bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 6
1 Samuel 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 7 →
1
Essanduuko ya Mukama yamala emyezi musanvu ng'eri mu nsi eya Bafilistiya.
2
Awo Abafilistiya ne bayita bakabona n'abalaguzi ne bababuuza nti: “Tukole tutya Essanduuko ya Mukama? Mututegeeze kye tunaagiweererezaako, bwe tunaaba tugiweerezaayo gy'ebeera.”
3
Ne babaddamu nti: “Bwe munaaba muweerezaayo Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli, temujja kugiweerezaayo yokka. Mujja kumuweererezaako ekiweebwayo olw'omusango, lwe munaawona, era ne mutegeera ensonga Mukama kw'abadde asinziira okubabonereza.”
4
Abafilistiya ne babuuza nti: “Ekiweebwayo olw'omusango kye tunaamuweereza, kinaaba kiki?” Ne baddamu nti: “Ebibumbe ebya zaabu bitaano ebibumbiddwa ng'ebizimba, n'ebibumbe ebya zaabu ebirala bitaano ebibumbiddwa ng'emmese, ng'omuwendo gwa buli kika kya bibumbe gwenkana n'omuwendo gw'abaami b'Abafilistiya, kubanga ekibonerezo kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe.
5
Mukole ebibumbe ebifaanana ebizimba byammwe, n'ebifaanana emmese ezaayonoona ensi yammwe. Era muwe Katonda wa Yisirayeli ekitiibwa, osanga alibaddiramu mmwe ne balubaale bammwe era n'ensi yammwe.
6
Kale mukakanyaliza ki emitima gyammwe ng'Abamisiri ne kabaka waabwe bwe baakakanyaza emitima gyabwe? Bwe yamala okubabonereza, tebaaleka abantu bagende, era ne bagenda?
7
Kale kaakano muddire ekigaali ekipya, mukiteeketeeke, mukisibeko ente bbiri ezikamibwa, ezitasibwangako kikoligo. Ennyana zaazo muziziggyeeko, muzizzeeyo eka.
8
Muddire Essanduuko ya Mukama mugiteeke ku kigaali ekyo. Ebibumbe ebya zaabu bye muweereza, nga bye biweebwayo olw'omusango, mubiteeke mu ssanduuko endala, mugiriraanye Ssanduuko ya Mukama. Awo mugisindike egende.
9
Mutunule, bw'eneeyambukira mu kkubo eriraga e Betisemesi mu nsi yaayo, olwo kinaategeerekeka nti Katonda w'Abayisirayeli ye yatubonereza. Naye bwe kitaabe bwe kityo, nga tutegeera nti ebibonerezo ebyatutuukako, byatugwira bugwizi.”
10
Abasajja ne bakola bwe batyo. Ne baddira ente bbiri ezikamibwa ne bazisiba ku kigaali, ennyana zaazo ne baziggalira eka.
11
Ne bateeka Ssanduuko ya Mukama ku kigaali, n'essanduuko erimu ebibumbe ebya zaabu ebifaanana ebizimba, n'ebifaanana emmese.
12
Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu erigenda e Betisemesi ne zitambula mu kkubo nga zigenda ziŋooŋa, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. Abaami b'Abafilistiya ne bazigoberera, okutuuka ku nsalo ey'e Betisemesi.
13
Awo ab'e Betisemesi baali mu kiwonvu, nga bakungula eŋŋaano yaabwe. Bwe babbulula amaaso, ne balaba Essanduuko y'Endagaano, ne basanyuka okugiraba.
14
Ekigaali ne kijja mu musiri gwa Yoswa ow'e Betisemesi, ne kiyimirira awali ejjinja eddene. Abantu ne baasa emiti gy'ekigaali, ne bawaayo ente ezo, ne ziba ekitambiro ekyokebwa eri Mukama.
15
Abaleevi ne basitula Essanduuko ya Mukama, n'essanduuko eyali nayo, omwali ebibumbe ebya zaabu, ne baziteeka ku jjinja eryo eddene. Awo Ababetisemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne batambira n'ebitambiro ebirala eri Mukama ku lunaku olwo.
16
Abaami b'Abafilistiya abataano, bwe baakiraba, ne baddayo mu Ekurooni ku lunaku olwo.
17
Bino bye bibumbe ebya zaabu, ebyakolebwa ng'ebizimba, Abafilistiya bye baaweereza Mukama okuba ebiweebwayo olw'omusango: ekimu olwa Asudoodi, ekimu olwa Gaaza, n'ekimu olwa Asukelooni, ekirala olwa Gaati n'ekirala olwa Ekurooni.
18
Era ne baweereza n'ebibumbe ebya zaabu, ebyakolebwa ng'emmese, ebyenkana obungi bw'ebibuga byonna ebyafugibwanga abaami b'Abafilistiya abataano, ebyali byetooloddwa ebigo, n'ebyalo ebitaaliko bigo. Ejjinja eddene kwe baateeka Ssanduuko ya Mukama mu nnimiro ya Yoswa ow'e Betisemesi, likyaliwo ne leero okukakasa ebyo ebyaliwo.
19
Awo Mukama n'atta ab'e Betisemesi nsavu, kubanga baatunula munda w'Essanduuko ye. Abantu ne banakuwala kubanga Mukama yabattamu abantu bangi nnyo.
20
Awo ab'e Betisemesi ne bagamba nti: “Ani asobola okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono Omutuukirivu? Era anaagenda w'ani ng'atuvuddeko?”
21
Ne batumira ab'e Kiriyati Yeyariimu ababaka babagambe nti: “Abafilistiya bakomezzaawo Ssanduuko ya Mukama. Mujje mmwe mugiddukire.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31