bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 17
1 Samuel 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 18 →
1
Awo Abafilistiya ne bakuŋŋaanya amagye gaabwe okulwana, ne bakuŋŋaanira e Soko eky'omu Buyudaaya. Ne basiisira mu Efesidammimu wakati wa Soko ne Azeka.
2
Sawulo n'abaserikale be Abayisirayeli ne bakuŋŋaana, era ne basiisira mu kiwonvu ky'e Ela, ne beeteekateeka okulwanyisa Abafilistiya.
3
Abafilistiya ne bayimirira ku kasozi akamu, n'Abayisirayeli ne bayimirira ku kasozi akalala, nga wakati waabwe waliwo ekiwonvu.
4
Mu lusiisira lw'Abafilistiya n'evaayo omusajja omuzira erinnya lye Goliyaati ow'omu kibuga Gaati, ng'obuwanvu bwe aweza kumpi mita ssatu.
5
Yali atikkidde ku mutwe gwe enkuufiira ey'ekikomo, era ng'ayambadde ekizibaawo eky'ekikomo, nga kiweza obuzito bwa kilo ng'amakumi ataano mu musanvu.
6
Era yali ayambadde eby'ekikomo ku magulu ge, ng'alina n'effumu ery'ekikomo ku kibegabega kye.
7
Olunyago lwalyo, ng'obunene lwenkana omuti okulukirwa engoye, ate nga lyo lyennyini, liweza obuzito bwa kilo nga musanvu. Era yalina omukwasi w'engabo ye. Oyo ye yamukulemberangamu.
8
Awo Goliyaati n'ayimirira n'aleekaana ng'agamba ab'eggye lya Yisirayeli nti: “Lwaki mweteekateeka okulwana? Nze ndi Mufilistiya, mmwe muli baweereza ba Sawulo. Mwerondemu omusajja aserengete gye ndi.
9
Bw'anaayinza okunnwanyisa n'anzita, olwo tunaabeera baddu bammwe; naye bwe nnaamuwangula ne mmutta, olwo mmwe munaabeera abaddu baffe okutuweerezanga.”
10
Omufilistiya oyo n'agamba nti: “Nsoomozezza eggye lya Yisirayeli olwaleero. Mumpe omusajja, tulwane ffembi.”
11
Awo Sawulo n'Abayisirayeli bonna bwe baawulira ebigambo ebyo eby'Omufilistiya, ne baggwaamu amaanyi, ne batya nnyo.
12
Dawudi yali mutabani wa Yesse Omwefuraati ow'e Betilehemu eky'omu Buyudaaya, eyalina batabani be munaana. Ku mulembe gwa Sawulo, Yesse oyo yali abalirwa mu bakadde.
13
Batabani be abasatu abasinga obukulu, amannya gaabwe: Eliyaabu omuggulanda, n'amuddako Abinadabu, n'owookusatu Samma, baali bagenze ne Sawulo mu lutalo.
14
Dawudi ye yali asembayo obuto. Bakulu be abo abasatu, be baagoberera Sawulo.
15
Naye Dawudi yagendanga eri Sawulo, ate n'akomawo e Betilehemu okulunda endiga za kitaawe.
16
Enkya n'akawungeezi Omufilistiya yavangayo ne yeeraga, okumala ennaku amakumi ana.
17
Awo Yesse n'agamba Dawudi mutabani we nti: “Yanguwa otwalire baganda bo mu lusiisira, kilo zino ekkumi ez'eŋŋaano ensiike, n'emigaati gino ekkumi.
18
N'omuduumizi omutwalire ebitole bino ekkumi eby'omuzigo omukwafu. Olabe baganda bo bwe bali, era obaggyeko n'ekintu ky'onooleeta okunkakasa nti obalabye.
19
Sawulo ne baganda bo, n'Abayisirayeli bonna, bali mu lutalo mu kiwonvu ky'e Ela balwanyisa Abafilistiya.”
20
Enkeera, Dawudi n'agolokoka mu makya, endiga n'azirekera omuntu ow'okuzirabirira, n'atwala emmere, nga Yesse bwe yamulagira. N'atuuka mu lusiisira, era n'asanga eggye eryali lifuluma okugenda okulwana, nga baleekaana mu maloboozi ag'entalo.
21
Awo Abayisirayeli n'Abafilistiya ne beeteekateeka okulwanagana.
22
Dawudi ebintu bye n'abirekera omukuumi w'etterekero, n'adduka okutuuka mu ggye, n'agenda n'alamusa baganda be.
23
Bwe yali ng'ayogera nabo, omusajja oyo omuzira, Omufilistiya ow'e Gaati, erinnya lye Goliyaati, ne yeesowolayo mu ggye ly'Abafilistiya, n'ayogera nga bwe yali amanyidde okwogera. Dawudi n'abiwulira.
24
Awo abasajja bonna Abayisirayeli bwe baalaba omusajja, ne batya nnyo, ne bamudduka.
25
Abasajja Abayisirayeli ne bagamba nti: “Mulabye omusajja oyo eyeesowoddeyo? Ddala yeesowoddeyo kusoomooza Yisirayeli. Omuntu anaamutta, kabaka ajja kumuwa obugagga bungi era ajja kumuwa ne muwala we amuwase. N'ab'ennyumba ya kitaawe ajja kubafuula ba ddembe mu Yisirayeli”.
26
Awo Dawudi n'abuuza abasajja abaali bayimiridde okumpi naye nti: “Omuntu anatta Omufilistiya ono, n'aggya ekivume ku Yisirayeli, anaakolerwa ki? Ye Omufilistiya ono atali mukomole, ye ani, alyoke asoomooze eggye lya Katonda Nnannyinibulamu?”
27
Abantu ne bamuddamu mu bigambo biri, nga bagamba nti: “Omuntu anaamutta, ajja kuweebwa ebyo.”
28
Ne mukulu we Eliyaabu, n'amuwulira ng'ayogera n'abasajja. Eliyaabu n'asunguwalira Dawudi era n'amubuuza nti: “Ozze kukola ki wano? Era endiga ezo ento wazirekedde ani ku ttale? Mmanyi okwepanka kwo, ggwe kalikyejo! Ekikuleese si kirala, wabula okulaba olutalo!”
29
Dawudi n'agamba nti: “Kaakano nkoze ki? Kibi okubuuza?”
30
N'amuvaako n'akyukira omulala n'amubuuza ekibuuzo kye kimu kiri. Abantu era ne bamuddamu nga bwe baamuzzeemu olubereberye.
31
Abaawulira ebigambo Dawudi bye yayogera, ne babibuulira Sawulo, Sawulo n'amutumya.
32
Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Waleme kubaawo n'omu aggwaamu omwoyo olw'Omufilistiya oyo. Nze omuweereza wo, nja kugenda mmulwanyise.”
33
Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Toyinza kwolekera Mufilistiya oyo kumulwanyisa! Ggwe oli mulenzi bulenzi, ate ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe.”
34
Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Nze omuweereza wo, mbadde nnunda endiga za kitange, ng'empologoma oba eddubu bw'ejja n'enyaga omwana gw'endiga mu kisibo,
35
nga ŋŋenda ne ngiwondera, ne ngirwanyisa ne ngigusuuza. Era nga bw'esituka okunnwanyisa, ngikwata mu malaka, ne ngikuba ne ngitta.
36
Nze omuweereza wo nzise empologoma era n'eddubu. N'Omufilistiya oyo atali mukomole, ajja kuba ng'emu ku zo, kubanga asoomoozezza eggye lya Katonda Nnannyinibulamu.”
37
Dawudi n'agamba nti: “Mukama eyamponya amaala g'empologoma n'ag'eddubu, anamponya anzigye mu mikono gy'Omufilistiya oyo.” Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Kale genda, Mukama abeere naawe.”
38
Awo Sawulo n'ayambaza Dawudi ebyambalo ye yennyini by'ayambala, n'amutikkira enkuufiira ey'ekikomo, era n'amwambaza ekizibaawo eky'ekyuma.
39
Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku byambalo ebyo, n'agezaako okutambula, naye n'atasobola, kubanga yali tabimanyidde. N'agamba Sawulo nti: “Sisobola kugenda nga nnyambadde bino, kubanga sibimanyidde.” Dawudi n'abyeyambulamu.
40
N'akwata omuggo gwe, n'alonda mu kagga amayinja ataano ameekulungirivu, n'agateeka mu kasawo ke, mu nsawo ey'omusumba gye yalina, nga n'envuumuulo ye agikutte, n'asemberera Omufilistiya.
41
Omufilistiya n'ajja n'asemberera Dawudi ng'akulembeddwamu amukwatira engabo.
42
Omufilistiya bwe yatunula n'alaba Dawudi, n'amunyooma, kubanga kaali kalenzi kato, akamyufu era akalungi mu ndabika.
43
Omufilistiya n'abuuza Dawudi nti: “Ndi mbwa, olyoke ojje gyendi n'emiggo?” Omufilistiya n'akolimira Dawudi eri balubaale be.
44
Omufilistiya n'agamba Dawudi nti: “Jjangu gye ndi, omulambo gwo ngugabule ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebisolo eby'omu ttale.”
45
Dawudi n'agamba Omufilistiya nti: “Ojja gye ndi ng'olina ekitala, n'effumu, n'olunyago; naye nze nzija gy'oli mu linnya lya Mukama Nnannyinimagye, era Katonda w'eggye lya Yisirayeli, ly'osoomoozezza.
46
Olwaleero Mukama ajja kukuwaayo gye ndi nkukube wansi nkutemeko omutwe. Era olwaleero ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ebisolo eby'omu ttale nja kubigabula emirambo gy'ab'eggye ly'Abafilistiya, ensi yonna emanye nga mu Yisirayeli mulimu Katonda.
47
Era ekibiina kino kyonna kijja kutegeera nti Mukama abantu be tabanunuza kitala na ffumu, kubanga Mukama ye anaawangula olutalo, era ajja kubawaayo mmwe mu mikono gyaffe.”
48
Awo Omufilistiya bwe yajja okusemberera Dawudi okumulwanyisa, Dawudi n'adduka bunnambiro okwolekera eddwaniro okumusisinkana.
49
Dawudi n'akwata mu nsawo ye, n'aggyamu ejjinja, n'alivuumuula n'akuba Omufilistiya mu kyenyi, ejjinja ne limuyingira ekiwanga n'agwa nga yeevuunise.
50
Bw'atyo Dawudi n'awangula Omufilistiya n'amutta n'envuumuulo n'ejjinja, nga Dawudi talina kitala mu ngalo ze.
51
Awo Dawudi n'adduka, n'agenda ayimirira ku Mufilistiya, n'asowolayo ekitala ky'Omufilistiya mu kiraato kyakyo, n'amutemako omutwe, ng'amaze okumutta. Abafilistiya bwe baalaba ng'omuzira waabwe afudde, ne badduka.
52
Abasajja ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya ne basituka, ne baleekaana, ne bawondera Abafilistiya okutuuka mu kiwonvu, ne ku nzigi z'e Ekurooni. Abafilistiya abaafumitibwa ebiwundu mu lutalo olwo, ne bagwa mu kkubo eridda e Sarayiimu okutuuka e Gaati ne Ekurooni.
53
Abayisirayeli bwe baakomawo nga bava okuwondera Abafilistiya, ne banyaga ebintu mu lusiisira lw'Abafilistiya abo.
54
Awo Dawudi n'akwata omutwe gw'Omufilistiya n'agutwala e Yerusaalemu, kyokka ebyokulwanyisa by'Omufilistiya oyo n'abiteeka mu weema eyiye.
55
Sawulo bwe yalaba Dawudi nga yeesowoddeyo okulwanyisa Omufilistiya, n'abuuza Abuneeri omuduumizi w'eggye nti: “Abuneeri, omulenzi ono mutabani w'ani?” Abuneeri n'addamu nti: “Ndayira mu maaso go, ayi kabaka, simanyi.”
56
Kabaka n'agamba nti: “Buuliriza, omanye kitaawe w'omuvubaka oyo.”
57
Awo Dawudi bwe yakomawo ng'amaze okutta Omufilistiya, Abuneeri n'amutwala eri Sawulo, nga Dawudi akutte mu ngalo ze omutwe gw'Omufilistiya.
58
Sawulo n'amubuuza nti: “Muvubuka, oli mutabani w'ani?” Dawudi n'amuddamu nti: “Ndi mutabani wa muweereza wo Yesse ow'e Betilehemu.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31