ne wataba n'omu yakomba ku kaakulya.
25
Abantu bonna ne batuuka mu kibira ne basangamu omubisi gw'enjuki nga guli buli wantu.
26
Baalaba omubisi gw'enjuki nga gutonnya, naye ne wataba n'omu agunnyikamu lugalo kugukombako kubanga abantu baatya ekirayiro.
27
Kyokka Yonataani yali tawulidde nga kitaawe alayiza abantu. Awo n'agolola omusa gw'omuggo gwe yali akutte, n'agunnyika mu bisenge by'ebisasala by'enjuki, n'aguggyisaako engalo ze, n'akomba, n'addamu amaanyi.
28
Awo omu ku bantu n'agamba nti: “Kitaawo yakuutira abantu n'abalayiza ng'agamba nti: ‘Omuntu anaabaako k'alya olwaleero akolimirwe, abantu kyebavudde baggwaamu amaanyi.’ ”
29
Yonataani n'agamba nti: “Kitange abonyaabonyezza abantu. Kale nze nzizeemu amaanyi kubanga ndezeeko katono ku mubisi gw'enjuki guno!
30
Tekyandisinzeeko obulungi, singa olwaleero abantu baalidde ne bakkuta ku munyago gw'abalabe baabwe gwe baasanze, era tebandisse Abafilistiya bangi okusingawo?”
31
Ku lunaku olwo batta Abafilistiya, okuva e Mikumasi okutuuka mu Ayiyalooni. Mu kiseera ekyo Abayisirayeli baali baweddemu nnyo amaanyi.
32
Ne bagwa ku munyago ne bakwata endiga n'ente ennume n'ennyana, ne bazittira awo, abantu ne balya ennyama ng'erimu omusaayi.
33
Ne babuulira Sawulo nti: “Abantu baabano banyiizizza Mukama, nga balya ennyama erimu omusaayi.” Sawulo n'agamba nti: “Muli ba nkwe! Munjiringisize olwaleero, ejjinja eddene.”
34
N'agamba nti: “Mugende mu bantu mubagambe nti: ‘Mundeetere wano buli muntu ente ye, na buli muntu endiga ye, muzittire wano mulye. Muleme kunyiiza Mukama, nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Ekiro abantu bonna ne baleeta, buli omu ente ye, ne bazittira awo.
35
Sawulo n'azimbira Mukama alutaari. Eyo ye alutaari embereberye Sawulo gye yazimbira Mukama.
36
Sawulo n'agamba nti: “Tuserengete tulumbe Abafilistiya ekiro, tubanyage ebintu okutuusa emmambya lw'eneesala era tubatte bonna obutalekaawo n'omu.” Ne baddamu nti: “Kola buli ky'osiima.” Naye kabona n'agamba nti: “Tusemberere Katonda tumwebuuzeeko.”
37
Awo Sawulo ne yeebuuza ku Katonda nti: “Nserengete nnumbe Abafilistiya, onoobagabula mu mikono gy'Abayisirayeli?” Naye Katonda n'atamuddamu ku lunaku olwo.
38
Awo Sawulo n'agamba nti: “Musembere wano mmwe mwenna abakulembeze b'abantu mumanye era mulabe ekibi nga bwe kikoleddwa olwaleero.
39
Ndayira Mukama omulamu alokola Yisirayeli nti: ne bwe kiba nga kyakoleddwa mutabani wange Yonataani, ajja kufa.” Naye ne watabaawo n'omu mu bantu bonna amuddamu.
40
Sawulo n'agamba Abayisirayeli bonna nti: “Mmwe mubeere ku ludda lumu, ate nze ne Yonataani mutabani wange tubeere ku ludda olulala.” Ne bamuddamu nti: “Kola kyonna ky'osiima.”
41
Sawulo n'agamba Mukama Katonda wa Yisirayeli nti: “Salawo ekituufu.” Awo akalulu ne kakwata Yonataani ne Sawulo, abantu ne bawona.
42
Sawulo n'agamba nti: “Mukubire nze ne Yonataani mutabani wange akalulu.” Akalulu ne kakwata Yonataani.
43
Awo Sawulo n'agamba Yonataani nti: “Mbuulira kye wakoze.” Yonataani n'amubuulira, n'agamba nti: “Naleze ku mubisi gw'enjuki nga ntooza omusa gw'omuggo gwe nabadde nkutte. Kale nzuuno, ka nfe!”
44
Sawulo n'agamba nti: “Katonda ambonereze n'obukambwe singa tottibwa, Yonataani!”
45
Awo abantu ne bagamba Sawulo nti: “Ddala Yonataani awangulidde Yisirayeli olutalo luno olw'amaanyi anaafa? Kikafuuwe! Nga Mukama bw'ali omulamu, tewaabe wadde oluviiri olumu bwe luti olunaava ku mutwe gwe, kubanga akoledde wamu ne Katonda leero.” Bwe batyo abantu ne bawonya Yonataani, n'atafa.
46
Sawulo n'alekera awo okuwondera Abafilistiya, Abafilistiya ne baddayo ewaabwe.
47
Sawulo bwe yamala okufuuka kabaka wa Yisirayeli n'alwanyisa abalabe be bonna ku buli ludda; n'alwanyisa ab'e Mowaabu, n'Abammoni n'Abeedomu, ne bakabaka ba Zoba, n'Abafilistiya. Buli gye yalaganga, ng'abayisa bubi.
48
N'alwana n'obuzira, n'awangula Abamaleki. N'awonya Yisirayeli abo abaaginyaganga.
49
Batabani ba Sawulo baali Yonataani ne Yisuvi ne Malukisuwa. Amannya ga bawala be ababiri ge gano: omuggulanda erinnya lye Merabu, n'omuto erinnya lye Mikali.
50
Muka Sawulo nga ye Ayinowamu, muwala wa Ayimaazi. Omuduumizi w'eggye yali Abuneeri, mutabani wa Neeri, kitaawe omuto owa Sawulo.
51
Kiisi, kitaawe wa Sawulo, ne Neri kitaawe wa Abuneeri, baali batabani ba Abiyeeli.
52
Sawulo mu bulamu bwe bwonna yalwanyisa nnyo Abafilistiya. Bwe yasanganga omusajja ow'amaanyi oba omuzira, ng'amuyingiza mu ggye lye.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31